Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 04

Katonda y’Ani?

Katonda y’Ani?

Kyenkana ebbanga lyonna abantu lye babadde ku nsi, babadde basinza bakatonda abatali bamu. Kyokka Bayibuli eyogera ku Katonda “asinga bakatonda abalala bonna.” (2 Ebyomumirembe 2:5) Y’aluwa oyo? Era kiki ekimufuula okuba nga y’asinga bakatonda abalala bonna abantu be basinza? Mu ssomo lino ogenda kulaba ebyo Katonda oyo by’ayagala omumanyeeko.

1. Erinnya lya Katonda y’ani, era kiki ekiraga nti ayagala tulimanye?

Katonda atubuulira ebimukwatako okuyitira mu Bayibuli. Agamba nti: “Nze Yakuwa. Eryo lye linnya lyange.” (Soma Isaaya 42:5, 8.) Bangi ku abo abeekenneenya ebiwandiiko bya Bayibuli eby’edda bagamba nti erinnya ery’Olwebbulaniya eryavvuunulwa nga “Yakuwa” litegeeza “Aleetera Ebintu Okubaawo.” Yakuwa ayagala tumanye erinnya lye. (Okuva 3:15) Ekyo tukimanya tutya? Yassa erinnya lye mu Bayibuli emirundi egisukka mu 7,000! a Erinnya Yakuwa lye linnya lya “Katonda ow’amazima waggulu mu ggulu ne wansi ku nsi.”​—Ekyamateeka 4:39.

2. Kiki Bayibuli ky’etubuulira ku Yakuwa?

Bayibuli egamba nti mu bakatonda bonna abantu be basinza, Yakuwa ye Katonda yekka ow’amazima. Lwaki? Waliwo ensonga nnyingi. Yakuwa y’alina obuyinza obw’enkomeredde, era ye yekka ‘Asingayo Okuba Waggulu, afuga ensi yonna.’ (Soma Zabbuli 83:18.) Ye ‘Muyinza w’Ebintu Byonna,’ ekitegeeza nti alina obuyinza okukola kyonna ky’aba asazeewo okukola. Ye ‘yatonda ebintu byonna’ ebiri mu bwengula n’ebiri ku nsi. (Okubikkulirwa 4:8, 11) Ate era ye yekka abaddewo emirembe gyonna era ajja okweyongera okubaawo emirembe n’emirembe.​—Zabbuli 90:2.

YIGA EBISINGAWO

Weetegereze enjawulo eriwo wakati w’ebitiibwa bya Katonda n’erinnya lye. Ate era laba engeri gy’akumanyisaamu erinnya lye n’ensonga lwaki alikumanyisa.

3. Katonda alina ebitiibwa bingi naye alina erinnya limu lyokka

Okusobola okumanya enjawulo eriwo wakati w’ekitiibwa n’erinnya, laba VIDIYO, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:

  • Njawulo ki eriwo wakati w’ekitiibwa, gamba nga “Mukama,” n’erinnya?

Bayibuli eraga nti abantu basinza bakatonda bangi ne bamukama bangi. Soma Zabbuli 136:1-3, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:

  • Ani “Katonda wa bakatonda” era “Mukama w’abakama”?

4. Yakuwa ayagala omanye erinnya lye era olikozese

Kiki ekiraga nti Yakuwa ayagala omanye erinnya lye? Laba VIDIYO, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino wammanga.

  • Olowooza Yakuwa ayagala abantu bamanye erinnya lye? Lwaki ogamba bw’otyo?

Yakuwa ayagala abantu bakozese erinnya lye. Soma Abaruumi 10:13, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino:

  • Lwaki kikulu okukozesa erinnya lya Katonda, Yakuwa?

  • Owulira otya omuntu bw’ajjukira erinnya lyo era n’alyogera?

  • Olowooza Yakuwa awulira atya bw’okozesa erinnya lye?

5. Yakuwa ayagala obeere mukwano gwe

Omukazi omu ow’omu Cambodia ayitibwa Soten yagamba nti bwe yayiga erinnya lya Katonda kyamuleetera okufuna essanyu lye yali tafunangako. Laba VIDIYO, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino wammanga.

  • Okusinziira ku vidiyo eyo, okumanya erinnya lya Katonda kyakwata kitya ku Soten?

Ng’omuntu tannafuuka mukwano gwo, emirundi egisinga osooka kumanya linnya lye. Soma Yakobo 4:8a, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino:

  • Kiki Yakuwa ky’akukubiriza okukola?

  • Okumanya erinnya lya Katonda n’okulikozesa kikuyamba kitya okumusemberera?

ABAMU BAGAMBA NTI: “Waliwo Katonda omu yekka, n’olwekyo okukozesa erinnya lye oba obutalikozesa si kikulu.”

  • Okikkiriza nti Yakuwa lye linnya lya Katonda?

  • Oyinza otya okunnyonnyola omuntu nti Katonda ayagala tukozese erinnya lye?

MU BUFUNZE

Yakuwa lye linnya lya Katonda omu yekka ow’amazima. Ayagala tumanye erinnya eryo era tulikozese tusobole okumusemberera.

Okwejjukanya

  • Yakuwa ayawukana atya ku bakatonda abalala bonna abantu be basinza?

  • Lwaki tusaanidde okukozesa erinnya lya Katonda?

  • Kiki ekiraga nti Yakuwa ayagala obeere mukwano gwe?

Eky’okukolako

LABA EBISINGAWO

Weetegereze ensonga ttaano lwaki tusobola okuba abakakafu nti Katonda gyali.

“Ddala Katonda Gyali?” (Kiri ku mukutu)

Laba ensonga lwaki kikola amakulu okukkiriza nti Katonda abaddewo emirembe gyonna.

“Ani Eyatonda Katonda?” (Omunaala gw’Omukuumi, Agusito 1, 2014)

Laba ensonga lwaki tusaanidde okukozesa erinnya lya Katonda wadde ng’engeri gye lyayatulwangamu edda temanyiddwa.

“Yakuwa y’Ani?” (Kiri ku mukutu)

Kikulu okukozesa erinnya lya Katonda? Laba ensonga lwaki tugamba nti Katonda alina erinnya limu lyokka.

“Katonda Alina Amannya Ameka?” (Kiri ku mukutu)

a Okumanya ebisingawo ku makulu g’erinnya lya Katonda, n’ensonga lwaki lyaggibwa mu nzivuunula za Bayibuli ezimu, laba Ebyongerezeddwako A4 mu Enkyusa ey’Ensi Empya.