Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 08

Osobola Okuba Mukwano gwa Yakuwa

Osobola Okuba Mukwano gwa Yakuwa

Yakuwa ayagala omumanye bulungi. Lwaki? Akimanyi nti gy’okoma okumanya engeri ze, amakubo ge, n’ekigendererwa kye, gy’ojja okukoma okwagala okubeera mukwano gwe. Ddala osobola okuba mukwano gwa Katonda? (Soma Zabbuli 25:14.) Kiki ky’osobola okukola okusobola okuba mukwano gwe? Bayibuli eddamu ebibuuzo ebyo era eraga ensonga lwaki okuba mukwano gwa Yakuwa kye kintu ekisingayo obulungi.

1. Kiki Yakuwa ky’akukubiriza okukola?

“Musemberere Katonda naye anaabasemberera.” (Yakobo 4:8) Ekyo kitegeeza ki? Yakuwa akukubiriza okufuuka mukwano gwe. Abamu kibazibuwalira okukikkiriza nti basobola okubeera mikwano gya Katonda olw’okuba tebasobola kumulaba. Naye okuyitira mu Kigambo kye Bayibuli, Yakuwa atumanyisa engeri ze tusobole okumusemberera. Bwe tusoma obubaka Katonda bwe yatuwa obuli mu Bayibuli, tusobola okufuuka mikwano gye wadde nga tetusobola kumulaba.

2. Lwaki Yakuwa ye w’omukwano asingayo?

Tewali asinga Yakuwa kukwagala. Ayagala obeere musanyufu era omutuukirire buli lw’oba weetaaga obuyambi. Osobola ‘okumukwasa byonna ebikweraliikiriza kubanga akufaako.’ (1 Peetero 5:7) Bulijjo Yakuwa aba mwetegefu okuyamba mikwano gye, okubabudaabuda, n’okubawuliriza.​—Soma Zabbuli 94:18, 19.

3. Kiki Yakuwa ky’asuubira mu mikwano gye?

Yakuwa ayagala abantu bonna okutwalira awamu, “naye abagolokofu abafuula mikwano gye egy’oku lusegere.” (Engero 3:32) Yakuwa asuubira mikwano gye okufuba okukola ebintu by’atwala nti birungi n’okwewala ebyo by’atwala nti bibi. Abamu balowooza nti tebasobola kutuukiriza ebyo Katonda by’abasuubiramu. Naye Yakuwa alina ekisa kingi nnyo. Asembeza buli muntu amwagala mu bwesimbu era afuba okukola ebimusanyusa.​—Zabbuli 147:11; Ebikolwa 10:34, 35.

YIGA EBISINGAWO

Laba ebisingawo ku ngeri gy’osobola okuba mukwano gwa Yakuwa, era laba ensonga lwaki Yakuwa ye w’omukwano asingayo okuba omulungi.

4. Ibulayimu yali mukwano gwa Yakuwa

Ebyo Bayibuli by’eyogera ku Ibulayimu (era ayitibwa Ibulaamu) bituyamba okumanya kye kitegeeza okuba mukwano gwa Katonda. Soma ebikwata ku Ibulayimu mu Olubereberye 12:​1-4. Oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino:

  • Kiki Yakuwa kye yagamba Ibulayimu okukola?

  • Kiki Yakuwa kye yamusuubiza?

  • Kiki Ibulayimu kye yakola?

5. Ebyo Yakuwa by’asuubira mu mikwano gye

Emirundi mingi wabaawo ebintu bye tusuubira mu mikwano gyaffe.

  • Ebimu ku bintu by’oyagala mikwano gyo bakukolere bye biruwa?

Soma 1 Yokaana 5:3, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:

  • Kiki Yakuwa ky’asuubira mikwano gye okukola?

Okusobola okugondera Yakuwa, kiyinza okutwetaagisa okukyusa mu nneeyisa yaffe. Soma Isaaya 48:17, 18, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:

  • Lwaki Yakuwa agamba mikwano gye okubaako enkyukakyuka ze bakola?

Ow’omukwano omulungi atujjukiza ebintu ebituyamba okwewala emitawaana era ebituganyula. Ne Yakuwa bw’atyo bw’akola eri mikwano gye

6. Ebyo Yakuwa by’akolera mikwano gye

Yakuwa ayamba mikwano gye nga boolekagana n’ebizibu. Laba VIDIYO, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino wammanga.

  • Yakuwa yayamba atya omukyala alagiddwa mu vidiyo eyalina ennyiike ku mutima?

Soma Isaaya 41:10, 13, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino:

  • Kiki Yakuwa ky’asuubiza okukolera mikwano gye gyonna?

  • Olowooza Yakuwa wa mukwano mulungi? Lwaki ogamba bw’otyo?

Ab’emikwano abalungi bakuyamba nga weetaaga obuyambi. Yakuwa naye ajja kukuyamba

7. Okusobola okuba mikwano gya Yakuwa, tulina okwogera naye n’okumuwuliriza

Ab’omukwano bwe bawuliziganya, omukwano gwabwe gweyongera okunywera. Soma Zabbuli 86:6, 11, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino:

  • Tuyinza tutya okwogera ne Yakuwa?

  • Yakuwa ayogera atya naffe?

Twogera ne Yakuwa okuyitira mu kusaba; ate ye ayogera naffe okuyitira mu Bayibuli

ABAMU BAGAMBA NTI: “Tekisoboka kuba mukwano gwa Katonda.”

  • Kyawandiikibwa ki ky’osobola okukozesa okulaga nti tusobola okuba mikwano gya Yakuwa?

MU BUFUNZE

Yakuwa ayagala okuba mukwano gwo, era ajja kukuyamba okufuna enkolagana ey’oku lusegere naye.

Okwejjukanya

  • Yakuwa ayamba atya mikwano gye?

  • Lwaki Yakuwa agamba mikwano gye okubaako enkyukakyuka ze bakola?

  • Olowooza ebyo Yakuwa by’asuubira mu mikwano gye bizibu nnyo okutuukiriza? Lwaki ogamba bw’otyo?

Eky’okukolako

LABA EBISINGAWO

Laba ensonga lwaki omukazi omu akiraba nti okuba mukwano gwa Yakuwa kyataasa obulamu bwe.

“Nnali Ntya Nnyo Okufa!” (Omunaala gw’Omukuumi Na. 1 2017)

Wuliriza engeri abavubuka gye batwalamu Yakuwa.

Kitegeeza Ki Okubeera Mukwano gwa Katonda? (1:46)