Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 12

Kiki Ekinaakuyamba Okweyongera Okuyiga Bayibuli?

Kiki Ekinaakuyamba Okweyongera Okuyiga Bayibuli?

Okuyiga Bayibuli kulimu emiganyulo mingi. Naye oluusi kiyinza obutaba kyangu. Era oyinza okwebuuza obanga onoosobola okweyongera okuyiga Bayibuli. Lwaki osaanidde okufuba okweyongera okuyiga Bayibuli? Kiki ekiyinza okukuyamba okweyongera okuyiga Bayibuli wadde ng’oyolekagana n’okusoomooza okutali kumu?

1. Lwaki kikulu okuyiga Bayibuli?

‘Ekigambo kya Katonda kiramu era kya maanyi.’ (Abebbulaniya 4:12) Bayibuli ya muganyulo nnyo kubanga erimu ebirowoozo bya Katonda era eraga engeri gy’akutwalamu. Ekuyamba okufuna okumanya, amagezi, n’essuubi. N’ekisinga obukulu, esobola okukuyamba okubeera mukwano gwa Katonda. Bayibuli esobola okukuyamba okuba n’obulamu obw’amakulu.

2. Lwaki kikulu okukimanya nti amazima agali mu Bayibuli ga muganyulo nnyo?

Amazima agali mu Bayibuli galinga eby’obugagga eby’omuwendo. Eyo ye nsonga lwaki Bayibuli etukubiriza ‘okugula amazima era n’obutagatunda.’ (Engero 23:23) Bwe tukimanya nti amazima agali mu Bayibuli ga muganyulo nnyo, tufuba okweyongera okuyiga Bayibuli ne bwe tuba nga twolekagana n’okusoomooza okutali kumu.​—Soma Engero 2:​4, 5.

3. Yakuwa ayinza atya okukuyamba n’osobola okweyongera okuyiga Bayibuli?

Olw’okuba Yakuwa ye Mutonzi wo era mukwano gwo, asobola okukuyamba okumanya ebimukwatako. Asobola ‘okukuwa amaanyi era n’okukwagazisa’ okuyiga ebimukwatako. (Soma Abafiripi 2:13.) N’olwekyo, oluusi bw’owulira nga kikukaluubirira okweyongera okuyiga Bayibuli oba okukolera ku ebyo by’oyiga, asobola okukuyamba. Bw’oba nga weetaaga amaanyi okusobola okuvvuunuka okusoomooza kw’oyitamu oba okuyigganyizibwa, asobola okukuyamba. Bulijjo saba Yakuwa akuyambe okweyongera okuyiga Bayibuli.​—1 Abassessalonika 5:17.

YIGA EBISINGAWO

Manya engeri gy’oyinza okweyongera okuyiga Bayibuli wadde ng’olina eby’okukola bingi oba ng’oyigganyizibwa. Era laba engeri Yakuwa gy’asobola okukuyambamu okweyongera okuyiga.

4. Okuyiga Bayibuli kutwale nga kukulu nnyo

Oluusi tuba n’eby’okukola bingi ne kituzibuwalira okufuna obudde obumala okuyiga Bayibuli. Kiki ekiyinza okukuyamba? Soma Abafiripi 1:10, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino:

  • Olowooza bintu ki “ebisinga obukulu” mu bulamu?

  • Oyinza otya okukiraga nti okuyiga Bayibuli okitwala nti kikulu nnyo?

  1. Bw’osooka okuteeka omusenyu mu kalobo oluvannyuma n’oteekamu amayinja, amayinja tegajja kuggweramu

  2. Bw’osooka okuteekamu amayinja, ojja kusobola okuteekamu omusenyu ogusinga obungi. Mu ngeri y’emu, bw’onookulembeza “ebintu ebisinga obukulu” mu bulamu, ojja kusobola okubikola era ofune n’obudde okukola ebintu ebirala

Bwe tuyiga Bayibuli, tuba tukola ku bwetaavu bwaffe obw’eby’omwoyo, kwe kugamba, okumanya Katonda n’okumusinza. Soma Matayo 5:3, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:

  • Tuganyulwa tutya bwe tufuba okuyiga Bayibuli obutayosa?

5. Weeyongere okuyiga wadde ng’oyigganyizibwa

Abamu bayinza okugezaako okukulemesa okuyiga Bayibuli. Lowooza ku kyokulabirako kya Francesco. Laba VIDIYO, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino wammanga.

  • Okusinziira ku vidiyo eyo, mikwano gya Francesco n’ab’eŋŋanda ze baakola ki bwe yababuulira ku ebyo bye yali ayiga?

  • Birungi ki ebyavaamu bwe yeeyongera okuyiga?

Soma 2 Timoseewo 2:24, 25, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino:

  • Ab’eŋŋanda zo ne mikwano gyo batwala batya ebyo by’oyiga?

  • Okusinziira ku nnyiriri ezo, kiki kye wandikoze singa wabaawo omuntu atali musanyufu olw’okuba oyiga Bayibuli? Lwaki ogamba bw’otyo?

6. Weesige Yakuwa okukuyamba

Gye tukoma okuyiga ebikwata ku Yakuwa, gye tukoma okwagala okukola ebimusanyusa. Kyokka kiyinza okutuzibuwalira okukola enkyukakyuka mu bulamu bwaffe okusobola okutuukana n’emitindo gye. Embeera yo bw’eba nga bw’etyo bw’eri, toggwaamu maanyi. Yakuwa ajja kukuyamba. Laba VIDIYO, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino wammanga.

  • Okusinziira ku vidiyo eyo, nkyukakyuka ki Jim ze yakola okusobola okusanyusa Yakuwa?

  • Ekyokulabirako kye kikukutteko kitya?

Soma Abebbulaniya 11:6, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino:

  • Kiki Yakuwa ky’akolera “abo abafuba okumunoonya,” kwe kugamba, abo abafuba okumumanya era n’okukola ebimusanyusa?

  • Okusinziira ku kyawandiikibwa kino, Yakuwa awulira atya bw’alaba ng’ofuba okuyiga Bayibuli?

ABAMU BAYINZA OKUKUBUUZA NTI: “Lwaki oyiga Bayibuli?”

  • Oyinza kubaddamu otya?

MU BUFUNZE

Wadde ng’oyinza okufuna okusoomooza okutali kumu ng’oyiga Bayibuli, bw’oneeyongera okugiyiga ojja kufuna obulamu obutaggwaawo. Weeyongere okwesiga Yakuwa, era ajja kukuwa empeera.

Okwejjukanya

  • Lwaki amazima agali mu Bayibuli ogatwala nga ga muwendo?

  • Oyinza otya ‘okukulembeza ebintu ebisinga obukulu’?

  • Lwaki osaanidde okusaba Yakuwa akuyambe okweyongera okuyiga Bayibuli?

Eky’okukolako

LABA EBISINGAWO

Laba ebintu bina ebiyambye abantu bangi okukozesa obulungi ebiseera byabwe.

“Engeri gy’Oyinza Okukozesa Obulungi Ebiseera Byo” (Awake!, Febwali 2014)

Laba engeri Yakuwa gye yayambamu omukyala omu eyalina bbaawe eyali tategeera nsonga lwaki yali afuba okukola ebisanyusa Katonda.

Yakuwa Atuwa Amaanyi ne Tusobola Okugumira Ebizibu Byaffe (5:05)

Laba engeri omwami omu gye yaganyulwa olw’okuba mukyala we teyalekera awo kuyiga Bayibuli.

Nnanoonyereza ku Mazima (6:30)

Abantu abamu bagamba nti Abajulirwa ba Yakuwa basattulula amaka. Naye ddala ekyo kituufu?

“Abajulirwa ba Yakuwa Basattulula Amaka oba Bagayamba Okunywera?” (Kiri ku mukutu)