Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 22

Oyinza Otya Okubuulira Amawulire Amalungi?

Oyinza Otya Okubuulira Amawulire Amalungi?

Bw’omala okutegeera amazima agali mu Bayibuli oyinza okugamba nti, ‘Buli omu asaanidde okugamanya!’ Kyo kituufu nti buli muntu yeetaaga okugamanya! Kyokka oyinza okutya okubuulira abalala ku ebyo by’oyiga. Ka tulabe engeri gy’oyinza okuvvuunukamu okutya okwo osobole okubuulira abalala amawulire amalungi.

1. Oyinza otya okubuulirako abantu b’omanyi ku ebyo by’oyiga?

Abayigirizwa ba Yesu baagamba nti: “Tetuyinza kulekera awo kwogera ku bintu bye twalaba ne bye twawulira.” (Ebikolwa 4:20) Baali baagala nnyo amazima era nga baagala okugabuulirako abantu bangi nga bwe kisoboka. Naawe bw’otyo bw’owulira? Bwe kiba kityo, fuba okubuulira ab’eŋŋanda zo ne mikwano gyo ku ebyo by’oyiga naye ng’okikola mu ngeri eraga nti obawa ekitiibwa.​—Soma Abakkolosaayi 4:6.

Engeri gy’oyinza okutandikamu okubabuulira

  • Bw’oba onyumya n’ab’eŋŋanda zo, oyinza okutandika okwogera ku nsonga emu okuva mu Bayibuli ng’ogamba nti: “Waliwo ekintu ekirungi kye nnayize wiiki eno.”

  • Bw’oba olina mukwano gwo omulwadde oba alina ekimweraliikiriza, musomereyo ekyawandiikibwa ekizzaamu amaanyi.

  • Bakozi banno bwe bakubuuza wiiki yo bw’ebadde, babuulire ku ebyo bye wayize mu kuyiga Bayibuli oba mu nkuŋŋaana z’ekibiina.

  • Laga mikwano gyo omukutujw.org/lg

  • Yita mikwano gyo okubaawo ng’oyiga Bayibuli oba balage engeri gye bayinza okukozesa jw.org/lg okusaba okuyigirizibwa Bayibuli.

2. Lwaki kikulu okweteerawo ekiruubirirwa eky’okubuulira awamu n’ekibiina?

Abayigirizwa ba Yesu tebaakoma ku kubuulira abo bokka be baali bamanyi. Yesu yabatuma “babiri babiri okumukulemberamu mu buli kibuga” nga bagenda babuulira. (Lukka 10:1) Okubuulira mu ngeri eyo kyasobozesa abantu bangi okufuna akakisa okuwulira amawulire amalungi. Ate era okubuulira nga bali wamu ne bannaabwe kyaleetera abayigirizwa ba Yesu essanyu lingi. (Lukka 10:17) Naawe osobola okweteerawo ekiruubirirwa eky’okubuulira awamu n’ekibiina?

YIGA EBISINGAWO

Laba engeri gy’oyinza okuvvuunukamu okutya osobole okufuna essanyu eriva mu kubuulira abalala amawulire amalungi.

3. Yakuwa ajja kuba wamu naawe

Abamu abaagala okubuulira bayinza okutya bwe balowooza ku ngeri abalala gye banaabatwalamu bwe banaabalaba nga babuulira oba engeri abalala gye banaatwalamu obubaka bwe bababuulira.

  • Muli owulira ng’otya okubuulirako abalala by’oyiga? Lwaki ogamba bw’otyo?

Laba VIDIYO, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino wammanga.

  • Abavubuka abo Abajulirwa ba Yakuwa bavvuunuka batya okutya kwe baalina?

Soma Isaaya 41:10, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:

  • Bw’owulira ng’otya okubuulira, okusaba kuyinza kutya okukuyamba?

Obadde okimanyi?

Abajulirwa ba Yakuwa bangi mu kusooka baali balowooza nti tebalisobola kubuulira balala mawulire malungi. Ng’ekyokulabirako, Sergey yali yeenyooma era kyamuzibuwaliranga okunyumya n’abalala. Naye oluvannyuma yatandika okuyiga Bayibuli. Agamba nti: “Wadde nga nnali ntya, nnatandika okubuulirako abalala ku ebyo bye nnali njiga. Ekyanneewuunyisa, bwe nnatandika okubuulira abalala ku ebyo bye nnali njiga mu Bayibuli, nnagenda nzigwamu okutya. Ate era okukkiriza kwange kweyongera okunywera.”

4. Wa abalala ekitiibwa

Bw’oba obuulira abalala amawulire amalungi, tolowooza ku ekyo ky’onooyogera kyokka naye era lowooza ne ku ngeri gy’onookyogeramu. Soma 2 Timoseewo 2:24 ne 1 Peetero 3:15, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino:

  • Oyinza otya okukolera ku byawandiikibwa ebyo bw’oba obuulira abalala ku ebyo by’oyiga mu Bayibuli?

  • Abamu ku b’eŋŋanda zo oba mikwano gyo bayinza obutakkiriziganya naawe. Kiki ky’oyinza okukola? Kiki ky’otosaanidde kukola?

  • Lwaki kirungi okukozesa ebibuuzo mu ngeri ey’amagezi mu kifo ky’okubabuulira obubuulizi kye balina okukkiriza?

5. Okubuulira abalala amawulire amalungi kireeta essanyu

Yakuwa yawa Yesu omulimu gw’okubuulira amawulire amalungi. Yesu yali atwala atya omulimu ogwo? Soma Yokaana 4:34, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino:

  • Okulya emmere ennungi kituyamba okuba abalamu obulungi n’okuba abasanyufu. Lwaki Yesu yageraageranya okukola Katonda by’ayagala, nga mw’otwalidde okubuulira amawulire amalungi, ku kulya emmere?

  • Olowooza mikisa ki egiva mu kubuulira amawulire amalungi?

Ky’oyinza okukola

  • Mu lukuŋŋaana olwa wakati mu wiiki, laba engeri gy’oyinza okutandika okwogera n’abalala ebikwata ku Bayibuli.

  • Lowooza ku ky’okuyingira essomero eribaawo mu lukuŋŋaana olwa wakati mu wiiki. Ebyo by’oweebwa okukola mu lukuŋŋaana olwo bisobola okukuyamba okumanya engeri y’okubuulirako abalala ku ebyo by’oyiga.

  • Kozesa ekitundu “Abamu Bagamba Nti” oba “Omuntu Ayinza Okukubuuza Nti” ekiri mu kitabo kino, okwegezaamu engeri gy’oyinza okuddamu ebibuuzo abantu bye batera okubuuza.

OMUNTU AYINZA OKUKUBUUZA NTI: “Mapya ki?”

  • Oyinza otya okukozesa akakisa ako okubuulira omuntu oyo ku ebyo by’oyize mu Bayibuli?

MU BUFUNZE

Okubuulirako abalala amawulire amalungi kireeta essanyu era si kizibu n’akamu.

Okwejjukanya

  • Lwaki osaanidde okubuulirako abalala amawulire amalungi?

  • Oyinza otya okukikola mu ngeri eraga nti obawa ekitiibwa?

  • Oyinza otya okuvvuunuka okutya kw’oyinza okuba nakwo?

Eky’okukolako

LABA EBISINGAWO

Laba engeri za mirundi ena mw’oyinza okubuulira amawulire amalungi ng’okozesa kkaadi eragirira abantu ku jw.org.

Engeri y’Okugaba Kaadi Eragirira Abantu ku Mukutu JW.ORG (1:43)

Laba engeri nnya z’osaanidde okuba nazo okusobola okubuulira amawulire amalungi.

“Oli Mwetegefu Okuba Omuvubi w’Abantu?” (Omunaala gw’Omukuumi, Ssebutemba 2020)

Laba engeri ekyokulabirako ky’omwana omu ayogerwako mu Bayibuli gye kisobola okutuyamba okuba abavumu ne tusobola okubuulira amawulire amalungi, ka tube nga tuli bato.

Yakuwa Ajja Kukuyamba Okuba Omuvumu (11:59)

Laba engeri gy’oyinza okubuuliramu ab’eŋŋanda zo ebikwata ku Yakuwa.

“Fuba Okutuuka ku Mutima gw’Ab’Eŋŋanda Zo Abatali Bakkiriza” (Omunaala gw’Omukuumi, Maaki 15, 2014)