Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 37

Ekyo Bayibuli ky’Eyogera ku Mirimu ne Ssente

Ekyo Bayibuli ky’Eyogera ku Mirimu ne Ssente

Wali weeraliikiriddeko ebikwata ku mulimu oba ebikwata ku ssente? Ebiseera ebimu tekiba kyangu kwetuusaako bye twetaaga mu bulamu, ate mu kiseera kye kimu ne tuba nga tusobola okuweereza Yakuwa mu bujjuvu. Bayibuli etuwa amagezi agasobola okutuyamba.

1. Kiki Bayibuli ky’eyogera ku mirimu?

Yakuwa ayagala tunyumirwe emirimu gye tukola. Bayibuli egamba nti: “Eri omuntu, tewali kisinga . . . kweyagalira mu ebyo byonna by’ateganira.” (Omubuulizi 2:24) Yakuwa akola n’obunyiikivu. Bwe tumukoppa ne tukola emirimu gyaffe n’obunyiikivu, kimusanyusa era naffe kituleetera essanyu.

Kikulu nnyo okukola emirimu egituyamba okweyimirizaawo. Naye emirimu egyo tetusaanidde kugitwala nti mikulu nnyo okusinga okuweereza Yakuwa. (Yokaana 6:27) Yakuwa yatusuubiza nti bwe tukulembeza by’ayagala, ajja kutuwa bye twetaaga.

2. Ssente tusaanidde kuzitwala tutya?

Wadde nga Bayibuli egamba nti ‘ssente kya bukuumi,’ era egamba nti ssente ku bwazo tezisobola kutuleetera ssanyu lya nnamaddala. (Omubuulizi 7:12) N’olwekyo, Bayibuli etukubiriza obutaagala nnyo ssente, wabula ‘okuba abamativu ne bye tulina.’ (Soma Abebbulaniya 13:5.) Bwe tuba abamativu ne bye tulina, twewala ebizibu ebiva mu kwagala ennyo ssente. Twewala okuba n’amabanja agateetaagisa. (Engero 22:7) Ate era twewala ebizibu ebifunibwa abo abakuba zzaala n’abo ababuzaabuzibwa nti basobola okugaggawala amangu wadde nga tebakoze nnyo.

3. Tuyinza tutya okwoleka omwoyo omugabi nga tukozesa ssente?

Yakuwa Katonda mugabi. Naffe ‘bwe tuba abagabi era nga tugabana n’abalala,’ tuba tumukoppa. (1 Timoseewo 6:18) Tusobola okukozesa obulungi ssente nga tuwaayo okuwagira ensaasaanya y’ekibiina era nga tuyamba abo ababa mu bwetaavu, naddala bakkiriza bannaffe. Yakuwa ky’asinga okufaako si bwe bungi bwa ssente ze tuba tuwaddeyo, wabula ekiruubirirwa kye tuba nakyo nga tugaba. Bwe tugaba okuviira ddala ku ntobo y’omutima gwaffe, tuba basanyufu era kisanyusa ne Yakuwa.​—Soma Ebikolwa 20:35.

YIGA EBISINGAWO

Laba emiganyulo egiri mu kubeera n’endowooza ennuŋŋamu ku kukola era n’okubeera omumativu.

4. Wa Yakuwa ekitiibwa mu ngeri gy’okolamu omulimu gwo

Enkolagana yaffe ne Yakuwa esaanidde okukwata ku ndowooza gye tulina ku mirimu gye tukola. Laba VIDIYO, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino wammanga.

  • Mu vidiyo eyo, endowooza Jason gy’alina n’engeri gye yeeyisaamu ku mulimu, bikukutteko bitya?

  • Yakyoleka atya nti yali teyeemalidde ku mulimu gwe?

Soma Abakkolosaayi 3:23, 24, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:

  • Lwaki emirimu gye tukola twandigikoze n’omutima gwaffe gwonna?

Twetaaga okukola. Naye tetusaanidde kukitwala nti omulimu gwe tukola mukulu nnyo okusinga okuweereza Yakuwa

5. Bwe tuba abamativu tuganyulwa

Abantu bangi eky’okufuna ssente kye bakulembeza mu bulamu bwabwe. Naye ekyo Bayibuli si ky’etukubiriza okukola. Soma 1 Timoseewo 6:6-8, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:

  • Magezi ki Bayibuli g’etuwa?

Ne bwe tuba ne ssente ntono, tusobola okuba abasanyufu. Laba VIDIYO, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino wammanga.

  • Wadde ng’ab’omu maka abo tebalina ssente nnyingi, lwaki basanyufu?

Naye watya nga tulina ssente nnyingi, kyokka era nga twagala okufuna endala? Yesu yalaga akabi akali mu ekyo. Soma Lukka 12:15-21, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:

Soma era ogeraageranye Engero 10:22 ne 1 Timoseewo 6:10. Oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino:

  • Kiruwa ekisinga obukulu, okuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa oba okuba ne ssente nnyingi? Lwaki ogamba bw’otyo?

  • Bizibu ki ebiva mu kwagala okufuna ssente nnyingi?

6. Yakuwa ajja kukola ku byetaago byaffe

Bwe tuba nga tetulina mulimu oba nga tetulina ssente zimala, kisobola okutuyamba okumanya obanga ddala twesiga Yakuwa. Ssaako VIDIYO olabe engeri gy’oyinza okwaŋŋangamu ebigezo ng’ebyo, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino wammanga.

  • Mu vidiyo eyo, kizibu ki ow’oluganda kye yalina?

  • Yasobola atya okukyaŋŋanga?

Soma Matayo 6:25-34, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:

  • Kiki Yakuwa ky’asuubiza okukolera abo abakulembeza by’ayagala?

ABAMU BAGAMBA NTI: “Nnina okukola ennyo okusobola okulabirira ab’omu maka gange. Siyinza kubaawo mu nkuŋŋaana buli wiiki.”

  • Kyawandiikibwa ki ekikukakasa nti kiba kya magezi bulijjo okukulembeza eby’omwoyo?

MU BUFUNZE

Emirimu ne ssente bikulu, naye tebisaanidde kutulemesa kuweereza Yakuwa.

Okwejjukanya

  • Kiki ekiyinza okukuyamba okuba n’endowooza ennuŋŋamu ku mirimu?

  • Oganyulwa otya mu kubeera omumativu?

  • Oyinza otya okukiraga nti okkiririza mu ekyo Yakuwa kye yasuubiza nti ajja kulabirira abantu be?

Eky’okukolako

LABA EBISINGAWO

Laba obanga Bayibuli eraga nti okuba ne ssente kibi.

“Ddala Ssente Ye Nsibuko y’Ebibi Ebya Buli Ngeri?” (Kiri ku mukutu)

Laba kugaba kwa ngeri ki okusanyusa Katonda.

“Bayibuli Eyogera Ki ku Kugaba?” (Kiri ku mukutu)

Laba ekyaleetera omusajja eyali omukubi wa zzaala era kkondo okukyusa enneeyisa ye.

“Nnali Njagala Nnyo Empaka z’Okuvuga Embalaasi” (Watchtower, Noovemba 1, 2011)