Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 41

Bayibuli Eyogera Ki ku by’Okwegatta?

Bayibuli Eyogera Ki ku by’Okwegatta?

Abantu bangi tekibanguyira kwogera ku bya kwegatta. Naye Bayibuli bw’eba eyogera ku by’okwegatta, ebyogerako kaati, kyokka si mu ngeri ekwasa ensonyi. By’eyogera ku by’okwegatta bituganyula. Ekyo kiri bwe kityo kubanga Bayibuli yava eri Yakuwa Omutonzi waffe, era amanyi ekisinga okutuganyula. Atubuulira bye tusaanidde okukola okusobola okumusanyusa, era n’ebijja okutuyamba okunyumirwa obulamu emirembe gyonna.

1. Yakuwa alina ndowooza ki ku by’okwegatta?

Okwegatta kirabo okuva eri Yakuwa. Ayagala okwegatta kubeewo wakati w’omusajja n’omukazi abafumbo, era nga kubaleetera essanyu. Ekirabo kino tekisobozesa bafumbo kufuna baana kyokka, naye era kibayamba okulagaŋŋana okwagala n’omukwano. Eyo ye nsonga lwaki Bayibuli egamba nti: “Sanyukanga n’omukazi ow’omu buvubuka bwo.” (Engero 5:18, 19) Yakuwa ayagala abafumbo babe beesigwa buli omu eri munne era baleme kwenyigira mu bwenzi.​—Soma Abebbulaniya 13:4.

2. Ebikolwa eby’obugwenyufu kye ki?

Bayibuli egamba nti “abagwenyufu . . . tebalisikira Bwakabaka bwa Katonda.” (1 Abakkolinso 6:9, 10) Mu Bayibuli, ekigambo por·neiʹa eky’Oluyonaani kye kyavvuunulwa nti “ebikolwa eby’obugwenyufu.” Amakulu g’ekigambo ekyo gazingiramu (1) abantu okwegatta a nga si bafumbo, (2) okulya ebisiyaga, ne (3) okwegatta n’ensolo. Bwe ‘twewala ebikolwa eby’obugwenyufu,’ tusanyusa Yakuwa era naffe tuganyulwa.​—1 Abassessalonika 4:3.

YIGA EBISINGAWO

Manya engeri gy’oyinza okwewalamu ebikolwa eby’obugwenyufu, era n’engeri gy’oyinza okuganyulwa.

3. Dduka ebikolwa eby’obugwenyufu

Omuweereza wa Yakuwa omwesigwa eyali ayitibwa Yusufu, yeewalira ddala ebikolwa eby’obugwenyufu. Soma Olubereberye 39:1-12, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino:

  • Kiki ekyayamba Yusufu obuteenyigira mu kikolwa eky’obugwenyufu?​—Laba olunyiriri 9.

  • Olowooza Yusufu yasalawo bulungi? Lwaki ogamba bw’otyo?

Abavubuka bayinza batya okukoppa Yusufu ne badduka ebikolwa eby’obugwenyufu? Laba VIDIYO.

Yakuwa ayagala ffenna twewale ebikolwa eby’obugwenyufu. Soma 1 Abakkolinso 6:18, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino:

  • Mbeera ki eziyinza okuviirako omuntu okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu?

  • Oyinza otya okudduka ebikolwa eby’obugwenyufu?

4. Osobola okuziyiza ebikemo

Kiki ekiyinza okukifuula ekizibu okuziyiza ekikemo eky’okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu? Laba VIDIYO, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino wammanga.

  • Ow’oluganda alagiddwa mu vidiyo bwe yakitegeera nti ebirowoozo bye n’ebikolwa bye byali biyinza okumuviirako obutaba mwesigwa eri mukyala we, kiki kye yakola?

N’abaweereza ba Katonda abeesigwa oluusi bakisanga nga kizibu okukuuma ebirowoozo byabwe nga biyonjo. Kiki ekinaakuyamba okwewala okulowooza ku bintu eby’obugwenyufu? Soma Abafiripi 4:8, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino:

  • Bintu ki bye tusaanidde okulowoozangako?

  • Okusoma Bayibuli n’okuba n’eby’okukola ebingi mu buweereza bwaffe eri Yakuwa, biyinza bitya okutuyamba okuziyiza ebikemo?

5. Okugoberera emitindo gya Yakuwa kituganyula

Yakuwa amanyi ebintu ebisinga okuba eby’omuganyulo gye tuli. Atubuulira engeri gye tuyinza okusigala nga tuli bayonjo mu mpisa, era n’engeri gye tuganyulwamu. Soma Engero 7:7-27 oba laba VIDIYO, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino wammanga.

  • Omuvubuka oyo yessa atya mu mbeera eyamuviirako okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu?​—Laba Engero 7:8, 9.

  • Okusinziira ku Engero 7:23, 26, okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu kivaamu ebizibu eby’amaanyi. Bwe tusigala nga tuli bayonjo mu mpisa, bizibu ki bye twewala?

  • Okusigala nga tuli bayonjo mu mpisa kiyinza kitya okutusobozesa okunyumirwa obulamu emirembe gyonna?

Abantu abamu balowooza nti Bayibuli ky’eyogera ku kulya ebisiyaga tekyoleka kwagala. Naye Yakuwa ye Katonda ow’okwagala, era ayagala buli muntu afune obulamu obutaggwaawo. Okusobola okufuna obulamu obwo, tulina okugoberera emitindo gye egy’empisa. Soma 1 Abakkolinso 6:9-11, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:

  • Okusinziira ku kyawandiikibwa kino, okulya ebisiyaga kye kikolwa kyokka ekibi mu maaso ga Katonda?

Okusobola okusanyusa Katonda, ffenna twetaaga okubaako enkyukakyuka ze tukola. Waliwo omuganyulo gwonna gwe tufuna bwe tukola enkyukakyuka ezo? Soma Zabbuli 19:8, 11, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino:

  • Olowooza emitindo gya Katonda egy’empisa gikugira nnyo? Lwaki ogamba bw’otyo?

Yakuwa ayambye abantu bangi okutambulira ku mitindo gye egy’empisa. Naawe asobola okukuyamba

ABAMU BAGAMBA NTI: “Abantu ba ddembe okwegatta, kasita baba nga baagalana.”

  • Ggwe olowooza otya?

MU BUFUNZE

Okwegatta kirabo Katonda kye yawa omusajja n’omukazi abafumbo.

Okwejjukanya

  • Ebikolwa eby’obugwenyufu bizingiramu ki?

  • Kiki ekisobola okutuyamba okwewala ebikolwa eby’obugwenyufu?

  • Tuganyulwa tutya bwe tugoberera emitindo gya Yakuwa egikwata ku mpisa?

Eky’okukolako

LABA EBISINGAWO

Manya ensonga lwaki Katonda akitwala nga kikulu abantu okufumbiriganwa mu mateeka.

“Bayibuli Eyogera Ki ku Musajja n’Omukazi Okubeera Bombi nga Si Bafumbo?” (Kiri ku mukutu)

Laba ensonga lwaki Bayibuli ky’eyogera ku kulya ebisiyaga tekisiga bukyayi.

“Okulya Ebisiyaga Kibi?” (Kiri ku mukutu)

Laba engeri amateeka ga Katonda agakwata ku by’okwegatta gye gatuganyulamu.

“Ddala Okukomberera Ebitundu by’Omulala eby’Ekyama Kuba Kwegatta Naye?” (Kiri ku mukutu)

Mu kitundu ekirina omutwe, “Banzisaamu Ekitiibwa,” laba ekyayamba omusajja omu eyali omulyi w’ebisiyaga okukyusa obulamu bwe n’asobola okusanyusa Katonda.

“Bayibuli Ekyusa Obulamu bw’Abantu” (Watchtower, Apuli 1, 2011)

a Ebikolwa eby’obugwenyufu era bizingiramu okukomberera oba okutigaatiga ebitundu by’omulala eby’ekyama.