Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 43

Bayibuli Eyogera Ki ku Kunywa Omwenge?

Bayibuli Eyogera Ki ku Kunywa Omwenge?

Okwetooloola ensi, abantu balina endowooza za njawulo ku kunywa omwenge. Abamu bagunywako olumu n’olumu nga bali ne mikwano gyabwe. Ate abalala basalawo obutagunywera ddala. Kyokka ate abalala banywa mungi ne batamiira. Kiki Bayibuli ky’eyogera ku kunywa omwenge?

1. Kikyamu okunywa omwenge?

Bayibuli tegamba nti kikyamu okunywa omwenge. Mu butuufu, bw’eba eyogera ku birabo ebingi Katonda bye yatuwa, eyogera ne ku ‘mwenge ogusanyusa emitima gy’abantu.’ (Zabbuli 104:14, 15) Abamu ku basajja n’abakazi abaali batya Katonda aboogerwako mu Bayibuli baanywanga ku mwenge.​—1 Timoseewo 5:23.

2. Magezi ki Bayibuli g’ewa abo ababa basazeewo okunywa omwenge?

Yakuwa avumirira okunywa omwenge omungi n’okutamiira. (Abaggalatiya 5:21) Bayibuli egamba nti: “Tobanga mu abo abeekamirira omwenge.” (Engero 23:20) N’olwekyo bwe tusalawo okunywa omwenge, ka tube nga tuli ffekka oba nga tuli n’abalala, tetusaanidde kunywa mwenge mungi ne tuba nga tetukyasobola kulowooza bulungi, nga tetusobola kwefuga mu bye twogera ne bye tukola, oba ne tutuuka n’okuteeka obulamu bwaffe mu kabi. Bwe kiba nti tetusobola kwefuga nga tunywedde omwenge, kiba kirungi ne tuguviirako ddala.

3. Tuyinza tutya okulaga nti tussa ekitiibwa mu ekyo abalala kye baba basazeewo ku bikwata ku kunywa omwenge?

Buli muntu wa ddembe okusalawo okunywa omwenge oba obutagunywa. Oyo aba asazeewo okunywa omwenge ogw’ekigero tetusaanidde kumusalira musango, era n’oyo aba asazeewo obutagunywa tetusaanidde kumuwaliriza kugunywa. (Abaruumi 14:10) Tusobola okusalawo obutanywa mwenge singa bwe tugunywa tuyinza okwesittaza abalala. (Soma Abaruumi 14:21.) ‘Tetunoonya bitugasa ffekka, naye tunoonya ebigasa abalala.’​—Soma 1 Abakkolinso 10:23, 24.

YIGA EBISINGAWO

Kati ka tulabe emisingi gya Bayibuli egisobola okukuyamba okusalawo okunywa omwenge oba obutagunywa. Era bw’oba osazeewo okugunywa, osaanidde kunywa gwa kigero ki? Ate era tugenda kulaba ebisobola okukuyamba bw’oba ng’olina ekizibu eky’okunywa ennyo omwenge.

4. Okusalawo obanga onoonywa omwenge

Yesu yalina ndowooza ki ku kunywa omwenge? Okusobola okufuna eky’okuddamu mu kibuuzo ekyo, lowooza ku kyamagero kye yakola. Soma Yokaana 2:1-11, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino:

  • Bw’olowooza ku kyamagero ekyo, Yesu yalina ndowooza ki ku kunywa omwenge ne ku abo abagunywa?

  • Okuva bwe kiri nti Yesu teyavumirira kunywa mwenge, Abakristaayo basaanidde kutunuulira batya oyo aba asazeewo okugunywa?

Kyokka eky’okuba nti Bayibuli tegaana kunywa mwenge, tekitegeeza nti Omukristaayo aba alina okugunywa. Soma Engero 22:3, oluvannyuma mulabe engeri ebintu ebimenyeddwa wammanga gye biyinza okukuyamba okusalawo obanga onoonywa omwenge oba nedda:

  • Ogenda kuvuga kidduka oba okubaako ekyuma ky’okozesa.

  • Oli lubuto.

  • Omusawo yakugamba obutanywa mwenge.

  • Tosobola kwefuga n’onywa ogw’ekigero.

  • Amateeka tegakukkiriza kunywa mwenge.

  • Oli n’omuntu eyasalawo okuva ku mwenge, olw’okuba yali agunywa nnyo era nga tasobola kwefuga.

Wandigabudde omwenge ku mukolo gw’embaga oba ku mukolo omulala? Okusobola okumanya eky’okusalawo, laba VIDIYO.

Soma Abaruumi 13:13 ne 1 Abakkolinso 10:31, 32. Oluvannyuma lw’okusoma buli kyawandiikibwa, mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:

  • Okukolera ku kyawandiikibwa kino, kisobola kitya okukuyamba okusalawo mu ngeri esanyusa Yakuwa?

Omukristaayo alina okwesalirawo obanga anaanywa omwenge oba nedda. Ne bwe kiba nti anywa ku mwenge, oluusi ayinza okusalawo obutagunywa

5. Salawo ekigero ky’onoonywa

Bw’osalawo okunywa omwenge, jjukira kino: Wadde nga Yakuwa tatugaana kunywa mwenge, tayagala tunywe mwenge mungi. Lwaki? Soma Koseya 4:11, 18, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:

  • Kiki ekisobola okubaawo omuntu bw’anywa omwenge omungi?

Tuyinza tutya okwewala okunywa omwenge omungi? Tusaanidde okumanya obusobozi bwaffe we bukoma. Soma Engero 11:2, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:

  • Lwaki kikulu okussaawo ekkomo ku bungi bw’omwenge gw’onoonywa?

6. Ebisobola okukuyamba okulekera awo okunywa ennyo omwenge

Laba ekyayamba omusajja omu okulekera awo okunywa ennyo omwenge. Laba VIDIYO, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino wammanga.

  • Mu vidiyo, Dmitry bwe yanywanga omwenge, yeeyisanga atya?

  • Kyamwanguyira okuva ku mwenge?

  • Kiki ekyamuyamba okuva ku mwenge?

Soma 1 Abakkolinso 6:10, 11, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino:

  • Kabi ki akali mu kunywa ennyo omwenge?

  • Omuntu anywa ennyo omwenge asobola okukyuka?

Soma Matayo 5:30, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:

  • Okutemako omukono kitegeeza okubaako bye twefiiriza tusobole okusanyusa Yakuwa. Kiki ky’osobola okukola bwe kiba nga kikuzibuwalira okulekera awo okunywa ennyo omwenge? a

Soma 1 Abakkolinso 15:33, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:

  • Emikwano gy’olina giyinza gitya okukifuula ekizibu gy’oli okulekera awo okunywa omwenge omungi?

OMUNTU AYINZA OKUKUBUUZA NTI: “Kibi okunywa omwenge?”

  • Wandizzeemu otya?

MU BUFUNZE

Yakuwa tatugaana kunywa mwenge, naye avumirira okunywa omwenge omungi n’okutamiira.

Okwejjukanya

  • Bayibuli eyogera ki ku kunywa omwenge?

  • Kabi ki akali mu kunywa omwenge omungi?

  • Tuyinza tutya okulaga nti tussa ekitiibwa mu ekyo abalala kye baba basazeewo ku bikwata ku kunywa omwenge?

Eky’okukolako

LABA EBISINGAWO

Abavubuka bayinza batya okusalawo obulungi ku bikwata ku kunywa omwenge?

Sooka Ofumiitirize nga Tonnaba Kunywa (2:31)

Manya by’oyinza okukola okusobola okuvvuunuka omuze ogw’okunywa ennyo omwenge.

“Ekinaatuyamba Okuba n’Endowooza Entuufu ku Mwenge” (Omunaala gw’Omukuumi, Jjulaayi 1, 2010)

Omukristaayo asaanidde okwenyigira mu kalombolombo ak’okuwanika amagiraasi n’okugakoonaganya?

“Ebibuuzo Ebiva mu Basomi” (Watchtower, Febwali 15, 2007)

Mu kitundu ekirina omutwe, “Nnali Kita ky’Omwenge Ekitalina Ntobo,” laba ekyayamba omusajja omu okulekera awo okunywa ennyo omwenge.

“Bayibuli Ekyusa Obulamu bw’Abantu” (Watchtower, Maayi 1, 2012)

a Abantu abamu abalina omuze ogw’okunywa ennyo omwenge kiyinza okubeetaagisa okulaba omusawo. Abasawo bangi bawa amagezi nti abo abalina ekizibu eky’okunywa ennyo omwenge basaanidde kuguviirako ddala.