Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 45

Kye Kitegeeza Obutabaako Ludda Lwe Tuwagira mu by’Obufuzi

Kye Kitegeeza Obutabaako Ludda Lwe Tuwagira mu by’Obufuzi

Yesu yagamba nti abagoberezi be ‘si ba nsi.’ (Yokaana 15:19) Kino kizingiramu obutabaako ludda lwe tuwagira mu by’obufuzi oba mu ntalo. Kyokka si kyangu obutabaako ludda lwe tuwagira. Abalala bayinza okutusekerera olw’okuba tetulina ludda lwe tuwagira. Tusobola tutya okusigala nga tetuliiko ludda lwe tuwagira, era n’okusigala nga tuli beesigwa eri Yakuwa?

1. Abakristaayo ab’amazima batwala batya gavumenti z’abantu?

Abakristaayo bagondera gavumenti. Nga Yesu bwe yagamba, ‘ebya Kayisaali tubiwa Kayisaali,’ kwe kugamba, tugondera amateeka g’ensi mwe tuli, gamba ng’ago agakwata ku kusasula emisolo. (Makko 12:17) Bayibuli egamba nti gavumenti z’abantu weeziri olw’okuba Yakuwa akyazikkirizza okubaawo. (Abaruumi 13:1) N’olwekyo, tukimanyi nti obuyinza gavumenti z’abantu bwe zirina buliko ekkomo. Ate era tukimanyi nti Obwakabaka bwa Katonda bwe bwokka obujja okumalawo ebizibu by’abantu.

2. Tuyinza tutya okulaga nti tetulina ludda lwe tuwagira mu by’obufuzi?

Okufaananako Yesu, tetwenyigira mu bya bufuzi. Abantu bwe baalaba ebyamagero Yesu bye yakola, baagezaako okumufuula kabaka, naye Yesu teyakkiriza. (Yokaana 6:15) Lwaki? Yagamba nti: “Obwakabaka bwange si bwa mu nsi muno.” (Yokaana 18:36) Ng’abagoberezi ba Yesu, tulaga nti tetuliiko ludda lwe tuwagira mu by’obufuzi mu ngeri ezitali zimu. Ng’ekyokulabirako, tetwenyigira mu ntalo. (Soma Mikka 4:3.) Tussa ekitiibwa mu bubonero bw’eggwanga, gamba nga bbendera, naye tetusinza bubonero obwo. (1 Yokaana 5:21) Ate era tetuwagira, era tetuwakanya kibiina kyonna eky’eby’obufuzi oba omuntu yenna aba yeesimbyewo. Mu ngeri ezo n’endala, tulaga nti tuwagira gavumenti ya Katonda oba Obwakabaka bwe bwokka.

YIGA EBISINGAWO

Manya embeera eziyinza okukifuula ekizibu gye tuli okusigala nga tetuliiko ludda lwe tuwagira mu by’obufuzi, era n’engeri gye tuyinza okusalawo mu ngeri esanyusa Yakuwa.

3. Abakristaayo ab’amazima tebabaako ludda lwe bawagira mu by’obufuzi

Yesu n’abayigirizwa be baatuteerawo ekyokulabirako ekirungi mu nsonga eno. Soma Abaruumi 13:1, 5-7 ne 1 Peetero 2:13, 14. Oluvannyuma laba VIDIYO era mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino wammanga.

  • Lwaki tusaanidde okugondera ab’obuyinza?

  • Tuyinza tutya okulaga nti tubagondera?

Mu kiseera ky’olutalo, amawanga agamu gayinza okugamba nti tegaliiko ludda lwe gawagira, kyokka nga gawa enjuyi ezirwanagana obuyambi. Ddala kitegeeza ki obutabaako ludda lwe tuwagira mu by’obufuzi? Soma Yokaana 17:16. Oluvannyuma laba VIDIYO era mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino wammanga.

  • Kitegeeza ki obutabaako ludda lwe tuwagira mu by’obufuzi?

Watya singa ab’obuyinza batugamba okukola ekintu ekikontana n’amateeka ga Katonda? Soma Ebikolwa 5:28, 29. Oluvannyuma laba VIDIYO, era mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino wammanga.

  • Etteeka ly’abantu bwe liba nga likontana n’etteeka lya Katonda, tteeka ki lye tusaanidde okugondera?

  • Oyinza okulowoozaayo ku mbeera yonna Abakristaayo mwe batasaanidde kugondera ba buyinza?

4. Mu birowoozo byo ne mu bikolwa byo, tobaako ludda lw’owagira mu by’obufuzi

Soma 1 Yokaana 5:21. Oluvannyuma laba VIDIYO era mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino wammanga.

  • Mu vidiyo, lwaki Ayenge yasalawo obuteegatta ku kibiina ky’eby’obufuzi n’obuteetaba mu bintu ebyoleka mwoyo gwa ggwanga, gamba ng’okukubira bbendera saluti?

  • Olowooza yasalawo mu ngeri ey’amagezi?

Mbeera ki endala eziyinza okutugezesa ku nsonga y’obutabaako ludda lwe tuwagira mu by’obufuzi? Laba VIDIYO, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino wammanga.

  • Tuyinza tutya okusigala nga tetuliiko ludda lwe tuwagira, nga tulaba emizannyo egyetabiddwamu amawanga ag’enjawulo?

  • Tuyinza tutya okusigala nga tetuliiko ludda lwe tuwagira mu by’obufuzi, ne bwe tuba nga naffe tukoseddwa oba nga tuganyuddwa mu ebyo bannabyabufuzi bye baba basazeewo?

  • Ebintu bye tuwulira mu mawulire oba okuva mu bantu be tukolagana nabo, biyinza bitya okukifuula ekizibu gye tuli okusigala nga tetuliiko ludda lwe tuwagira mu by’obufuzi?

Mbeera ki Omukristaayo mw’alina okusigala nga taliiko ludda lw’awagira, mu birowoozo ne mu bikolwa?

OMUNTU AYINZA OKUKUBUUZA NTI: “Lwaki temukubira bbendera saluti era lwaki temuyimba luyimba lwa ggwanga?”

  • Oyinza kuddamu otya?

MU BUFUNZE

Mu birowoozo byabwe, mu bigambo, ne mu bikolwa, Abakristaayo bafuba obutabaako ludda lwe bawagira mu by’obufuzi.

Okwejjukanya

  • Biki bye tusaanidde okuwa gavumenti z’abantu?

  • Lwaki tusigala nga tetuliiko ludda lwe tuwagira mu by’obufuzi?

  • Mbeera ki eziyinza okutugezesa obanga tetuliiko ludda lwe tuwagira mu by’obufuzi?

Eky’okukolako

LABA EBISINGAWO

Biki bye tusaanidde okwefiiriza okusobola okusigala nga tetuliiko ludda lwe tuwagira mu by’obufuzi?

Yakuwa Tatulekereranga (3:14)

Biki ab’omu maka bye basobola okukola okusobola okweteekerateekera ebyo ebiyinza okukifuula ekizibu gye bali okusigala nga tebaliiko ludda lwe bawagira mu by’obufuzi?

Obutabaako Ludda lw’Owagira ng’Oli ku Mikolo (4:25)

Lwaki omuntu okulwanirira eggwanga lye si kye kintu ekisingayo obukulu ky’ayinza okukola?

“Eri Katonda Buli Kimu Kisoboka” (5:19)

Laba engeri gy’oyinza okusigala nga toli wa nsi ng’osalawo mulimu ki gw’onookola.

“Buli Muntu Alyetikka Obuvunaanyizibwa Bwe” (Omunaala gw’Omukuumi, Apuli 1, 2006)