Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 47

Otuuse Okubatizibwa?

Otuuse Okubatizibwa?

Okuva lwe watandika okuyiga Bayibuli, kati oyize ebintu bingi ebikwata ku Yakuwa. Oboolyawo olina n’enkyukakyuka z’okoze okusobola okukolera ku ebyo by’oyize. Kyokka wayinza okubaawo ebikyakulemesa okwewaayo eri Yakuwa era n’okubatizibwa. Mu ssomo lino tugenda kulaba ebitera okulemesa abamu okutuuka ku ddaala ery’okubatizibwa, era n’engeri gy’oyinza okubivvuunukamu.

1. Bintu byenkana wa bye weetaaga okumanya nga tonnabatizibwa?

Okusobola okubatizibwa, weetaaga ‘okutegeerera ddala amazima.’ (1 Timoseewo 2:4) Naye ekyo tekitegeeza nti nga tonnaba kubatizibwa, olina okuba ngʼosobola okuddamu buli kibuuzo abantu kye bayinza okukubuuza ekikwata ku Bayibuli. N’Abakristaayo abamaze emyaka emingi nga babatize bakyeyongera okuyiga. (Abakkolosaayi 1:9, 10) Naye weetaaga okuba ng’omanyi enjigiriza za Bayibuli ezisookerwako. Abakadde mu kibiina bajja kukuyamba okumanya obanga otegeera enjigiriza ezo.

2. Biki by’olina okukola nga tonnabatizibwa?

Nga tonnabatizibwa, olina ‘okwenenya era n’okukyuka.’ (Soma Ebikolwa 3:19.) Kino kitegeeza nti olina okunakuwalira ebibi bye wakola, era n’osaba Yakuwa akusonyiwe. Ate era olina okuba omumalirivu okulekera awo okukola ebintu ebibi, n’okola ebisanyusa Katonda. Okugatta ku ebyo, oba olina okutandika okwenyigira mu bintu ebikolebwa mu kibiina, gamba ng’okubangawo mu nkuŋŋaana, n’okubuulira awamu n’ekibiina ng’omubuulizi atali mubatize.

3. Lwaki tosaanidde kutya kubatizibwa?

Abamu batya nti bwe banaabatizibwa, bajja kulemererwa okutuukiriza ekyo kye baasuubiza Yakuwa. Kyo kituufu nti ebiseera ebimu ojja kukola ensobi, era nga n’abaweereza ba Katonda aboogerwako mu Bayibuli bwe baakolanga ensobi. Naye Yakuwa takitwala nti abaweereza be batuukiridde. (Soma Zabbuli 103:13, 14.) Asanyuka nnyo bw’okola kyonna ky’osobola okumuweereza, era ajja kukuyamba. Mu butuufu, Yakuwa atusuubiza nti tewali ‘kiyinza kutwawukanya ku kwagala kwe.’​—Soma Abaruumi 8:38, 39.

YIGA EBISINGAWO

Manya engeri okweyongera okumanya Yakuwa era n’okukkiriza obuyambi bw’akuwa gye kiyinza okukuyamba okuvvuunuka ebikulemesa okubatizibwa.

4. Manya bulungi Yakuwa

Yakuwa weetaaga kumumanya kyenkana wa nga tonnabatizibwa? Weetaaga okumumanya obulungi kikusobozese okumwagala, era n’okwagala okukola ebimusanyusa. Saako VIDIYO olabe engeri ekyo abayizi ba Bayibuli abatali bamu gye bakikozeemu. Oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino wammanga.

  • Mu vidiyo, biki abamu bye baakola okusobola okutuukiriza ebisaanyizo by’okubatizibwa?

Soma Abaruumi 12:2, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino:

  • Olina ekintu kyonna ky’obuusabuusa ku ebyo Bayibuli by’eyigiriza, oba nti Abajulirwa ba Yakuwa bye bayigiriza ge mazima?

  • Bwe kiba bwe kityo, kiki ky’oyinza okukola?

5. Fuba okuvvuunuka ebyo ebikulemesa okubatizibwa

Ffenna bwe tusalawo okwewaayo eri Yakuwa era ne tubatizibwa, twolekagana n’okusoomooza okutali kumu. Okuwaayo ekyokulabirako kimu ku nsonga eyo, laba VIDIYO oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino wammanga.

  • Mu vidiyo, biki Narangerel bye yalina okuvvuunuka okusobola okuweereza Yakuwa?

  • Okwagala kw’alina eri Yakuwa kwamuyamba kutya okuvvuunuka ebyali bimulemesa?

Soma Engero 29:25 ne 2 Timoseewo 1:7, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:

  • Kiki ekisobola okutuyamba okuvvuunuka ebitulemesa okubatizibwa?

6. Ba mukakafu nti Yakuwa ajja kukuyamba

Yakuwa ajja kukuyamba ng’ofuba okukola ebimusanyusa. Laba VIDIYO, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino wammanga.

  • Mu vidiyo, kiki ekyali kiremesa omuyizi wa Bayibuli oyo okubatizibwa?

  • Kiki kye yayiga ekyamuyamba okweyongera okwesiga Yakuwa?

Soma Isaaya 41:10, 13, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:

  • Oyinza otya okuba omukakafu nti ojja kusobola okutuukiriza Yakuwa by’akusuubiramu oluvannyuma lw’okwewaayo gy’ali?

7. Weeyongere okusiima okwagala Yakuwa kw’akulaga

Gy’onookoma okufumiitiriza ku ngeri Yakuwa gy’akulazeemu okwagala, gy’ojja okukoma okumwagala era n’okwagala okumuweereza emirembe gyonna. Soma Zabbuli 40:5, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:

  • Biki Yakuwa by’akukoledde by’osiima ennyo?

Nnabbi Yeremiya yali ayagala nnyo Yakuwa n’Ekigambo kye, era yali asiima nnyo enkizo gye yalina ey’okuyitibwa erinnya lya Yakuwa. Yagamba nti: “Ekigambo kyo kyafuuka gye ndi okusanyuka n’okujaguza mu mutima gwange, kubanga mpitiddwa erinnya lyo, Ai Yakuwa Katonda.” (Yeremiya 15:16) Ddamu ebibuuzo bino:

  • Lwaki nkizo ya maanyi okuba Omujulirwa wa Yakuwa?

  • Oyagala okubatizibwa ofuuke Omujulirwa wa Yakuwa?

  • Waliwo ekintu kyonna ekikulemesa okubatizibwa?

  • Ggwe kiki ky’olaba kye weetaaga okukola okusobola okutuuka ku kubatizibwa?

ABAMU BAGAMBA NTI: “Bwe nnaabatizibwa, nnyinza obutasobola kutuukiriza bweyamo bwange eri Katonda.”

  • Naawe bw’otyo bw’owulira?

MU BUFUNZE

Yakuwa asobola okukuyamba okuvvuunuka ekintu kyonna ekikulemesa okubatizibwa.

Okwejjukanya

  • Bintu byenkana wa mu Bayibuli bye weetaaga okumanya okusobola okubatizibwa?

  • Nkyukakyuka ki ze weetaaga okukola okusobola okubatizibwa?

  • Lwaki tosaanidde kutya kubatizibwa?

Eky’okukolako

LABA EBISINGAWO

Manya by’oyinza okusinziirako okusalawo okubatizibwa.

“Otuuse Okubatizibwa?” (Omunaala gw’Omukuumi, Maaki 2020)

Manya engeri gy’oyinza okuvvuunukamu ebikulemesa okubatizibwa.

“Kiki Ekiŋŋaana Okubatizibwa?” (Omunaala gw’Omukuumi, Maaki 2019)

Laba engeri omusajja omu gye yavvuunukamu ebyali bimulemesa okubatizibwa.

‘Kiki Ekikulemesa Okubatizibwa?’ (1:10)

Mu kusooka, omwami omu ayitibwa Ataa yali alemereddwa okusalawo okubatizibwa. Laba ekyamuyamba okusalawo okutuuka ku ddaala eryo ekkulu.

Ddala Kino Kiŋŋwanira? (7:21)