Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 48

Weegendereze ng’Olonda Emikwano

Weegendereze ng’Olonda Emikwano

Mikwano gyaffe egy’oku lusegere gitusobozesa okuba abasanyufu mu biseera ebirungi, era gituzzaamu amaanyi mu biseera ebizibu. Kyokka Bayibuli etulabula nti si buli muntu nti aba mukwano mulungi. Kati olwo oyinza otya okulonda emikwano emirungi? Lowooza ku bibuuzo bino wammanga.

1. Abantu b’ofuula mikwano gyo banaakuleetera kweyisa otya?

Tutera okweyisa ng’abantu be tuba tufudde mikwano gyaffe bwe beeyisa. Ekyo kitegeeza nti tuyinza okweyisa obulungi oba obubi, ka kibe nti abantu abo tutera okubeera nabo oba nga tuwuliziganya buwuliziganya nabo ku mikutu emigattabantu. Bayibuli egamba nti: “Omuntu atambula n’ab’amagezi naye ajja kuba wa magezi, naye oyo akolagana n’abasirusiru ajja kugwa mu mitawaana.” (Engero 13:20) Mikwano gyo bwe baba nga basinza Yakuwa era nga bamwagala, bajja kukuyamba okusigala ng’olina enkolagana ennungi naye era n’okusalawo mu ngeri ey’amagezi. Naye mikwano gyo egy’oku lusegere bwe baba nga si baweereza ba Yakuwa, bayinza okukuleetera okuva ku Yakuwa. Eyo ye nsonga lwaki Bayibuli etukubiriza okwegendereza nga tulonda emikwano. Mikwano gyaffe bwe baba nga baagala Katonda, ffenna tuganyulwa. Tuba tusobola ‘okuzziŋŋanamu amaanyi era n’okuzimbagana.’​—1 Abassessalonika 5:11.

2. Yakuwa anaawulira atya olw’abantu b’ofuula mikwano gyo?

Yakuwa alonda mikwano gye n’obwegendereza. “Abagolokofu abafuula mikwano gye egy’oku lusegere.” (Engero 3:32) Olowooza Yakuwa awulira atya singa abantu abatamwagala b’ofuula mikwano gyo? Awatali kubuusabuusa, awulira bubi! (Soma Yakobo 4:4.) Ku luuyi olulala, bwe twewala emikwano emibi era ne tufuna emikwano mu abo abamwagala, kimusanyusa nnyo era tuba n’enkolagana ennungi naye.​—Zabbuli 15:1-4.

YIGA EBISINGAWO

Manya ensonga lwaki kikulu okulonda emikwano emirungi, era n’engeri gy’oyinza okulonda emikwano eginaaba egy’omugaso gy’oli.

3. Weewale emikwano emibi

Abantu abataagala Katonda era abatagoberera mitindo gye egy’empisa, baba mikwano mibi. Laba VIDIYO, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino wammanga.

  • Tuyinza tutya okwesanga nga tutandise okukolagana n’abantu ababi?

Soma 1 Abakkolinso 15:33, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino:

  • Muntu wa ngeri ki atayinza kubeera wa mukwano mulungi gy’oli? Lwaki ogamba bw’otyo?

Soma Zabbuli 119:63, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:

  • Kiki ekiyinza okukulaga obanga omuntu anaaba mukwano mulungi oba mubi?

Ekibala kimu ekivundu, kisobola okuvunza ebirala byonna. Mukwano gwo bw’aba wa mpisa mbi, kiyinza kukukolako ki?

4. Abantu ab’enjawulo ku ffe basobola okuba emikwano emirungi

Bayibuli eyogera ku Dawudi ne Yonasaani, abasajja abaaliwo mu Isirayiri ey’edda. Yonasaani yali asinga Dawudi emyaka mingi, era Yonasaani yali mwana wa kabaka. Kyokka baali ba mukwano nnyo. Soma 1 Samwiri 18:1, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:

  • Lwaki si buli mukwano gwaffe nti alina kuba wa myaka gyaffe oba nti embeera gy’alimu mu bulamu y’emu n’eyaffe?

Soma Abaruumi 1:11, 12, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:

  • Ab’emikwano abaagala Yakuwa basobola batya okuzziŋŋanamu amaanyi?

Mu vidiyo eno, laba engeri ow’oluganda omuvubuka gye yafunamu emikwano mu bantu mwe yali tasuubira kugifuna. Laba VIDIYO, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino wammanga.

  • Mu vidiyo, lwaki bazadde ba Akil baali beeraliikirivu olw’emikwano gye yali afunye ku ssomero?

  • Mu kusooka, biki ebyamuleetera okwagala okufuula abaana abo mikwano gye?

  • Yasobola atya okuvvuunuka ekiwuubaalo?

5. Engeri gy’oyinza okufunamu emikwano emirungi

Laba engeri gy’oyinza okufunamu emikwano emirungi, era n’engeri naawe gy’oyinza okuba ow’omukwano omulungi. Laba VIDIYO.

Soma Engero 18:24 ne 27:17, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino:

  • Ab’omukwano aba nnamaddala bayambagana batya?

  • Olinayo emikwano bwe gityo? Bw’oba tobalina, oyinza otya okubafuna?

Soma Abafiripi 2:4, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:

  • Okusobola okufuna emikwano emirungi, naawe olina okuba ow’omukwano omulungi. Oyinza otya okuba ow’omukwano omulungi?

Okusobola okufuna emikwano emirungi, olina okuba ow’omukwano omulungi

ABAMU BAGAMBA NTI: “Osobola okufuula omuntu yenna mukwano gwo.”

  • Ggwe olowooza otya?

MU BUFUNZE

Bwe tulonda mikwano gyaffe n’obwegendereza, tusanyusa Yakuwa era naffe tuganyulwa.

Okwejjukanya

  • Lwaki Yakuwa afaayo ku baani be tufuula mikwano gyaffe?

  • Mikwano gya ngeri ki gye tusaanidde okwewala?

  • Oyinza otya okufuna emikwano emirungi?

Eky’okukolako

LABA EBISINGAWO

Laba engeri emikwano emirungi gye gisobola okutuyamba mu biseera ebizibu.

“Kola Emikwano Eminywevu ng’Enkomerero Tennajja” (Omunaala gw’Omukuumi, Noovemba 2019)

Lowooza ku bintu by’oyinza okukola okusobola okufuna emikwano emirungi.

“Nnyinza Ntya Okufuna Emikwano Emirungi?” (Questions Young People Ask, Omuzingo 1, essuula 8)

Biki by’osaanidde okumanya ku mikwano egifunirwa ku Intaneeti?

Emikutu Emigattabantu Gikozese mu Ngeri ey’Amagezi (4:12)

Mu kitundu ekirina omutwe, “Nnayagala Nnyo Okufuna Taata Omulungi,” laba ekyaleetera omusajja omu okweggyako emikwano emibi n’afuna emikwano emirungi.

“Bayibuli Ekyusa Obulamu bw’Abantu” (Omunaala gw’Omukuumi, Apuli 1, 2012)