Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 50

Amaka Go Gayinza Gatya Okubaamu Essanyu?—Ekitundu 2

Amaka Go Gayinza Gatya Okubaamu Essanyu?—Ekitundu 2

Abaana birabo okuva eri Yakuwa. Yakuwa asuubira abazadde okulabirira obulungi ebirabo ebyo. Yakuwa awa abazadde amagezi agasobola okubayamba okukuza obulungi abaana baabwe. Abaana nabo bwe bakolera ku magezi Yakuwa g’abawa, kisobozesa amaka okubaamu essanyu.

1. Magezi ki Yakuwa g’awa abazadde?

Yakuwa ayagala abazadde baagale abaana baabwe, era baweeyo obudde obumala okubeerako nabo. Ate era ayagala abazadde okukuuma abaana baabwe baleme kutuukibwako kabi, era n’okukozesa amagezi agali mu Bayibuli nga batendeka abaana baabwe. (Engero 1:8) Agamba bataata ‘okukuliza abaana baabwe mu kukangavvula ne mu kubuulirira kwa Yakuwa.’ (Soma Abeefeso 6:4.) Yakuwa asanyuka nnyo abazadde bwe bakolera ku magezi g’abawa nga bakuza abaana baabwe, era obuvunaanyizibwa obwo ne batabuwa muntu mulala.

2. Kiki Yakuwa ky’ayagala abaana bakole?

Yakuwa agamba abaana nti: “Mugonderenga bazadde bammwe.” (Soma Abakkolosaayi 3:20.) Abaana bwe bawa bazadde baabwe ekitiibwa era ne babagondera, basanyusa Yakuwa era basanyusa ne bazadde baabwe. (Engero 23:22-25) Yesu yassaawo ekyokulabirako ekirungi bwe yali akyali muto. Wadde nga yali atuukiridde, yagonderanga bazadde be era yabawanga ekitiibwa.​—Lukka 2:1, 52.

3. Mmwenna ng’amaka, muyinza mutya okwongera okunyweza enkolagana gye mulina ne Katonda?

Bw’oba oli muzadde, tewali kubuusabuusa nti oyagala abaana bo baagale Yakuwa nga naawe bw’omwagala. Oyinza otya okubayamba okwagala Yakuwa? Ekyo oyinza okukikola ng’ogoberera amagezi gano Bayibuli g’ewa abazadde. Egamba nti: “[Ebigambo bya Yakuwa] onoonyiikiranga okubiyigiriza abaana bo, era onoobyogerangako bw’onootuulanga mu nnyumba yo, bw’onootambulanga mu kkubo.” (Ekyamateeka 6:7) Ekigambo “onoonyiikiranga” kitegeeza okuyigiriza abaana bammwe nga muddiŋŋana ebyo bye muba mubayigiriza. Ekyo kijja kuyamba abaana okubijjukira. Ekyawandiikibwa ekyo era kiraga nti musaanidde okukozesa buli kakisa ke mufuna okwogera n’abaana bammwe ebikwata ku Yakuwa. Kiba kirungi okufunangayo akadde buli wiiki okusinziza awamu Yakuwa ng’amaka. Ne bwe muba nga temulina baana, mujja kuganyulwa nnyo bwe munaafunangayo akadde buli wiiki ne musomera wamu Ekigambo kya Katonda.

YIGA EBISINGAWO

Laba amagezi agasobola okuyamba ab’omu maka okuwulira nga balina obukuumi era n’okuba abasanyufu.

4. Mutendeke abaana bammwe mu ngeri ey’okwagala

Okutendeka abaana si kyangu. Bayibuli eyinza kubayamba etya? Soma Yakobo 1:19, 20, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino:

  • Abazadde bayinza batya okwoleka okwagala nga boogera n’abaana baabwe?

  • Lwaki omuzadde tasaanidde kukangavvula mwana we nga musunguwavu? a

5. Kuuma abaana bo

Okusobola okukuuma obulungi abaana bo, kyetaagisa okwogera na buli mwana ku bikwata ku by’okwegatta. Ekyo kiyinza obutaba kyangu. Laba VIDIYO, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino wammanga.

  • Lwaki si kyangu eri abazadde abamu okwogera n’abaana baabwe ku by’okwegatta?

  • Abazadde abamu basobodde batya okwogera n’abaana baabwe ku by’okwegatta?

Nga bwe kyayogerwako mu bunnabbi bwa Bayibuli, ensi ya Sitaani yeeyongeredde ddala okuba embi. Soma 2 Timoseewo 3:1, 13, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:

  • Abamu ku bantu ababi aboogerwako mu lunyiriri 13, bakabasanya abaana. N’olwekyo, lwaki kikulu nnyo abazadde okwogera n’abaana baabwe ku bikwata ku by’okwegatta, era n’engeri gye bayinza okwekuumamu abo abayinza okubakabasanya?

Obadde okimanyi?

Abajulirwa ba Yakuwa bafulumizza vidiyo n’ebitabo bingi ebiyamba abazadde okuyigiriza abaana baabwe ebikwata ku by’okwegatta, era n’engeri gye bayinza okwekuumamu abo abayinza okubakabasanya. Ng’ekyokulabirako, laba:

6. Bazadde bo basseemu ekitiibwa

Engeri abaana gye boogeramu ne bazadde baabwe, eyinza okulaga obanga babassaamu ekitiibwa. Laba VIDIYO, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino wammanga.

  • Lwaki kirungi omwana okwogera obulungi ne bazadde be?

  • Omuvubuka ayinza atya okwogera ne bazadde be mu ngeri eraga nti abassaamu ekitiibwa?

Soma Engero 1:8, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:

  • Omuvubuka yandyeyisizza atya nga bazadde be bamuwabudde?

7. Musinzize wamu Yakuwa ng’amaka

Amaka g’Abajulirwa ba Yakuwa gassaawo olunaku buli wiiki olw’okusinzizaamu Yakuwa. Okusinza kw’amaka kuno, kuyinza kubeera kutya? Laba VIDIYO, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino wammanga.

  • Amaka gayinza gatya okuba n’okusinza kw’amaka obutayosa?

  • Kiki omuzadde ky’ayinza okukola okukakasa nti okusinza kw’amaka kuba kwa muganyulo era nga kunyuvu?​—Laba ekifaananyi ekisooka mu ssomo lino.

  • Biki ebiyinza okukifuula ekizibu gye muli okuba n’okusinza kw’amaka obutayosa?

Mu Isirayiri ey’edda, Yakuwa yali ayagala abazadde n’abaana bakubaganyenga ebirowoozo ku Byawandiikibwa. Soma Ekyamateeka 6:6, 7, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:

  • Muyinza mutya okukolera ku magezi agali mu kyawandiikibwa ekyo?

Bye muyinza okukola mu kusinza kw’amaka:

  • Okutegekera awamu enkuŋŋaana z’ekibiina.

  • Okusoma ekitundu ekimu mu Bayibuli ekinaanyumira ab’omu maka bonna era ne mukikubaganyaako ebirowoozo.

  • Bwe muba nga mulina abaana abato, muyinza okukozesa ebyo abaana bye basobola okukola ebiri ku jw.org/lg.

  • Bwe muba nga mulina abaana abavubuse, muyinza okukubaganya nabo ebirowoozo ku kimu ku bitundu ebikwata ku bavubuka ebiri ku jw.org/lg.

  • Okuzannya n’abaana bammwe omuzannyo ogukwata ku kintu ekimu ekyogerwako mu Bayibuli.

  • Okulaba emu ku vidiyo eziri ku jw.org/lg ne mugikubaganyaako ebirowoozo.

ABAMU BAGAMBA NTI: “Bayibuli nzibu nnyo; abaana tebasobola kugitegeera.”

  • Ggwe olowooza otya?

MU BUFUNZE

Yakuwa ayagala abazadde baagale abaana baabwe, babatendeke, era babakuume; ayagala abaana basse ekitiibwa mu bazadde baabwe era babagondere; era ayagala ab’omu maka bamusinzize wamu.

Okwejjukanya

  • Abazadde bayinza batya okutendeka abaana baabwe n’okubakuuma?

  • Abaana bayinza batya okulaga nti bassa ekitiibwa mu bazadde baabwe?

  • Ab’omu maka baganyulwa batya bwe bassaawo olunaku olw’okusinziza awamu Yakuwa?

Eky’okukolako

LABA EBISINGAWO

Biki bye muyinza okuyigiriza abaana bammwe okubayamba okuba ab’obuvunaanyizibwa nga bakuze?

“Ebintu Mukaaga Abaana Bye Beetaaga Okuyiga” (Zuukuka! Na. 2 2019)

Laba amagezi Bayibuli g’ewa abo abalabirira bazadde baabwe abakaddiye.

“Bayibuli Eyogera Ki ku Kulabirira Abazadde Abakaddiye?” (Kiri ku mukutu)

Laba engeri omusajja eyali tamanyi ngeri ya kuyigiriza bulungi baana, gye yafuuka taata omulungi.

Yakuwa Yatuyigiriza Engeri y’Okukuzaamu Abaana Baffe (5:58)

Laba engeri bataata gye basobola okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne batabani baabwe.

“Bataata Bayinza Batya Okusigaza Enkolagana ey’Oku Lusegere ne Batabani Baabwe?” (Omunaala gw’Omukuumi, Jjanwali 1, 2012)

a Mu Bayibuli, okukangavvula kizingiramu okuwa amagezi n’okuwabula. Tekitegeeza kukozesa bukambwe.​—Engero 4:1.