Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 51

Engeri gy’Oyogeramu Eyinza Etya Okusanyusa Yakuwa?

Engeri gy’Oyogeramu Eyinza Etya Okusanyusa Yakuwa?

Yakuwa bwe yatutonda, yatuwa ekirabo eky’omuwendo ennyo, nga buno bwe busobozi bw’okwogera. Yakuwa afaayo ku ngeri gye tukozesaamu ekirabo ekyo? Yee! (Soma Yakobo 1:26.) Kati olwo tuyinza tutya okwogera mu ngeri esanyusa Yakuwa?

1. Tusaanidde kukozesa tutya ekirabo eky’okwogera?

Bayibuli etukubiriza ‘okuzziŋŋanangamu amaanyi era n’okuzimbagananga.’ (1 Abassessalonika 5:11) Waliwo b’oyinza okulowoozaako abeetaaga okuzzibwamu amaanyi? Kiki ky’oyinza okukola okubazzaamu amaanyi? Bakakase nti obafaako. Oboolyawo oyinza okubabuulira ebintu by’obasiimako. Waliwo ekyawandiikibwa ky’oyinza okulowoozaako ekiyinza okuzzaamu omuntu omulala amaanyi? Waliwo ebyawandiikibwa bingi ebizzaamu amaanyi by’osobola okukozesa. Ate era kijjukire nti ng’oggyeeko okuba nti ebigambo by’oyogera bisobola okukwata ennyo ku muntu, engeri gy’obyogeramu nayo nkulu nnyo. N’olwekyo, bulijjo fuba okwogera mu ngeri ey’ekisa era ey’obukkakkamu.​—Engero 15:1.

2. Njogera ya ngeri ki gye tulina okwewala?

Bayibuli egamba nti: “Ekigambo ekivundu tekivanga mu kamwa kammwe.” (Soma Abeefeso 4:29.) Ekyo kitegeeza nti tulina okwewala okukozesa ebigambo ebitasaana oba ebirumya abalala. Ate era tusaanidde okwewala olugambo n’okuwaayiriza abalala.​—Soma Engero 16:28.

3. Kiki ekinaatuyamba okwogera mu ngeri ezimba abalala?

Emirundi mingi, ebyo bye twogera biba biraga ekyo ekiri ku mutima gwaffe oba mu birowoozo byaffe. (Lukka 6:45) N’olwekyo, tusaanidde okufuba okulowooza ku bintu ebirungi, kwe kugamba, ebintu eby’obutuukirivu, ebirongoofu, ebyagalibwa, era ebyogerwako obulungi. (Abafiripi 4:8) Okusobola okulowooza ku bintu ebyo, tulina okulonda eby’okwesanyusaamu ebirungi era n’emikwano emirungi. (Engero 13:20) Ate era kikulu okusooka okulowooza nga tetunnayogera. Lowooza ku ngeri ebyo by’ogenda okwogera gye binaakwata ku balala. Bayibuli egamba nti: “Ayogera nga tasoose kulowooza, ebigambo bye bifumita ng’ekitala, naye ebigambo by’ab’amagezi biwonya.”​—Engero 12:18.

YIGA EBISINGAWO

Manya engeri gy’oyinza okwogera mu ngeri esanyusa Yakuwa era ezzaamu abalala amaanyi.

4. Weegendereze by’oyogera, ddi lw’obyogera, n’engeri gy’obyogeramu

Ebiseera ebimu ffenna tubaako ebintu bye twogera oluvannyuma ne tubyejjusa. (Yakobo 3:2) Soma Abaggalatiya 5:22, 23, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino:

  • Ku ngeri ezo eziri mu kibala ky’omwoyo, ziruwa ze weetaaga okusaba Yakuwa akuyambe okukulaakulanya osobole okwogera mu ngeri esaana? Okuba n’engeri ezo kiyinza kukuyamba kitya?

Soma 1 Abakkolinso 15:33, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:

  • Emikwano gy’olonda awamu n’eby’okwesanyusaamu by’onyumirwa biyinza kukola ki ku njogera yo?

Soma Omubuulizi 3:1, 7, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:

  • Ddi lwe kiyinza okuba eky’amagezi okusirika oba okulinda ekiseera ekituufu okwogera?

5. Yogera bulungi ku balala

Tuyinza tutya okwewala okwogera ebigambo ebitali bya kisa oba ebirumya abalala? Laba VIDIYO, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino wammanga.

  • Mu vidiyo eyo, lwaki ow’oluganda yalina okukyusaamu mu ngeri gye yali ayogera ku balala?

  • Kiki kye yakola okusobola okukyusaamu?

Soma Omubuulizi 7:16, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:

  • Kiki kye tusaanidde okujjukira bwe tuba tugenda kwogera ekintu ekitali kirungi ku muntu?

Soma Omubuulizi 7:21, 22, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:

  • Ennyiriri ezo ziyinza kukuyamba zitya obutava mu mbeera nga waliwo omuntu akwogeddeko obubi?

6. Beera wa kisa ng’oyogera n’ab’omu maka go

Yakuwa ayagala twogere n’ab’omu maka gaffe mu ngeri ey’ekisa era ey’okwagala. Laba VIDIYO, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino wammanga.

  • Kiki ekinaakuyamba okwogera n’ab’omu maka go mu ngeri ey’ekisa?

Soma Abeefeso 4:31, 32, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:

  • Njogera ya ngeri ki ezimba ab’omu maka?

Yakuwa yakyoleka mu bigambo nti yali ayagala nnyo Omwana we, Yesu. Soma Matayo 17:5, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:

  • Oyinza otya okukoppa Yakuwa mu ngeri gy’oyogeramu n’ab’omu maka go?

Kozesa akakisa konna k’ofuna okusiima abalala

ABAMU BAGAMBA NTI: “Nze njogera ekindi ku mutima. Abalala bwe baba tebaagala bye njogera, ebyo bizibu byabwe.”

  • Okkiriziganya n’endowooza eyo? Lwaki ogamba bw’otyo?

MU BUFUNZE

Ebigambo birina amaanyi. Tulina okwegendereza ebyo bye twogera, ddi lwe tubyogera, n’engeri gye tubyogeramu.

Okwejjukanya

  • Oyinza otya okwogera mu ngeri ezimba abalala?

  • Njogera ya ngeri ki gy’osaanidde okwewala?

  • Kiki ekiyinza okutuyamba bulijjo okwogera mu ngeri ey’ekisa era ezimba abalala?

Eky’okukolako

LABA EBISINGAWO

Kiki ekiyinza okutuyamba okwogera mu ngeri esaana?

Kozesa Olulimi Lwo mu Ngeri ey’Amagezi (8:04)

Laba ekiyinza okukuyamba okwewala enjogera etasaana.

Ddala Kibi Nnyo Okukozesa Ebigambo Ebibi?” (Kiri ku mukutu)

Laba engeri gy’oyinza okwewalamu olugambo.

Nnyinza Ntya Okukomya Olugambo? (2:36)

Laba engeri Yakuwa gye yayambamu omusajja omu okulekera awo okukozesa ebigambo ebivuma.

“Nnatandika Okulowooza Ennyo ku Biseera Byange eby’Omu Maaso” (Omunaala gw’Omukuumi, Agusito 1, 2013)