Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 54

Obuvunaanyizibwa “Omuddu Omwesigwa era ow’Amagezi” bw’Alina

Obuvunaanyizibwa “Omuddu Omwesigwa era ow’Amagezi” bw’Alina

Yesu gwe mutwe gw’ekibiina Ekikristaayo. (Abeefeso 5:23) Yesu ng’asinziira mu ggulu, awa abagoberezi be ku nsi obulagirizi ng’ayitira mu ‘muddu omwesigwa era ow’amagezi.’ (Soma Matayo 24:45.) Yesu kennyini ye yalonda “omuddu omwesigwa” n’amuwa obuyinza okusalawo ku bintu ebitali bimu. Naye omuddu oyo alina okumugondera era alina okuweereza baganda ba Kristo. Omuddu oyo y’ani, era atulabirira atya?

1. “Omuddu omwesigwa era ow’amagezi” y’ani?

Okuviira ddala mu biseera eby’edda, Yakuwa abaddengako omuntu oba abantu abatonotono b’akozesa okuwa abantu be obulagirizi. (Malaki 2:7; Abebbulaniya 1:1) Oluvannyuma lwa Yesu okufa, abatume n’abakadde abaali mu Yerusaalemi be baali batwala obukulembeze mu kibiina Ekikristaayo. (Ebikolwa 15:2) Nga bwe kyali mu kyasa ekyasooka, ne leero waliwo abakadde abatonotono abatwala obukulembeze mu kibiina Ekikristaayo. Bano bayitibwa Akakiiko Akafuzi ak’Abajulirwa ba Yakuwa. Bawa abantu ba Katonda emmere ey’eby’omwoyo era babawa obulagirizi ku ngeri y’okukolamu omulimu gw’okubuulira. Abakadde abo ye ‘muddu omwesigwa era ow’amagezi Yesu gwe yalonda.’ (Matayo 24:45a) Bonna abali ku Kakiiko Akafuzi Bakristaayo abaafukibwako amafuta, abalina essuubi ery’okufugira awamu ne Yesu mu ggulu.

2. Mmere ki ey’eby’omwoyo omuddu omwesigwa gy’atuwa?

Yesu yagamba nti omuddu omwesigwa yandibadde awa Bakristaayo banne “emmere yaabwe mu kiseera ekituufu.” (Matayo 24:45b) Ng’emmere gye tulya bw’etuyamba okufuna amaanyi n’okuba abalamu obulungi, emmere ey’eby’omwoyo, kwe kugamba, ebintu bye tuyigirizibwa ebikwata ku Yakuwa, etuyamba okufuna amaanyi ge twetaaga okusobola okukola omulimu Yesu gwe yatuwa n’okusigala nga tuli beesigwa eri Yakuwa. (1 Timoseewo 4:6) Tufuna emmere ey’eby’omwoyo okuyitira mu nkuŋŋaana ennene n’entono, mu bitabo, awamu ne vidiyo. Ebintu ebyo bituyamba okutegeera Katonda by’ayagala era n’okunyweza enkolagana yaffe naye.

YIGA EBISINGAWO

Laba ensonga lwaki twetaaga “omuddu omwesigwa era ow’amagezi,” kwe kugamba, Akakiiko Akafuzi.

Akakiiko Akafuzi kawa Abajulirwa ba Yakuwa mu nsi yonna emmere ey’eby’omwoyo, obulagirizi, n’obuyambi obulala

3. Abantu ba Yakuwa balina okuba nga bategekeddwa bulungi

Nga bakolera ku bulagirizi bwa Yesu, ab’oluganda abali ku Kakiiko Akafuzi balabirira omulimu gw’okubuulira ogukolebwa Abajulirwa ba Yakuwa. Enteekateeka ng’eyo yaliwo ne mu kyasa ekyasooka. Laba VIDIYO.

Soma 1 Abakkolinso 14:33, 40, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:

  • Ennyiriri ezo ziraga zitya nti Yakuwa ayagala abaweereza be babe nga bategekeddwa bulungi?

4. Omuddu omwesigwa y’alabirira omulimu gwaffe ogw’okubuulira

Omulimu gw’okubuulira gwe gwali gusingayo obukulu eri Abakristaayo abaaliwo mu kyasa ekyasooka. Soma Ebikolwa 8:14, 25, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino:

  • Abakristaayo abaaliwo mu kyasa ekyasooka, ani yabawanga obulagirizi ku ngeri y’okukolamu omulimu gw’okubuulira?

  • Peetero ne Yokaana baakolera batya ku bulagirizi batume bannaabwe bwe baabawa?

Omulimu ogusinga obukulu Akakiiko Akafuzi gwe kalabirira gwe gw’okubuulira. Laba VIDIYO.

Yesu yakiraga nti omulimu gw’okubuulira mukulu nnyo. Soma Makko 13:10, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino:

  • Lwaki Akakiiko Akafuzi katwala omulimu gw’okubuulira nga mukulu nnyo?

  • Lwaki twetaaga “omuddu omwesigwa era ow’amagezi” okutuwa obulagirizi ku mulimu guno ogukolebwa mu nsi yonna?

5. Omuddu omwesigwa atuwa obulagirizi

Akakiiko Akafuzi kawa Abakristaayo mu nsi yonna obulagirizi. Kasalawo katya ku bulagirizi obuba bwetaagisa? Laba engeri akakiiko akafuzi akaaliwo mu kyasa ekyasooka gye kaakikolamu. Soma Ebikolwa 15:1, 2, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino:

  • Nsonga ki eyaviirako obutakkaanya mu bamu ku Bakristaayo abaaliwo mu kyasa ekyasooka?

  • Pawulo ne Balunabba awamu n’abalala, baagenda eri baani okusobola okugonjoola ensonga eyo?

Soma Ebikolwa 15:12-18, 23-29, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:

  • Akakiiko akafuzi akaaliwo mu kyasa ekyasooka bwe kaali tekannasalawo ku nsonga eyo, kaakola ki okusobola okufuna obulagirizi obuva eri Katonda?​—Laba olunyiriri 12, 15, ne 28.

Soma Ebikolwa 15:30, 31 ne 16:4, 5, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino:

  • Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka baatwala batya obulagirizi obwava eri akakiiko akafuzi?

  • Mikisa ki Yakuwa gye yabawa olw’obuwulize bwabwe?

Soma 2 Timoseewo 3:16 ne Yakobo 1:5, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:

  • Akakiiko Akafuzi bwe kaba kalina bye kasalawo leero, kaggya wa obulagirizi?

ABAMU BAGAMBA NTI: “Bw’okolera ku ebyo Akakiiko Akafuzi bye kagamba, oba ogoberera bantu.”

  • Ggwe kiki ekikukakasa nti Yesu y’awa Akakiiko Akafuzi obulagirizi?

MU BUFUNZE

Akakiiko Akafuzi ye “muddu omwesigwa era ow’amagezi” Kristo gwe yalonda. Kawa Abakristaayo mu nsi yonna obulagirizi n’emmere ey’eby’omwoyo.

Okwejjukanya

  • Ani yalonda “omuddu omwesigwa era ow’amagezi”?

  • Akakiiko Akafuzi katulabirira katya leero?

  • Okkiriza nti Akakiiko Akafuzi ye “muddu omwesigwa era ow’amagezi”?

Eky’okukolako

LABA EBISINGAWO

Manya engeri Akakiiko Akafuzi gye kategekeddwamu okusobola okukola omulimu gwako.

“Akakiiko Akafuzi ak’Abajulirwa ba Yakuwa Kye Ki?” (Kiri ku mukutu)

Laba engeri Akakiiko Akafuzi gye kakakasaamu nti tufuna emmere ey’eby’omwoyo ennungi.

Okufulumya Ebitabo Ebirimu Ebintu Ebituufu (17:18)

Abo abali ku Kakiiko Akafuzi batwala batya omulimu Yesu gwe yabawa?

Enkizo ey’Omuwendo (7:04)

Enkuŋŋaana zaffe ennene n’entono, zikyoleka zitya nti Yakuwa awa Akakiiko Akafuzi obulagirizi?

Yakuwa Ayigiriza Abantu Be (9:39)