Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 59

Osobola Okugumira Okuyigganyizibwa

Osobola Okugumira Okuyigganyizibwa

Mu ngeri emu oba endala, Abakristaayo ffenna tujja kubaako abatuyigganya nga baagala okutulemesa okuweereza Yakuwa. Ekyo kyanditweraliikirizza?

1. Lwaki tusuubira okuyigganyizibwa?

Bayibuli egamba nti: “Abo bonna abaagala okutambulira mu bulamu obw’okwemalira ku Katonda ng’abagoberezi ba Kristo Yesu, bajja kuyigganyizibwanga.” (2 Timoseewo 3:12) Yesu yayigganyizibwa olw’okuba teyali wa nsi ya Sitaani. Naffe tetuli ba nsi. N’olwekyo tekitwewuunyisa bwe tuyigganyizibwa gavumenti ezitali zimu mu nsi oba amadiini.​—Yokaana 15:18, 19.

2. Tuyinza tutya okweteekerateekera okuyigganyizibwa?

Tulina okunyweza okukkiriza kwaffe kati. N’olwekyo, sabanga Yakuwa buli lunaku era ssaawo ekiseera okusomanga Ekigambo kye. Beerangawo mu nkuŋŋaana z’ekibiina obutayosa. Bw’okola bw’otyo, okukkiriza kwo kujja kunywera osobole okwaŋŋanga okuyigganyizibwa kwonna kw’oyinza okwolekagana nakwo, ka kube nga kuva eri ab’eŋŋanda zo. Omutume Pawulo, eyayigganyizibwa ennyo, yagamba nti: “Yakuwa ye muyambi wange; siityenga.”​—Abebbulaniya 13:6.

Okubuulira obutayosa nakyo kituyamba okuba abavumu. Kituyamba okwesiga Yakuwa era ne tulekera awo okutya abantu. (Engero 29:25) Bw’ofuna obuvumu okubuulira kati, ojja kusobola okweyongera okubuulira ne mu kiseera ng’ab’obuyinza batukugira oba nga baweze omulimu gwaffe ogw’okubuulira.​—1 Abassessalonika 2:2.

3. Bwe tugumira okuyigganyizibwa tuganyulwa tutya?

Kya lwatu teri ayagala kuyigganyizibwa. Naye bwe tugumiikiriza nga tuyigganyizibwa, okukkiriza kwaffe kweyongera okunywera. Enkolagana yaffe ne Yakuwa nayo yeeyongera okunywera kubanga tulaba engeri gy’atuyambamu okwaŋŋanga ekizibu ekyo. (Soma Yakobo 1:2-4.) Yakuwa awulira bubi bw’alaba nga tubonaabona, naye kimusanyusa bw’alaba nga tusigadde tuli beesigwa gy’ali. Bayibuli egamba nti: “Bwe mugumiikiriza nga mubonaabona olw’okukola ebirungi, ekyo kye kisiimibwa mu maaso ga Katonda.” (1 Peetero 2:20) Abo bonna abanaasigala nga beesigwa eri Yakuwa, bajja kufuna empeera ey’obulamu obutaggwaawo mu nsi empya. Bonna abalibeera mu nsi empya, baliba basinza Yakuwa nga tewali n’omu abakugira.​—Matayo 24:13.

YIGA EBISINGAWO

Laba ensonga lwaki kisoboka era lwaki kya muganyulo okusigala nga tuli beesigwa eri Yakuwa wadde nga tuyigganyizibwa.

4. Osobola okugumira okuyigganyizibwa okuva eri ab’eŋŋanda zo

Yesu yagamba nti bwe tusalawo okusinza Yakuwa, ab’eŋŋanda zaffe bayinza obutakyagala. Soma Matayo 10:34-36, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:

  • Kiki ekiyinza okubaawo singa omu ku b’omu maka asalawo okuweereza Yakuwa?

Okuwaayo ekyokulabirako, laba VIDIYO oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino wammanga.

  • Kiki ky’oyinza okukola, singa omu ku b’eŋŋanda zo oba mukwano gwo agezaako okukulemesa okuweereza Yakuwa?

Soma Zabbuli 27:10 ne Makko 10:29, 30. Oluvannyuma lw’okusoma buli kyawandiikibwa, mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:

  • Ebigambo ebyo biyinza kukuyamba bitya ng’oyigganyizibwa ab’eŋŋanda zo oba mikwano gyo?

5. Weeyongere okuweereza Yakuwa wadde ng’oyigganyizibwa

Kitwetaagisa okuba abavumu okusobola okweyongera okuweereza Yakuwa nga waliwo abagezaako okutulemesa. Laba VIDIYO, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino wammanga.

  • Mu by’olabye mu vidiyo, kiruwa ekikuzzizzaamu amaanyi?

Soma Ebikolwa 5:27-29 ne Abebbulaniya 10:24, 25. Oluvannyuma lw’okusoma buli kyawandiikibwa, mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:

  • Lwaki kikulu okweyongera okusinza Yakuwa ne bwe kiba nti omulimu gwaffe guwereddwa, oba nga tetukyakkirizibwa kukuŋŋaana wamu?

6. Yakuwa ajja kukuyamba osobole okugumiikiriza

Abajulirwa ba Yakuwa ab’emyaka egy’enjawulo mu bitundu ebitali bimu eby’ensi, basobodde okweyongera okuweereza Yakuwa n’obwesigwa wadde nga bayigganyizibwa. Okusobola okumanya ekibayambye, laba VIDIYO. Oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino wammanga.

  • Mu vidiyo eyo, kiki ekyayamba Abajulirwa ba Yakuwa abo okugumiikiriza?

Soma Abaruumi 8:35, 37-39 ne Abafiripi 4:13. Oluvannyuma lw’okusoma buli kyawandiikibwa, mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:

  • Ekyawandiikibwa ekyo kikukakasa kitya nti osobola okugumira ekigezo kyonna?

Soma Matayo 5:10-12, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:

  • Lwaki osobola okuba omusanyufu wadde ng’oyigganyizibwa?

Abaweereza ba Yakuwa bangi basobodde okugumira okuyigganyizibwa. Naawe osobola!

ABAMU BAGAMBA NTI: “Sisobola kugumira kuyigganyizibwa.”

  • Byawandiikibwa ki by’oyinza okubasomera, okusobola okubayamba okufuna obuvumu bwe beetaaga?

MU BUFUNZE

Yakuwa asanyuka nnyo bwe tweyongera okumuweereza n’obwesigwa wadde nga tuyigganyizibwa. Atuwa obuyambi bwe twetaaga okusobola okugumiikiriza.

Okwejjukanya

  • Lwaki Abakristaayo basaanidde okusuubira okuyigganyizibwa?

  • Kiki ky’osaanidde okukola kati, okweteekerateekera okuyigganyizibwa?

  • Kiki ekisobola okukuyamba okuba omukakafu nti osobola okuweereza Yakuwa k’obe ng’oyolekagana na kizibu ki?

Eky’okukolako

LABA EBISINGAWO

Laba omuvubuka omu ayogera ku ngeri Yakuwa gye yamuyambamu okugumiikiriza bwe yali ng’asibiddwa mu kkomera olw’obutabaako ludda lw’awagira mu by’obufuzi.

Okugumira Okuyigganyizibwa (2:34)

Laba ekyayamba omwami omu ne mukyala we okuweereza Yakuwa n’obwesigwa okumala emyaka mingi, wadde nga baali bayigganyizibwa.

Okuweereza Yakuwa mu Kiseera eky’Enkyukakyuka (7:11)

Laba engeri gy’oyinza okuba omuvumu ng’oyolekagana n’okuyigganyizibwa.

“Weeteekereteekere Kati Okuyigganyizibwa” (Omunaala gw’Omukuumi, Jjulaayi 2019)

Tusaanidde kutwala tutya okuyigganyizibwa okuva eri ab’eŋŋanda zaffe, era biki bye tuyinza okukola okusobola okukugumira?

“Amazima Tegaleeta ‘Mirembe Wabula Kitala’” (Omunaala gw’Omukuumi, Okitobba 2017)