Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ebyongerezeddwako

Ebyongerezeddwako
  1.  Okumanya Babulooni Ekinene

  2.  Ddi Masiya lwe Yandirabise?

  3.  Enzijanjaba Ezizingiramu Okukozesa Omusaayi

  4.  Abafumbo Okwawukana

  5.  Emikolo n’Ennaku Enkulu

  6.  Endwadde Ezikwata Amangu

  7.  Ebya Bizineesi n’eby’Amateeka

 1. Okumanya Babulooni Ekinene

Tumanya tutya nti “Babulooni Ekinene” kikiikirira amadiini gonna ag’obulimba? (Okubikkulirwa 17:5) Lowooza ku bino:

  • Kiri mu nsi yonna. Babulooni Ekinene kyogerwako ng’omukazi atudde ku ‘bibiina by’abantu n’amawanga.’ Ate era ‘kifuga bakabaka b’ensi.’​—Okubikkulirwa 17:15, 18.

  • Tekisobola kuba nga kikiikirira nteekateeka ya bya bufuzi oba ey’eby’obusuubuzi. “Bakabaka b’ensi” era ‘n’abasuubuzi’ bajja kubaawo nga kizikirizibwa.​—Okubikkulirwa 18:9, 15.

  • Kivumaganya Katonda. Kiyitibwa malaaya olw’okuba kikolagana ne gavumenti okusobola okufuna ssente n’ebintu ebirala. (Okubikkulirwa 17:1, 2) Kibuzaabuza abantu ab’amawanga gonna, era kivunaanyizibwa ku kufa kw’abantu bangi.​—Okubikkulirwa 18:23, 24.

Ddayo mu ssomo 13 akatundu 6

 2. Ddi Masiya lwe Yandirabise?

Bayibuli yagamba nti Masiya yandirabise oluvannyuma lwa wiiki 69.​—Soma Danyeri 9:25.

  • Wiiki 69 zaatandika ddi? Zaatandika mu mwaka gwa 455 E.E.T. Mu kiseera ekyo, Gavana Nekkemiya yagenda mu Yerusaalemi “okuddamu okuzimba” ekibuga ekyo.​—Danyeri 9:25; Nekkemiya 2:1, 5-8.

  • Wiiki 69 zaamala bbanga ki? Mu bunnabbi obumu obuli mu Bayibuli, olunaku lukiikirira omwaka. (Okubala 14:34; Ezeekyeri 4:6) N’olwekyo, buli wiiki ekiikirira emyaka musanvu. Mu bunnabbi buno, wiiki 69 ziba zikiikirira emyaka 483 (wiiki 69 x ennaku 7).

  • Wiiki 69 zaggwaako ddi? Bwe tubala emyaka 483 okuva mu 455 E.E.T kitutuusa ku mwaka gwa 29 E.E. a Ogwo gwe mwaka gwennyini Yesu lwe yabatizibwa n’afuuka Masiya!​—Lukka 3:1, 2, 21, 22.

Ddayo mu ssomo 15 akatundu 5

 3. Enzijanjaba Ezizingiramu Okukozesa Omusaayi

Waliwo enzijanjaba ezizingiramu okukozesa omusaayi gw’omulwadde gwennyini. Naye obujjanjabi obumu n’enkozesa ezimu ez’omusaayi Abakristaayo tebazikkiriza. Ng’ekyokulabirako, omuntu okugaba omusaayi oba okutereka omusaayi gwe gwennyini nga tebannaba kumulongoosa, oluvannyuma ne gumuzzibwamu.​—Ekyamateeka 15:23.

Naye Omukristaayo asobola okukkiriza omusaayi gwe okukozesebwa mu ngeri ezimu. Muno muzingiramu okugukebera, okukozesa enkola ya hemodialysis, hemodilution, oba cell-salvage. b Buli Mukristaayo alina okwesalirawo engeri omusaayi gwe gye gunaakozesebwamu ng’aloongoosebwa, ng’akeberebwa, oba ng’ajjanjabibwa. Engeri omusawo omu gy’akozesaamu enkola ezo ez’obujjanjabi eyinza okwawukana ku y’abalala. N’olwekyo, ng’Omukristaayo tannakkiriza nkola yonna ey’okulongoosebwa, ey’okukeberebwa, oba ey’okujjanjabibwa, alina okusooka okutegeera engeri omusaayi gwe gye gunaakozesebwamu. Weebuuze ebibuuzo bino:

  • Omuntu wange ow’omunda anannumiriza singa ogumu ku musaayi gwange gufulumizibwa mu mubiri gwange ne gulongoosebwa, oluvannyuma ne guteebwa ne gukomawo mu mubiri gwange?

  • Singa ogumu ku musaayi gwange gufulumizibwa mu mubiri gwange nga guyita mu bupiira oluvannyuma ne gukomawo mu mubiri gwange, omusaayi ogwo omuntu wange ow’omunda anaasigala agutwala ng’ekitundu ky’omubiri gwange, nga tegwetaaga ‘kuyiibwa ku ttaka,’ ne bwe kiba nti gulina we gutuuse ne guyimiriramu katono?​—Ekyamateeka 12:23, 24.

Ddayo mu ssomo 39 akatundu 3

 4. Abafumbo Okwawukana

Ekigambo kya Katonda tekisemba bafumbo kwawukana, era bwe baba baawukanye tebakkirizibwa kuwasa oba kufumbirwa muntu mulala. (1 Abakkolinso 7:10, 11) Kyokka, waliwo embeera eziyinza okuleetera Omukristaayo omufumbo okwawukana ne munne.

  • Okugaana okulabirira ab’omu maka mu bugenderevu: Omwami ayinza okugaana okulabirira ab’omu maka ge, ne batuuka n’okuba nga tebalina bintu byetaagibwa mu bulamu obwa bulijjo.​—1 Timoseewo 5:8.

  • Okutulugunyizibwa: Omufumbo ayinza okuba ng’atulugunyizibwa nnyo munne ne kiba nti obulamu bwe buli mu kabi.​—Abaggalatiya 5:19-21.

  • Okuba ng’embeera ye ey’eby’omwoyo eri mu kabi: Omwami oba omukyala ayinza okuba nga munne amulemesa okuweereza Yakuwa.​—Ebikolwa 5:29.

Ddayo mu ssomo 42 akatundu 3

 5. Emikolo n’Ennaku Enkulu

Abakristaayo tebakuza nnaku ezitasanyusa Yakuwa era tebeetaba mu mikolo egitamusanyusa. Naye buli Mukristaayo alina okukozesa omuntu we ow’omunda okusalawo engeri gy’anaakwatamu embeera ezimu mu biseera ng’abalala bakuza ennaku ezo. Lowooza ku byokulabirako bino.

  • Omuntu akwagalizza olunaku olukulu olulungi. Oyinza okumuddamu nti, “Weebale.” Omuntu bw’aba ayagala okumanya ensonga lwaki tokuza lunaku olwo, oyinza okumunnyonnyola.

  • Munno mu bufumbo atali Mujulirwa wa Yakuwa, akugamba mugende muliireko wamu n’ab’eŋŋanda ze ku lunaku olukulu. Omuntu wo ow’omunda bw’akukkiriza okugenda, oyinza okugamba munno nga bukyali nti bw’eneebaayo akalombolombo konna akakontana n’ebyawandiikibwa, tojja kukeetabamu.

  • Mukama wo ku mulimu akuwa akasiimo mu biseera by’ennaku enkulu. Osaanidde okugaana akasiimo ako? Kisinziira. Mukama wo akasiimo akakuwa lwa lunaku lukulu, oba akakuwa okulaga nti asiima emirimu emirungi gy’okola?

  • Omuntu akuwa ekirabo mu biseera by’ennaku enkulu. Oyo akuwa ekirabo ayinza okukugamba nti: “Nkimanyi nti tokuza nnaku nkulu, naye nkusaba okkirize ekirabo kino.” Oboolyawo omuntu oyo alina bubeezi mwoyo mugabi. Ku luuyi olulala, kyandiba nti omuntu oyo aba ayagala kukugezesa bugezesa oba okululeetera okukuza olunaku olukulu? Oluvannyuma lw’okwebuuza ebibuuzo ng’ebyo, kiri eri ggwe okusalawo obanga onokkiriza ekirabo ekyo. Mu byonna bye tusalawo, twagala okusigala nga tulina omuntu ow’omunda omuyonjo era nga tuli beesigwa eri Yakuwa.​—Ebikolwa 23:1.

Ddayo mu ssomo 44 akatundu 1

 6. Endwadde Ezikwata Amangu

Olw’okuba twagala bantu bannaffe, twegendereza obutabasiiga ndwadde. Ekyo tukikola ka tube nga tulina obulwadde obuyinza okukwata abalala oba nga tusuubira nti tuyinza okuba nabwo. Ate era tukikola olw’okuba Bayibuli etugamba nti: “Oyagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala.”​—Abaruumi 13:8-10.

Tuyinza tutya okugondera ekiragiro ekyo mu bulamu bwaffe obwa bulijjo? Omuntu alina obulwadde obukwata tasaanidde kugwa balala mu kafuba oba okubanywegera. Tasaanidde kuwulira bubi abalala bwe batamusembeza mu maka gaabwe. Ate era ng’enteekateeka z’okubatizibwa zikolebwa, asaanidde okutegeeza omukwanaganya w’akakiiko k’abakadde ku mbeera ye, aleme kuteeka bulamu bw’abo b’aba agenda okubatizibwa nabo mu kabi. Oyo ayinza okuba ng’alina obulwadde obukwata alina okwekebeza omusaayi nga tannatandika kwogerezeganya na muntu mulala. Bw’akola bw’atyo, aba akiraga nti ‘tafaayo ku bibye yekka naye era afaayo ne ku by’abalala.’​—Abafiripi 2:4.

Ddayo mu ssomo 56 akatundu 2

 7. Ebya Bizineesi n’eby’Amateeka

Tusobola okwewala ebizibu bingi singa endagaano zonna ze tukola ezikwata ku bya ssente ziba mu buwandiike, k’ebe eyo gye tuba tukoze ne Mukristaayo munnaffe. (Yeremiya 32:9-12) Wadde kiri kityo, emirundi egimu Abakristaayo bayinza okufuna obutakkaanya ku bikwata ku ssente oba ku nsonga endala. Basaanidde okufuba okugonjoola obutakkaanya obwo mu bwangu, mu mirembe, era nga bali bokka.

Naye tusaanidde kukwata tutya ensonga ez’amaanyi, gamba ng’ey’obukumpanya oba okuwaayiriza? (Soma Matayo 18:15-17.) Yesu yatubuulira emitendera esatu gye tusaanidde okugoberera:

  1. Gezaako okugonjoola ensonga ng’oli n’oyo gw’ofunye naye obutakkaanya.​—Laba olunyiriri 15.

  2. Ekyo bwe kigaana, musabe Omukristaayo omu oba babiri abakulu mu by’omwoyo babeerewo.​—Laba olunyiriri 16.

  3. Ensonga bw’eba eremye okugonjoolwa, olwo lwe musaanidde okugenda eri abakadde.​—Laba olunyiriri 17.

Okutwalira awamu, tetusaanidde kutwala bakkiriza bannaffe mu mbuga z’amateeka kubanga ekyo kiyinza okuvumaganya erinnya lya Yakuwa n’ekibiina kye. (1 Abakkolinso 6:1-8) Kyokka, waliwo ensonga ezimu eziyinza okwetaagisa okugenda mu mbuga z’amateeka, gamba nga zino: okugattululwa, okumanya omuzadde anaasigaza abaana n’engabana y’ebintu ng’abafumbo bagattuluddwa, ebikwata ku yinsuwa, omuntu ng’alemereddwa okusasula ebbanja eddene, oba okukakasa ekiraamo. Omukristaayo akozesa kkooti z’amateeka okugonjoola ensonga ezo mu mirembe, aba tamenye misingi gya Bayibuli.

Bwe wabaawo omusango ogw’amaanyi oguzziddwa, gamba ng’okukaka omuntu omukwano, okukabasanya omwana, okukuba omuntu, obubbi, oba obutemu, Omukristaayo bw’agenda mu mbuga z’amateeka aba tamenye misingi gya Bayibuli.

Ddayo mu ssomo 56 akatundu 3

a Okuva mu 455 E.E.T okutuuka mu 1 E.E.T., waliwo emyaka 454. Okuva 1 E.E.T. okutuuka mu 1 E.E. waliwo omwaka gumu (omwaka zeero teguliiyo). Ate okuva mu 1 E.E. okutuuka mu 29 E.E., waliwo emyaka 28. Ekyo kituwa omugatte gwa myaka 483.

b Okumanya ebisingawo ebikwata ku nkola zino, laba “Ebibuuzo Ebiva mu Basomi” mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Noovemba 1, 2000.