Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ntuuse?

Ntuuse?

Ntuuse Okubuulira Awamu n’Ekibiina?

Oyinza okuba ng’otuuse okufuuka omubuulizi atali mubatize bwe kiba nti . . .

  • Osoma Bayibuli obutayosa, osaba, era obaawo mu nkuŋŋaana z’ekibiina.

  • Oyagala ebyo by’oyiga, obikkiririzaamu, era obibuulirako abalala.

  • Oyagala Yakuwa era abo abamwagala b’ofuula mikwano gyo.

  • Tokyali mu kibiina kyonna eky’eby’obufuzi era tokyalina kakwate konna n’eddiini ez’obulimba.

  • Ogoberera emitindo gya Yakuwa egy’empisa, era oyagala okuba omu ku Bajulirwa be.

Bw’oba owulira ng’otuuse okubuulira awamu n’ekibiina, oyo akuyigiriza Bayibuli asobola okukola enteekateeka n’oyogerako n’abakadde okulaba obanga otuukiriza ebisaanyizo.

Ntuuse Okubatizibwa?

Oyinza okuba ng’otuuse okubatizibwa bwe kiba nti . . .

  • Oli mubuulizi atali mubatize.

  • Obuulira obutayosa okusinziira ku mbeera yo.

  • Owagira “omuddu omwesigwa era ow’amagezi” era okolera ku bulagirizi bwe.​—Matayo 24:45-47.

  • Weewaddeyo eri Yakuwa okuyitira mu kusaba era oyagala okumuweereza emirembe gyonna.

Bw’oba owulira ng’otuuse okubatizibwa, oyo akuyigiriza Bayibuli asobola okukola enteekateeka n’oyogerako n’abakadde okulaba obanga otuukiriza ebisaanyizo.