Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu


Engeri gy’oyinza okuganyulwa mu bujjuvu mu kuyiga Bayibuli ng’okozesa ekitabo kino

Engeri gy’oyinza okuganyulwa mu bujjuvu mu kuyiga Bayibuli ng’okozesa ekitabo kino

Sooka osome ebiri mu kitundu kino, oluvannyuma olabe VIDIYO.

EKITUNDU EKISOOKA

Bw’oba otegeka buli ssomo, sooka osome ennyanjula. Ebibuuzo ebiri mu nnukuta enkwafu (A) n’ebyawandiikibwa (B) biggumiza ensonga enkulu. Weetegereze nti ebyawandiikibwa ebimu biriko ekigambo “soma.”

EKITUNDU EKY’OMU MAKKATI

Ebigambo ebisooka (C) wansi wa Yiga Ebisingawo biraga ebiba bigenda okwogerwako. Emitwe emitono (D) giraga ensonga enkulu. Ng’oli wamu n’oyo akuyigiriza, soma ebyawandiikibwa, ddamu ebibuuzo, era olabe ne vidiyo.

Bw’onyiga mu kigambo VIDIYO, ekiri okumpi n’akatundu ke muba muliko, osobola okulaba vidiyo ekwatagana n’akatundu ako. Vidiyo ezimu ziraga ebyo ebyaliwo ddala. Endala zaazannyibwa buzannyibwa naye nga ziraga embeera zennyini ezisobola okubaawo.

Weetegereze ebifaananyi n’ebigambo ebibyogerako (E), era olowooze ku ngeri gy’oyinza okuddamu ekibuuzo ekiri wansi w’omutwe, Abamu Bagamba Nti (F).

EKITUNDU EKISEMBAYO

Ebiri wansi wa, Mu Bufunze ne Okwejjukanya (G) biwumbawumbako ebibadde mu ssomo. Jjuzaamu ennaku z’omwezi lwe muba mumalirizza essomo. Eky’okukolako (H) ­kikuwa ekintu eky’okukolako. Wansi wa, Laba Ebisingawo (I) olagibwa ebintu ebirala by’osobola okusoma oba okulaba.

Engeri gy’oyinza okuzuula ebyawandiikibwa mu Bayibuli

Bayibuli erimu ebitabo 66. Ebitabo ebyo byagabanyizibwamu ebitundu bibiri: Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya (“Endagaano Enkadde”) n’Ebyawandiikibwa eby’Oluyonaani (“Endagaano Empya”).

Ekyawandiikibwa bwe kijulizibwa mu kitabo kino, erinnya ly’Ekitabo kya Bayibuli lye lisooka (A), essuula n’eddako (B), oluvannyuma ne kuddako olunyiriri oba ennyiriri (C).

Ng’ekyokulabirako, Yokaana 17:3 kitegeeza ekitabo kya Yokaana, essuula 17, olunyiriri 3.