Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Emikolo n’Ennaku Ezikuzibwa

Emikolo n’Ennaku Ezikuzibwa

Emikolo Abakristaayo gye beenyigiramu

Mukolo ki gwokka Abakristaayo gwe baalagirwa okukwata?

Abantu ba Katonda banyumirwa okukuŋŋaana awamu okusinza

Ma 31:12; Beb 10:​24, 25

Emikolo Abakristaayo gye bateenyigiramu

Lwaki kikyamu okwenyigira mu mikolo egirina akakwate n’okusinza okw’obulimba?

1Ko 10:21; 2Ko 6:​14-18; Bef 5:​10, 11

Laba ne “Okugattika Enzikiriza

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • Kuv 32:​1-10​—Abayisirayiri banyiiza nnyo Yakuwa bwe bagezaako okugattika okusinza okw’amazima n’okw’obulimba

    • Kbl 25:​1-9​—Yakuwa abonereza abantu be olw’okwenyigira mu mikolo egy’ekikaafiiri n’ebikolwa eby’obugwenyufu

Abakristaayo basaanidde okukuza Ssekukkulu?

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • Luk 2:​1-5​—Yesu azaalibwa mu kiseera eky’okubala abantu; Abaruumi bandibadde tebasobola kulagira Bayudaaya abatayagala bufuzi bwabwe okutindigga eŋŋendo okugenda okwewandiisa mu kiseera eky’obutiti

    • Luk 2:​8, 12​—Ekiseera Yesu w’azaalirwa abasumba baba bali ku ttale n’ebisibo byabwe, ekintu kye batasobola kukola mu kiseera ky’obutiti mu mwezi gwa Ddesemba

Abakristaayo bandikuzizza amazaalibwa?

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • Lub 40:​20-22​—Falaawo omukaafiiri akuza amazaalibwa ge, era wabaawo omuntu attibwa ku mazaalibwa ago

    • Mat 14:​6-11​—Kabaka Kerode, ayigganya ennyo abagoberezi ba Kristo, akuza amazaalibwa ge era ku mazaalibwa ago Yokaana Omubatiza attibwa

Emikolo egyalagirwa mu Mateeka ga Musa

Abakristaayo bateekeddwa okukola ebintu ebyalagirwa mu Mateeka ga Musa, nga mw’otwalidde n’emikolo egitali gimu?

Abakristaayo kibeetaagisa okukwata Ssabbiiti?

Emikolo gy’eggwanga

Abakristaayo bandyenyigidde mu mikolo gy’eggwanga?

Abakristaayo bandyenyigidde mu mikolo egy’okujjukira entalo amawanga gaabwe ze gaalwana?

Abakristaayo bandyenyigidde mu mikolo egikolebwa okugulumiza abantu abatutumufu?

Kuv 20:5; Bar 1:25

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • Bik 12:​21-23​—Kabaka Kerode Agulipa I bw’akkiriza okuweebwa ekitiibwa ekirina okuweebwa Katonda, Katonda amubonereza

    • Bik 14:​11-15​—Abatume, Balunabba ne Pawulo, bagaana okusinzibwa

    • Kub 22:​8, 9​—Malayika wa Yakuwa agaana okusinzibwa