Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abakristaayo

Abakristaayo

Abagoberezi ba Yesu baatuuka batya okuyitibwa Abakristaayo?

Abakristaayo ab’amazima obategeerera ku ki?

Kiki ekisinziirwako Abakristaayo okulokolebwa?

Lwaki Abakristaayo bagondera Kristo nga Kabaka waabwe ow’omu ggulu?

Lwaki Abakristaayo ab’amazima si ba nsi?

Lwaki Abakristaayo ab’amazima bagondera gavumenti?

Bar 13:​1, 6, 7; Tit 3:1; 1Pe 2:​13, 14

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • Mat 22:​15-22​—Yesu alaga ensonga lwaki abagoberezi be basasula emisolo

    • Bik 4:​19, 20; 5:​27-29​—Abagoberezi ba Yesu bagondera gavumenti kasita kiba nti ebyo bye zibalagira okukola tebikontana na mateeka ga Katonda

Abakristaayo bafaananako batya abasirikale?

Lwaki Abakristaayo balina okukolera ku ebyo bye bakkiriza?

Mat 5:16; Tit 2:​6-8; 1Pe 2:12

Laba ne Bef 4:​17, 19-24; Yak 3:13

  • Ekyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • Bik 9:​1, 2; 19:​9, 23​—Okusinza kw’Abakristaayo kuyitibwa “Ekkubo,” olw’okuba Abakristaayo bafuba okugoberera ekyokulabirako kya Kristo

Lwaki Abakristaayo ab’amazima balina okuba abajulirwa ba Yakuwa Katonda?

Lwaki Abakristaayo ab’amazima era baba bajulirwa ba Yesu Kristo?

Lwaki Abakristaayo ab’amazima bonna balina okubuulira amawulire amalungi?

Abakristaayo basaanidde kutwala batya okuyigganyizibwa?

Laba “Okuyigganyizibwa

Abakristaayo ab’amazima bonna ba kugenda mu ggulu okubeera awamu ne Yesu Kristo?

Abakristaayo ab’amazima abasinga obungi basuubira kubeera wa mu biseera eby’omu maaso?

Abakristaayo ab’amazima basangibwa mu buli ddiini eyeeyita ey’Ekikristaayo?

Abo bonna abeeyita Abakristaayo, ddala baba bayigirizwa ba Yesu?

Mat 7:​21-23; Bar 16:​17, 18; 2Ko 11:​13-15; 2Pe 2:1

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • Mat 13:​24-30, 36-43​—Yesu agera olugero olulaga nti wandibaddewo Abakristaayo bangi ab’obulimba

    • 2Ko 11:​24-26​—Omutume Pawulo alaga nti mu bizibu by’ayolekagana nabyo mwe muli ‘n’ab’oluganda ab’obulimba’

    • 1Yo 2:​18, 19​—Omutume Yokaana alaga nti “abalabe ba Kristo bangi” baali baatandika dda okuva mu kkubo ery’amazima