Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Okusalawo

Okusalawo

Tuyinza tutya okuteekateeka ebirowoozo byaffe n’emitima gyaffe okusalawo obulungi?

Lwaki tetusaanidde kwanguyiriza kusalawo naddala ku bintu ebikulu?

Lwaki tusaanidde okwewala okwesiga emitima gyaffe egitatuukiridde nga tulina bye tusalawo?

Nge 28:26; Yer 17:9

Laba ne Kbl 15:39; Nge 14:12; Mub 11:​9, 10

  • Ekyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • 2By 35:​20-24​—Kabaka Yosiya omulungi takkiriza bye bamugambye ebiva eri Yakuwa n’agenda okulwanyisa Falaawo Neeko

Lwaki tusaanidde okusaba Yakuwa nga tulina ebintu ebikulu bye tugenda okusalawo?

Baf 4:​6, 7; Yak 1:​5, 6

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • Luk 6:​12-16​—Ng’agenda okulonda abatume be 12, Yesu amala ekiro kiramba ng’asaba

    • 2Sk 19:​10-20, 35​—Kabaka Keezeekiya bw’alumbibwa omulabe ow’amaanyi ennyo asaba Yakuwa okumuyamba, era Yakuwa amuyamba

Ani ayinza okutuwa obulagirizi obusingayo obulungi nga tuliko bye twagala okusalawo, era atuyamba atya?

Zb 119:105; Nge 3:​5, 6; 2Ti 3:​16, 17

Laba ne Zb 19:7; Nge 6:23; Is 51:4

  • Ekyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • Bik 15:​13-18​—Akakiiko akafuzi mu Yerusaalemi bwe kabaako ekintu ekikulu kye kalina okusalawo, kanoonyereza obulagirizi bwa Yakuwa mu Byawandiikibwa

Nga tusalawo ebikwata ku:

Nsonga yonna mu bulamu

Mirimu

Laba “Okukola Emirimu

By’okwesanyusaamu

Bufumbo

Laba “Obufumbo

By’obujjanjabi

Lev 19:26; Ma 12:​16, 23; Luk 5:31; Bik 15:​28, 29

  • Ekyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • Bik 19:​18-20​—Abakristaayo ab’omu Efeso beggyako ebintu byonna ebirina akakwate n’eby’obusamize

Biruubirirwa eby’eby’omwoyo

Kukozesa obulungi ebiseera

Abaweereza ba Yakuwa abakulu mu by’omwoyo bayinza batya okutuyamba okusalawo obulungi?

Yob 12:12; Nge 11:14; Beb 5:14

  • Ekyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • 1Sk 1:​11-31, 51-53​—Basuseba awuliriza amagezi agamuweebwa nnabbi Nasani, bw’atyo n’asobola okutaasa obulamu bwe n’obwa mutabani we Sulemaani

Lwaki tetusaanidde kusaba balala kutusalirawo?

Lwaki tusaanidde okukolera ku bulagirizi obuva eri Katonda?

Zb 18:​20-25; 141:5; Nge 8:33

Laba ne Luk 7:30

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • Lub 19:​12-14, 24, 25​—Lutti alabula abasajja abaagala okuwasa bawala be ku kabi akagenda okujja, naye ne batamuwuliriza

    • 2Sk 17:​5-17​—Abayisirayiri batwalibwa mu buwaŋŋanguse olw’okugaana okukolera ku kulabula Yakuwa kw’azze abawa

Lwaki tusaanidde okuwuliriza omuntu waffe ow’omunda nga tuliko bye tusalawo?

Tuganyulwa tutya bwe tulowooza ku ebyo ebiyinza okuva mu ekyo kye twagala okusalawo?

Engeri gye bikwata ku balala

Engeri gye bikwata ku biseera byaffe eby’omu maaso

Engeri gye bikwata ku nkolagana yaffe ne Yakuwa

Lwaki ffe tuba tuvunaanyizibwa ku ebyo bye tuba tusazeewo?