Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ebintu Obutagenda nga Bwe Twagala

Ebintu Obutagenda nga Bwe Twagala

Tuwulira bubi abalala bwe beeyisa mu ngeri gye tubadde tutasuubira, bwe batulumya, oba bwe batulyamu olukwe

Zb 55:​12-14; Luk 22:​21, 48

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • 1Sa 8:​1-6​—Nnabbi Samwiri awulira bubi Abayisirayiri bwe bakalambira nti baagala kabaka

    • 1Sa 20:​30-34​—Yonasaani awulira bubi nnyo, kitaawe Kabaka Sawulo, bw’amusunguwalira

  • Ebyawandiikibwa ebizzaamu amaanyi:

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli ebisobola okukuzzaamu amaanyi:

    • Zb 55:​12-14, 16-18, 22​—Kabaka Dawudi bw’aliibwamu olukwe mukwano gwe ow’oku lusegere ayitibwa Akisoferi, yeeyabiza Yakuwa era abudaabudibwa

    • 2Ti 4:​16-18​—Omutume Pawulo bw’atwalibwa okuwozesebwa, banne bonna bamwabulira naye afuna amaanyi okuva eri Yakuwa n’olw’essuubi ly’amuwa

Okuwulira obubi olw’obunafu bwaffe n’olw’ebibi bye tuba tukoze

Yob 14:4; Bar 3:23; 5:12

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • Zb 51:​1-5​—Kabaka Dawudi alumwa nnyo olw’ebibi bye yakola

    • Bar 7:​19-24​—Omutume Pawulo awulira bubi olw’okuba buli kiseera alina okulwanyisa obunafu bwe

  • Ebyawandiikibwa ebizzaamu amaanyi:

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli ebisobola okukuzzaamu amaanyi:

    • 1Sk 9:​2-5​—Wadde nga Kabaka Dawudi alina ebibi eby’amaanyi bye yakola, Yakuwa amutwala ng’omusajja omwesigwa

    • 1Ti 1:​12-16​—Wadde ng’omutume Pawulo yakola ebibi eby’amaanyi, mukakafu nti ajja kusaasirwa