Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Okunywa Omwenge

Okunywa Omwenge

Bayibuli egaana okunywa omwenge ogw’ekigero?

Zb 104:​14, 15; Mub 9:7; 10:19; 1Ti 5:23

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • Yok 2:​1-11​—Ekyamagero Yesu ky’asooka okukola, kwe kufuula amazzi omwenge omulungi era ekyo kiwonya abagole okuswala ku mbaga yaabwe

Kabi ki akali mu kunywa omwenge omungi n’okutamiira?

Abaweereza ba Katonda batwala batya obutamiivu?

1Ko 5:11; 6:​9, 10; Bef 5:18; 1Ti 3:​2, 3

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • Lub 9:​20-25​—Olw’okuba Nuuwa anywa omwenge n’atamiira, kiviirako muzzukulu we okukola ekibi eky’amaanyi

    • 1Sa 25:​2, 3, 36​—Nabbali, omusajja omukambwe era omusirusiru, akola ebintu ebibi ennyo nga mwe muli n’okunywa omwenge n’atamiira

    • Dan 5:​1-6, 22, 23, 30, 31​—Kabaka Berusazza anywa omwenge mungi nnyo era avvoola Yakuwa Katonda; ekiro ekyo kye nnyini attibwa

Lwaki tusaanidde okwegendereza obungi bw’omwenge gwe tunywa, ne bwe kiba nti bwe tugunywa tetutamiira?

Tuyinza tutya okuyamba Mukristaayo munnaffe alina omuze ogw’okunywa ennyo omwenge?