Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Okukkiriza

Okukkiriza

Tumanya tutya nti okukkiriza Yakuwa akutwala nga kwa muwendo nnyo?

Yok 3:​16, 18; Bag 3:​8, 9, 11; Bef 6:16; Beb 11:6

Laba ne 2Ko 5:7

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • Beb 11:1–12:3​—Omutume Pawulo annyonnyola amakulu g’okukkiriza, era ayogera ku bantu bangi abaayoleka okukkiriza ng’atandikira ku Abbeeri n’akomekkereza ne Yesu

    • Yak 2:​18-24​—Yakobo akozesa eky’okulabirako kya Ibulayimu okukiraga nti okukkiriza kulina okubaako ebikolwa

Kiki ekinaatuyamba okunyweza okukkiriza kwaffe?

Bar 10:​9, 10, 17; 1Ko 16:13; Yak 2:17

Laba ne Beb 3:​12-14

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • 2By 20:​1-6, 12, 13, 20-23​—Abantu ba Katonda bwe boolekagana n’akabi ak’amaanyi, Kabaka Yekosafaati abagamba nti okusobola okuwona akabi ako balina okwesiga Yakuwa ne bannabbi be

    • 1Sk 18:​41-46​—Nnabbi Eriya ayoleka okukkiriza ng’alindirira Yakuwa n’obugumiikiriza okukomya ekyeya ekimaze ekiseera ekiwanvu