Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Amaka

Amaka

Yakuwa ye yatandikawo amaka

Abazadde

Laba “Abazadde

Bataata

Laba “Bataata

Bamaama

Laba “Bamaama

Abaami, Abakyala

Laba “Obufumbo

Abaana ab’Obuwala n’ab’Obulenzi

Kiki Yakuwa ky’asuubira abaana okukola?

Lwaki abaana basaanidde okugondera bazadde baabwe?

Bef 6:​1-3; Bak 3:20

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • Zb 78:​1-8​—Abayisirayiri babuulira abaana ebikolwa bya bajjajjaabwe, abaana basobole okwesiga Yakuwa n’obutaba bajeemu

    • Luk 2:​51, 52​—Wadde nga Yesu atuukiridde, agondera bazadde be abatatuukiridde

Lwaki ebiseera ebimu abaana bazibuwalirwa okussa ekitiibwa mu bazadde baabwe?

Yakuwa atwala atya abaana abajeemu?

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • Ma 21:​18-21​—Okusinziira ku Mateeka ga Musa, omwana bw’akula n’afuuka mujeemu, nga tassa kitiibwa mu bazadde be era nga mutamiivu, aba alina okuttibwa

    • 2Sk 2:​23, 24​—Abaana bwe bavuma nnabbi Erisa, ne bakiraga nti tebassizza kitiibwa mu muweereza wa Katonda oyo, bangi ku bo battibwa amalubu abiri

Abazadde basaanidde kutwala batya enkizo ey’okukuza abaana?

Zb 127:3; 128:3

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • Lev 26:9​—Eri Abayisirayiri, omuntu okuzaala abaana kabonero akalaga nti Yakuwa amuwa emikisa

    • Yob 42:​12, 13​—Yakuwa awa Yobu emikisa olw’obwesigwa bwe ng’amusobozesa ye ne mukyala we okuzaala abaana abalala kkumi

Yakuwa ayagala abaana bayise batya baana bannaabwe?

Zb 34:14; Nge 15:23; 19:11

  • Ekyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • Lub 27:41; 33:​1-11​—Yakobo awa mukulu we Esawu ekitiibwa; ekyo kireetawo emirembe era Esawu akwatibwako naye n’amulaga okwagala

Abaana abakulu balina buvunaanyizibwa ki eri bazadde baabwe n’eri bajjajjaabwe?

Nge 23:22; 1Ti 5:4

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • Lub 11:​31, 32​—Ibulayimu bw’asenguka mu Uli, agenda ne Teera kitaawe era amulabirira okutuusa lw’afa

    • Mat 15:​3-6​—Yesu ajuliza Amateeka ga Musa okulaga nti abaana abakulu balina okuyamba bazadde baabwe abali mu bwetaavu

Ab’eŋŋanda z’Omwami oba Omukyala

Bajjajja

Laba “Bajjajja