Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Okusonyiwa

Okusonyiwa

Yakuwa mwetegefu okusonyiwa?

Zb 86:5; Dan 9:9; Mi 7:18

Laba ne 2Pe 3:9

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • Zb 78:​40, 41; 106:​36-46​—Yakuwa asonyiwa abantu be enfunda n’enfunda, wadde ng’ebintu ebibi bye bakola bimuleetera obulumi

    • Luk 15:​11-32​—Yesu akiraga nti Yakuwa mwetegefu okusonyiwa ng’agera olugero olukwata ku taata omusaasizi eyasonyiwa mutabani we eyakola ebintu ebibi naye oluvannyuma ne yeenenya

Yakuwa asinziira ku ki okusonyiwa omuntu ebibi?

Yok 1:29; Bef 1:7; 1Yo 2:​1, 2

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • Beb 9:​22-28​—Omutume Pawulo akiraga nti Yakuwa asinziira ku ssaddaaka ya Yesu okusonyiwa abantu ebibi

    • Kub 7:​9, 10, 14, 15​—Mu kwolesebwa, omutume Yokaana alaba ‘ab’ekibiina ekinene’ abalina enkolagana ennungi ne Katonda olw’okuba bakkiririza mu ssaddaaka ya Yesu

Bwe tuba twagala Yakuwa atusonyiwe, kiki kye tusaanidde okukola ng’abalala bakoze ebintu ebitulumya?

Mat 6:​14, 15; Mak 11:25; Luk 17:​3, 4; Yak 2:13

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • Yob 42:​7-10​—Nga Yakuwa tannaggyawo bizibu Yobu by’alina n’okuddamu okumuwa eby’obugagga, amugamba asooke kusabira banne abasatu abamwogeddeko obubi

    • Mat 18:​21-35​—Yesu akyoleka bulungi nti kikulu nnyo okusonyiwa abalala bwe tuba nga naffe twagala okusonyiyibwa

Okwatula ebibi n’okwenenya bikulu kwenkana wa?

Bik 3:19; 26:20; 1Yo 1:​8-10

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

Nkyukakyuka ki ze tusaanidde okukola bwe tuba nga twagala Yakuwa okutusonyiwa?

Nge 28:13; Is 55:7; Bef 4:28

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • 1Sk 21:​27-29; 2By 18:​18-22, 33, 34; 19:​1, 2​—Kabaka Akabu yeetoowaza bw’akitegeera nti Yakuwa agenda kumubonereza; naye teyeenenya mu bwesimbu, n’olw’ekyo Yakuwa tamusonyiwa

    • 2By 33:​1-16​—Kabaka Manase akola ebintu ebibi ennyo; naye bwe yeenenya, Yakuwa amusonyiwa. Manase akiraga nti akyukidde ddala ng’asaanyaawo okusinza ebifaananyi era ng’akubiriza abantu okusinza Yakuwa

Abonoonyi abeenenya Yakuwa abasonyiwa kwenkana wa?

Zb 103:​10-14; Is 1:18; 38:17; Yer 31:34; Mi 7:19

  • Ekyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • 2Sa 12:13; 24:1; 1Sk 9:​4, 5​—Wadde nga Kabaka Dawudi yakola ebibi eby’amaanyi, Yakuwa amusonyiwa era oluvannyuma amwogerako ng’omusajja omwesigwa

Yesu yakoppa atya Kitaawe bwe kituuka ku kusonyiwa abalala?

Zb 86:5; Luk 23:​33, 34

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • Mat 26:​36, 40, 41​—Mikwano gya Yesu ab’oku lusegere beebaka mu kiseera w’asingira okubeetaagira ennyo; Yesu akiraba nti wadde nga bandyagadde okumuzzaamu amaanyi, bakoowu nnyo

    • Mat 26:​69-75; Luk 24:​33, 34; Bik 2:​37-41​—Peetero yeegaana Yesu emirundi esatu, naye bwe yeenenya Yesu amusonyiwa; oluvannyuma Yesu bw’azuukira amulabikira era n’amuwa obuvunaanyizibwa obw’enjawulo mu kibiina

Tumanyira ku ki nti okusonyiwa kwa Yakuwa kuliko ekkomo?

Mat 12:31; Beb 10:​26, 27; 1Yo 5:​16, 17

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • Mat 23:​29-33​—Yesu agamba abawandiisi n’Abafalisaayo nti boolekedde okusalirwa omusango gwa Ggeyeena, oba okuzikirizibwa

    • Yok 17:12; Mak 14:21​—Yesu ayita Yuda Isukalyoti “omwana w’okuzikirira” era agamba nti kyandisinzeeko singa kalinkwe oyo teyazaalibwa

Kiki ekiyinza okuyamba Abakristaayo okuba abeetegefu okusonyiwa?