Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Obwetoowaze

Obwetoowaze

Yakuwa atwala atya abantu abeetoowaze n’ab’amalala?

Zb 138:6; Nge 15:25; 16:​18, 19; 22:4; 1Pe 5:5

Laba ne Nge 29:23; Is 2:​11, 12

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • 2By 26:​3-5, 16-21​—Kabaka Uzziya afuna amalala; amenya etteeka lya Katonda era anyiiga nga bamuwabudde; Yakuwa amukuba ebigenge

    • Luk 18:​9-14​—Yesu akozesa ekyokulabirako okulaga engeri Yakuwa gy’atwalamu essaala z’abantu ab’amalala n’ez’abeetoowaze

Yakuwa atwala atya omuntu eyeetoowaza ne yeenenya mu bwesimbu?

2By 7:​13, 14; Zb 51:​2-4, 17

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • 2By 12:​5-7​—Kabaka Lekobowaamu n’abaami ba Yuda beetoowaza mu maaso ga Yakuwa, era Yakuwa tabazikiriza

    • 2By 32:​24-26​—Kabaka Keezeekiya afuna amalala, naye bwe yeetoowaza Yakuwa amusonyiwa

Okuba abeetoowaze kituyamba kitya okukolagana obulungi n’abalala?

Bef 4:​1, 2; Baf 2:3; Bak 3:​12, 13

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • Lub 33:​3, 4​—Yakobo yeetoowaza bw’asisinkana muganda we Esawu, era ekyo kizzaawo emirembe wakati waabwe

    • Bal 8:​1-3​—Omulamuzi Gidiyoni yeetoowaza n’agamba abasajja b’omu Efulayimu nti bamusinga, ekyo kibakkakkanya era tebamulwanyisa

Yesu Kristo yakiraga atya nti kikulu nnyo okuba abeetoowaze?

Mat 18:​1-5; 23:​11, 12; Mak 10:​41-45

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • Is 53:7; Baf 2:​7, 8​—Nga bwe kyalagulwa, Yesu yayoleka obwetoowaze n’ajja ku nsi era n’attibwa mu ngeri ey’obuswavu era ey’obulumi

    • Luk 14:​7-11​—Yesu agera olugero olukwata ku kutuula mu bifo eby’oku mwanjo ku mbaga okulaga nti kikulu okuba abeetoowaze

    • Yok 13:​3-17​—Yesu ateerawo abagoberezi be ekyokulabirako eky’obwetoowaze ng’anaaza abatume be ebigere

Okwetunuulira mu ngeri entuufu n’okutunuulira abalala mu ngeri entuufu kituyamba kitya okuba abeetoowaze?

Lwaki si kirungi okwefuula abeetoowaze?