Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Okuba Omukulu mu by’Omwoyo

Okuba Omukulu mu by’Omwoyo

Lwaki buli Mukristaayo asaanidde okufuba okukula mu by’omwoyo?

Okumanya Ebyawandiikibwa kituyamba kitya okukula mu by’omwoyo?

Abantu abakulu mu myaka be bokka ababa abakulu mu by’omwoyo?

Yob 32:9; 1Ti 4:12

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • Dan 1:​6-20​—Wadde nga Danyeri ne banne bakyali bato mu myaka, bakiraga nti bakulu mu by’omwoyo era beesigwa eri Yakuwa

    • Bik 16:​1-5​—Wadde nga kirabika Timoseewo yaakaweza emyaka 20 oba nga tannagiweza, aweebwa obuvunaanyizibwa obw’amaanyi

Okuba n’emikwano emirungi mu kibiina kiyinza kutukwatako kitya?

Kiki ekiraga nti tuli Bakristaayo abakulu mu by’omwoyo?

Lwaki omusajja Omukristaayo omukulu mu by’omwoyo asaanidde okuba omwetegefu okukkiriza obuvunaanyizibwa mu kibiina?

Kiki ekiyinza okutuyamba okuba ababuulizi era abasomesa abalungi?

Luk 21:​14, 15; 1Ko 2:​6, 10-13

Laba ne Luk 11:13

  • Ekyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • Mat 10:​19, 20​—Yesu akakasa abagoberezi be nti omwoyo omutukuvu gujja kubayamba okumanya eky’okwogera nga bawozesebwa