Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Obusaasizi

Obusaasizi

Ngeri ki endala ezizingirwa mu busaasizi?

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • Zb 51:​1, 2​—Kabaka Dawudi bw’asaba Yakuwa amusaasire, aba amusaba amusonyiwe ebibi bye yakola

    • Luk 10:​29-37​—Yesu atuyigiriza engeri gye tuyinza okulagamu abalala obusaasizi ng’akozesa ekyokulabirako ky’Omusamaliya eyalaga Omuyudaaya ekisa

Lwaki abantu bonna beetaaga okusaasirwa?

Tukimanya tutya nti Yakuwa musaasizi?

Kuv 34:6; Nek 9:17; Zb 103:8; 2Ko 1:3

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • Yob 42:​1, 2, 6-10; Yak 5:11​—Yakuwa asaasira Yobu era n’amuyigiriza okuba omusaasizi

    • Luk 15:​11-32​—Yesu agera olugero lwa taata eyasaasira omwana we eyali omujeemu okutuyamba okukimanya nti Yakuwa musaasizi nnyo

Lwaki Yakuwa atusaasira?

Ssaddaaka ya Kristo etusobozesa etya okusonyiyibwa ebibi?

Lwaki tusaanidde okusaba Yakuwa okutusaasira era n’okusiima ennyo obusaasizi obwo?

Luk 11:​2-4; Beb 4:16

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • Zb 51:​1-4​—Kabaka Dawudi awulira bubi nnyo olw’ekibi kye yakola era yeegayirira Yakuwa amusaasire

    • Luk 18:​9-14​—Yesu akozesa ekyokulabirako okulaga nti Yakuwa asaasira abantu abeetoowaze abakkiriza ensobi zaabwe

Lwaki n’abo ababa bakoze ekibi eky’amaanyi basaanidde okuba abakakafu nti Yakuwa asobola okubasaasira?

Ma 4:​29-31; Is 55:7

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • 2By 33:​9-13, 15​—Wadde nga Manase kabaka mubi nnyo, yeenenya era ne yeegayirira Yakuwa okumusaasira; addizibwa obwakabaka bwe era ebyo by’akola biraga nti ddala yeenenya

    • Yon 3:​4-10​—Wadde ng’abantu b’omu Nineeve beenyigira mu bikolwa eby’obukambwe era ne batta abantu bangi, beenenya era Katonda n’abasaasira

Yakuwa okusobola okutusaasira, lwaki kikulu okumwatulira ebibi byaffe era ne tukyusa amakubo gaffe?

Yakuwa ne bw’aba ng’atusonyiye, tuyinza okubonerezebwa oba okwolekagana n’ebyo ebiva mu bibi bye tuba tukoze

Lwaki tusaanidde okusaasira abalala?

Bwe tutasaasira balala kiyinza kukola ki ku nkolagana yaffe ne Yakuwa?

Mat 9:13; 23:23; Yak 2:13

Laba ne Nge 21:13

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • Mat 18:​23-35​—Yesu agera olugero olulaga nti omuntu atasaasira balala naye Yakuwa tajja kumusaasira

    • Luk 10:​29-37​—Olugero olumanyiddwa obulungi lulaga nti Yakuwa ne Yesu tebasiima abo abatasaasira balala, naye nti basanyukira nnyo abasaasira abalala ng’Omusamaliya bwe yakola

Yakuwa atwala atya abantu abasaasira abalala?