Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Okuyisibwa Obubi

Okuyisibwa Obubi

Tuyinza kuwulira tutya ng’abalala batuyisizza bubi?

Zb 69:20; Nge 18:14; Mub 4:​1-3; Mal 2:​13-16; Bak 3:21

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • 2Sa 10:​1-5​—Abamu ku basirikale ab’omu ggye lya Kabaka Dawudi bayisiddwa bubi nnyo wadde nga tebatuusiddwako bisago, era Dawudi abafaako mu ngeri ey’enjawulo

    • 2Sa 13:​6-19​—Tamali akaaba nnyo era ayuza ebyambalo bye oluvannyuma lwa Amunoni okumukwata ate era n’amuweebuula

Omuntu bw’ayisibwa obubi, kiki ekiraga nti Yakuwa amanya era nti ajja kubaako ky’akolawo?

Yob 34:​21, 22; Zb 37:​8, 9; Is 29:​15, 19-21; Bar 12:​17-21

Laba ne Zb 63:​6, 7

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • 1Sa 25:​3, 14-17, 21, 32-38​—Nabbali assa obulamu bwe n’obw’ab’omu maka ge mu kabi bw’ayogera obubi ku Dawudi; Yakuwa amubonereza n’afa

    • Yer 20:​1-6, 9, 11-13​—Yeremiya aggwaamu amaanyi kabona ayitibwa Pasukuli bw’amukuba era n’amuteeka mu nvuba; Yakuwa amuzzaamu amaanyi era n’amununula