Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Bamaama

Bamaama

Maama alina buvunaanyizibwa ki?

Nge 31:​17, 21, 26, 27; Tit 2:4

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • Lub 21:​8-12​—Saala bw’alaba Isimayiri ng’ayigganya Isaaka mutabani we, agamba Ibulayimu agobe Agali ne Isimayiri, Isaaka aleme okutusibwako akabi

    • 1Sk 1:​11-21​—Adoniya bw’akola olukwe okwezza obwakabaka, Basuseba asaba Kabaka Dawudi okufuula Sulemaani Kabaka n’okumukuuma

Lwaki tusaanidde okugondera bamaama baffe n’okubassaamu ekitiibwa?

Kuv 20:12; Ma 5:16; 27:16; Nge 1:8; 6:​20-22; 23:22

Laba ne 1Ti 5:​9, 10

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • 1Pe 3:​5, 6​—Omutume Peetero agamba nti Saala yafuuka nga maama eri abakyala bangi olw’okukkiriza kwe okw’amaanyi

    • Nge 31:​1, 15, 21, 28​—Maama wa Kabaka Lemweri awa mutabani we amagezi amalungi agakwata ku bufumbo ne ku kifo ekikulu omukyala era maama ky’alina

    • 2Ti 1:5; 3:15​—Omutume Pawulo aluŋŋamizibwa okusiima Ewuniike, maama wa Timoseewo, olw’okuyigiriza mutabani we Ebyawandiikibwa okuviira ddala mu buwere, wadde ng’omwami we si Mukristaayo