Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Obuwulize

Obuwulize

Obuwulize bukulu kwenkana wa?

Kuv 19:5; Ma 10:​12, 13; Mub 12:13; Yak 1:22

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • 1Sa 15:​17-23​—Nnabbi Samwiri anenya Kabaka Sawulo olw’okujeemera Yakuwa; Samwiri alaga nti kikulu nnyo okuba abawulize

    • Beb 5:​7-10​—Wadde nga Yesu yali atuukiride, bwe yali ku nsi yayiga obuwulize olw’ebintu bye yayitamu ng’abonaabona

Omukristaayo asaanidde kukola ki singa ab’obuyinza bamugamba okukola ekintu ekikontana n’amateeka ga Katonda?

Bik 5:29

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • Dan 3:​13-18​—Abebbulaniya abasatu bagaana okuvunnamira ekifaananyi Kabaka Nebukadduneeza ky’ataddewo, wadde ng’ekyo kiyinza okubaviirako okuttibwa

    • Mat 22:​15-22​—Yesu agamba nti abagoberezi be balina okugondera ab’obuyinza okuggyako ng’ab’obuyinza babagambye okukola ekintu ekimenya amateeka ga Katonda

    • Bik 4:​18-31​—Abatume beeyongera okubuulira wadde ng’ab’obuyinza babalagidde okulekera awo okubuulira

Kiki kye tulina okukola okusobola okusigala nga tuli bawulize eri Yakuwa?

Ma 6:​1-5; Zb 112:1; 1Yo 5:​2, 3

Laba ne Zb 119:​11, 112; Bar 6:17

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • Ezr 7:​7-10​—Ezera kabona omwesigwa ateekateeka omutima gwe asobole okussaawo ekyokulabirako ekirungi mu kugondera Amateeka ga Katonda n’okugayigiriza abalala

    • Yok 14:31​—Yesu alaga ensonga lwaki akola ebyo Kitaawe bye yamulagira

Kiki ekyandituleetedde okugondera Yakuwa ne Yesu?

Bwe tuba abawulize kiraga kitya nti tulina okukkiriza?

Bar 1:5; 10:​16, 17; Yak 2:​20-23

Laba ne Ma 9:23

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • Lub 6:​9-22; Beb 11:7​—Nuuwa ayoleka okukkiriza ng’azimba eryato nga Yakuwa bw’amulagidde; ‘akolera ddala bw’atyo’

    • Beb 11:​8, 9, 17​—Ibulayimu ayoleka okukkiriza ng’ava mu Uli nga Yakuwa bw’amulagidde, era ng’akkiriza okuwaayo omwana we nga ssaddaaka

Kiki Yakuwa ky’asuubiza abo abamugondera?

Yer 7:23; Mat 7:21; 1Yo 3:22

Biki ebivaamu bwe tutaba bawulize?

Bar 5:19; 2Se 1:​8, 9

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • Lub 2:​16, 17; 3:​17-19​—Olw’okuba Adamu ne Kaawa bajeemedde Yakuwa Katonda, bagobebwa mu Lusuku Edeni, bafuuka abatatuukiridde, era bafiirwa obulamu obutaggwaawo

    • Ma 18:​18, 19; Bik 3:​12, 18, 22, 23​—Yakuwa agamba nti wajja kujjawo Nnabbi asinga Musa era nti abo abanaamujeemera bajja kubonerezebwa

    • Yud 6, 7​—Bamalayika abajeemu n’abantu b’omu Sodomu ne Ggomola basunguwaza Yakuwa olw’obujeemu bwabwe

Lwaki tusaanidde okugondera Yesu Kristo?

Lub 49:10; Mat 28:18

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

Lwaki Abakristaayo bagondera abalabirizi mu kibiina?

Lwaki omukyala Omukristaayo asaanidde okugondera omwami we?

Lwaki abaana basaanidde okugondera bazadde baabwe?

Nge 23:22; Bef 6:1; Bak 3:20

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • Lub 37:​3, 4, 8, 11-13, 18​—Yusufu agondera kitaawe we era agenda okulaba baganda be wadde nga tebamwagala

    • Luk 2:51​—Wadde nga Yesu atuukiridde, agondera bazadde be, Yusufu ne Maliyamu, abatatuukiridde

Lwaki kya magezi okugondera bakama baffe ne bwe waba nga tewaaliwo atulaba?

Lwaki Abakristaayo bagondera gavumenti?