Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Obukadde; Abakaddiye

Obukadde; Abakaddiye

Kiki ekibaawo bwe tugenda tukula?

Zb 71:9; 90:10

Abakaddiye basobola okusigala nga basanyufu wadde nga boolekagana n’ebizibu ebijjawo olw’obukadde?

2Ko 4:​16-18; Yak 1:​2-4

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • 1Sa 12:​2, 23​—Nnabbi Samwiri akaddiye akimanyi nti kikulu nnyo okweyongera okusabira abantu ba Yakuwa

    • 2Sa 19:​31-39​—Kabaka Dawudi asiima nnyo obuyambi bwa Baluzirayi akaddiye, era Baluzirayi ayoleka obwetoowaze bw’agamba kabaka nti tasobola kuweereza mu lubiri e Yerusaalemi

    • Zb 71:​9, 18​—Kabaka Dawudi bw’alowooza nti ayinza obutaba wa mugaso ng’akaddiye, yeegayirira Yakuwa obutamwabulira, wabula amuwe amaanyi asobole okubuulira omulembe oguliddawo ebikwata ku Yakuwa

    • Luk 2:​36-38​—Nnabbi omukazi Ana akaddiye era nnamwandu, aweebwa emikisa olw’okwemalira ku Yakuwa n’olw’okumuweereza n’obwesigwa

Yakuwa alaga atya abakaddiye nti abatwala nga ba muwendo?

Zb 92:​12-14; Nge 16:31; 20:29; Is 46:4; Tit 2:​2-5

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • Lub 12:​1-4​—Ibulayimu bw’aba alina emyaka 75, Yakuwa amuwa obuvunaanyizibwa obukyusiza ddala obulamu bwe

    • Dan 10:​11, 19; 12:13​—Danyeri bw’aba alina emyaka nga 90, malayika amulabikira n’amukakasa nti wa muwendo nnyo eri Yakuwa era nti ajja kuweebwa empeera olw’obwesigwa bwe

    • Luk 1:​5-13​—Yakuwa asobozesa Zekkaliya ne Erizabeesi abakaddiye okuzaala omwana mu ngeri ey’eky’amagero

    • Luk 2:​25-35​—Yakuwa awa Simiyoni akaddiye enkizo okulaba omwana omuwere ajja okufuuka Masiya; Simiyoni ayogera obunnabbi obukwata ku mwana oyo

    • Bik 7:​23, 30-36​—Yakuwa awa nnabbi Musa ow’emyaka 80 obuvunaanyizibwa obw’okukulembera abantu be Abayisirayiri

Abo abakaddiye basaanidde kuyisibwa batya?

Lev 19:32; 1Ti 5:1

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

Abakristaayo mu kibiina bayinza batya okuyamba abo abakaddiye?