Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abalabirizi

Abalabirizi

Bisaanyizo ki abalabirizi Abakristaayo bye basaanidde okutuukiriza?

Mu ngeri ki endala abakadde gye basaanidde okussaawo ekyokulabirako ekirungi?

Bisaanyizo ki abaweereza mu kibiina bye basaanidde okutuukiriza?

Lwaki tugamba nti abalabirizi balondebwa omwoyo omutukuvu?

Bik 20:28

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • Bik 13:​2-5; 14:23​—Abalabirizi abakyalira ebibiina, Pawulo ne Balunabba, balonda abakadde mu bibiina ebitali bimu; ne leero, abalabirizi abakyalira ebibiina basaba Katonda okubawa omwoyo omutukuvu era beekenneenya n’obwegendereza Ebyawandiikibwa okulaba obanga ow’oluganda atuukiriza ebisaanyizo okukola ng’omulabirizi mu kibiina

    • Tit 1:​1, 5​—Tito aweebwa obuvunaanyizibwa okukyalira ebibiina n’okulonda abakadde

Ekibiina ky’ani, era kyagulibwa na muwendo ki?

Lwaki kigambibwa nti abalabirizi baweereza abalala?

Lwaki abalabirizi balina okuba abeetoowaze?

Baf 1:1; 2:​5-8; 1Se 2:​6-8; 1Pe 5:​1-3, 5, 6

  • Ekyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • Bik 20:​17, 31-38​—Pawulo ajjukiza abakadde b’omu Efeso ebyo bye yabakolera era bamusiima nnyo olw’okubalaga okwagala

Omulabirizi mu kibiina atwala atya obulagirizi obuva eri “omuddu omwesigwa era ow’amagezi”?

Ngeri ki esingayo obulungi abakadde gye basaanidde okuyigirizaamu abalala?

1Ti 4:12; 1Pe 5:​2, 3

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • Nek 5:​14-16​—Olw’okuba Gavana Nekkemiya atya Yakuwa era amussaamu ekitiibwa, yeewala okukozesa obubi obuyinza bw’alina ku bantu ba Katonda, era tabasaba n’ebyo bye balina okumuwa

    • Yok 13:​12-15​—Yesu ateerawo abagoberezi be ekyokulabirako ekirungi eky’okubeera abeetoowaze

Omukadde ayinza atya okukiraga nti afaayo ku buli omu mu kibiina?

Abakadde bayamba batya abo abalwadde mu by’omwoyo?

Abakadde balina buvunaanyizibwa ki bwe baba bayigiriza mu kibiina?

Lwaki abakadde balina okufuba okulaba nga bakuuma ekibiina nga kiyonjo?

Abakadde basaanidde kutendeka b’ani?

2Ti 2:​1, 2

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • Mat 10:​5-20​—Yesu atendeka abatume be 12 nga tannabasindika kugenda kubuulira

    • Luk 10:​1-11​—Yesu awa abayigirizwa be 70 obulagirizi nga tannabasindika kugenda kubuulira

Kiki ekiyinza okuyamba abakadde okutuukiriza obuvunaanyizibwa obungi bwe balina?

1Pe 5:​1, 7

Laba ne Nge 3:​5, 6

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • 1Sk 3:​9-12​—Kabaka Sulemaani asaba Yakuwa amuwe amagezi n’okutegeera okusobola okulamula abantu ba Yakuwa

    • 2By 19:​4-7​—Kabaka Yekosafaati alonda abalamuzi mu bibuga bya Yuda, era abajjukiza nti Yakuwa ajja kuba nabo nga batuukiriza obuvunaanyizibwa obwo obw’amaanyi

Ab’oluganda mu kibiina basaanidde kutwala batya abalabirizi?

1Se 5:​12, 13; 1Ti 5:17; Beb 13:​7, 17

Laba ne Bef 4:​8, 11, 12

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • Bik 20:37​—Abakadde b’omu Efeso booleka okwagala kwe balina eri omutume Pawulo

    • Bik 28:​14-16​—Omutume Pawulo bw’aba agenda e Rooma, ab’oluganda okuva mu kibuga ekyo batambula mayiro nga 40 okujja okumusisinkana mu katale k’e Apiyo, era ekyo kimuzzaamu nnyo amaanyi