Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Okusaba

Okusaba

Tumanya tutya nti Yakuwa awuliriza essaala era n’aziddamu?

Zb 65:2; 145:18; 1Yo 5:14

Laba ne Zb 66:19; Bik 10:31; Beb 5:7

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • 1Sk 18:​36-38​—Yakuwa addamu mu bwangu essaala Eriya gy’amusaba ng’ali ku Lusozi Kalumeeri ng’asoomooza bannabbi ba Bbaali

    • Mat 7:​7-11​—Yesu atukubiriza obutakoowa kusaba era atukakasa nti Yakuwa Kitaffe awuliriza essaala zaffe

Ani yekka Abakristaayo gwe basaaidde okusaba?

Tulina kusaba mu linnya ly’ani?

Ssaala za baani Yakuwa z’awulira?

Ssaala za baani Yakuwa z’atawuliriza?

Nge 15:29; 28:9; Is 1:15; Mi 3:4; Yak 4:3; 1Pe 3:7

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • Yos 24:​9, 10​—Yakuwa agaana okuwuliriza Balamu kubanga ekyo Balamu ky’asaba kikontana n’ekigendererwa kya Katonda

    • Is 1:​15-17​—Yakuwa agaana okuwuliriza essaala z’abantu be olw’okuba bannanfuusi era baliko omusango gw’okuyiwa omusaayi

Ngeri ki entuufu ey’okukomekkerezaamu essaala, era lwaki?

Waliwo engeri yonna Bayibuli gy’eraga gye tusaanidde okubaamu nga tusaba?

Ebimu ku bintu abaweereza ba Yakuwa bye basaanidde okusaba nga bakuŋŋaanye wamu okusinza bye biruwa?

Bik 4:​23, 24; 12:5

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • 1By 29:​10-19​—Kabaka Dawudi akulembera abantu ba Isirayiri mu kusaba nga bawaayo kyeyagalire ebintu by’okuzimbisa yeekaalu

    • Bik 1:​12-14​—Abatume, baganda ba Yesu, ne maama wa Yesu, awamu n’abamu ku bakazi abeesigwa bali mu kisenge ekya waggulu mu Yerusaalemi basaba

Lwaki bwe tuba tusaba tetusaanidde kwegulumiza oba okugezaako okuwuniikiriza abalala?

Tusaanidde okusaba nga tugenda okulya?

Lwaki tusaanidde okusabanga Kitaffe ow’omu ggulu?

Bar 12:12; Bef 6:18; 1Se 5:17; 1Pe 4:7

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • Dan 6:​6-10​—Danyeri yeeyongera okusabira mu kifo abalala we bamulabira wadde nga batiisatiisa okumutta

    • Luk 18:​1-8​—Yesu akozesa olugero lw’omulamuzi atali mutuukirivu akkiriza okukola ku nsonga z’omukazi amwetayirira, okulaga nti Kitaffe omutuukirivu awuliriza bwe tutakoowa kumusaba

Kiki ekyetaagisa bwe tuba nga twagala Yakuwa okuwulira essaala gye tumusaba okutusonyiwa?

2By 7:​13, 14

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • 2Sk 22:​11-13, 18-20​—Olw’okuba Kabaka Yosiya yeetoowaza era n’afuba okukola Yakuwa by’ayagala, Yakuwa amulaga ekisa n’obusaasizi

    • 2By 33:​10-13​—Kabaka Manase yeetoowaza era n’asaba Yakuwa amusonyiwe; Yakuwa amusonyiwa era amukkiriza okuddamu okufuga nga kabaka

Kiki kye tulina okukola bwe tuba twagala Yakuwa atusonyiwe?

Lwaki bwe tuba tusaba kikulu n’okusaba ebyo Katonda by’ayagala bikolebwe?

Lwaki essaala zaffe zisaanidde okukiraga nti twesiga Kitaffe ow’omu ggulu?

Ebimu ku bintu bye tusaanidde okusaba bye biruwa?

Okutukuzibwa kw’erinnya lya Katonda

Obwakabaka bwa Katonda okujja bufuge ensi yonna

Okutuukirizibwa kw’ekigendererwa kya Katonda

Ebyetaago byaffe eby’omubiri

Okusonyiyibwa ebibi

Okusigala nga tuli beesigwa nga tukemebwa

Okwebaza

Yakuwa okutuyamba okumanya by’ayagala n’okutuwa amagezi

Nge 2:​3-6; Baf 1:9; Yak 1:5

Laba ne Zb 119:34

  • Ekyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • 1Sk 3:​11, 12​—Yakuwa asanyuka nnyo nga Kabaka Sulemaani amusabye okumuwa amagezi era agamuwa mu bungi

Yakuwa okutuwa omwoyo omutukuvu

Okusabira bakkiriza bannaffe omuli n’abo abayigganyizibwa

Okutendereza Yakuwa

Zb 86:12; Is 25:1; Dan 2:23

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • Luk 10:21​—Yesu atendereza Kitaawe mu lujjudde olw’okusobozesa abantu abeetoowaze okutegeera ebintu eby’omwoyo

    • Kub 4:​9-11​—Bamalayika mu ggulu bawa Yakuwa ekitiibwa n’ettendo by’agwanidde okuweebwa

Okusabira ab’obuyinza basobole okutuleka okusinza Yakuwa mu mirembe n’okubuulira

Kituukirawo okusaba nga tubatizibwa?

Kituukirawo okusabira abalwadde mu by’omwoyo?

Lwaki abasajja basaba nga tebabisse ku mutwe, ate lwaki ebiseera ebimu abakazi basaba nga babisse ku mutwe?

Kiki Katonda ky’atwala ng’ekikulu okusinga obuwanvu bw’essaala oba engeri omuntu gy’asabamu?

Kuk 3:41; Mat 6:7

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • 1Sk 18:​25-29, 36-39​—Eriya bw’asoomooza bannabi ba Bbaali, bannabbi abo basaba okumala essaawa nnyingi nga boogerera waggulu, naye katonda waabwe tabaanukula

    • Bik 19:​32-41​—Abantu b’omu Efeso abasinza Atemi, katonda omukazi, baleekaanira waggulu nga bamutendereza okumala essaawa bbiri, naye tewali kalungi kavaamu era omukulu w’ekibuga abanenya