Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Okubuulira Amawulire Amalungi

Okubuulira Amawulire Amalungi

Lwaki Abakristaayo bonna ab’amazima baatula mu lujjudde okukkiriza kwabwe?

Kyakulabirako ki Yesu kye yatuteerawo mu mulimu gw’okubuulira?

Luk 8:1; Yok 18:37

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • Luk 4:​42-44​—Yesu agamba nti yatumibwa ku nsi okubuulira

    • Yok 4:​31-34​—Yesu agamba nti omulimu gw’okubuulira agutwala ng’okulya emmere

Abo abatwala obukulembeze mu kibiina be bokka abalina okubuulira?

Zb 68:11; 148:​12, 13; Bik 2:​17, 18

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • 2Sk 5:​1-4, 13, 14, 17​—Omuwala omuto Omuyisirayiri abuulira mukama we Omusuuli ebikwata ku Erisa, nnabbi wa Yakuwa

    • Mat 21:​15, 16​—Yesu awabula bakabona abakulu n’abawandiisi abeemulugunya olw’abaana okutendereza Yesu mu yeekaalu

Abalabirizi mu kibiina bayinza batya okuyamba abalala okubuulira amawulire amalungi n’okuyigiriza?

Yakuwa ne Yesu batuyamba batya nga tukola omulimu gw’okubuulira?

2Ko 4:7; Baf 4:13; 2Ti 4:17

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • Bik 16:​12, 22-24; 1Se 2:​1, 2​—Wadde ng’omutume Pawulo ne banne bayisibwa bubi, Katonda abasobozesa okweyongera okubuulira n’obuvumu

    • 2Ko 12:​7-9​—Omutume Pawulo, omubuulizi omunyiikivu, alina “eriggwa mu mubiri,” nga buno buyinza okuba obulwadde; naye Yakuwa amuwa amaanyi okweyongera okubuulira

Ani awa Abakristaayo obuyinza okubuulira?

1Ko 1:​26-28; 2Ko 3:5; 4:13

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • Yok 7:15​—Abantu beewuunya nnyo olw’ebintu Yesu by’amanyi wadde nga teyasomera mu masomero ga balabbi

    • Bik 4:13​—Wadde ng’abatume ba Yesu batwalibwa okuba abantu aba bulijjo era abataasoma, babuulira n’obunyiikivu awatali kutya

Tumanya tutya nti Yakuwa ayagala tutendeke abalala okubuulira n’okuyigiriza?

Mak 1:17; Luk 8:1; Bef 4:​11, 12

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • Is 50:​4, 5​—Nga Masiya tannajja ku nsi, Yakuwa amutendeka

    • Mat 10:​5-7​—Nga Yesu ali ku nsi, atendeka abayigirizwa be okubuulira

Omulimu gw’okubuulira tusaanidde kugutwala tutya?

Tuwulira tutya bwe tubuulira amawulire amalungi?

Bintu ki bye twogerako nga tubuulira amawulire amalungi?

Lwaki Abakristaayo baanika enjigiriza ez’obulimba?

2Ko 10:​4, 5

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • Mak 12:​18-27​—Yesu akozesa Ebyawandiikibwa okulaga Abasaddukaayo nti endowooza gye balina ku kuzuukira nkyamu

    • Bik 17:​16, 17, 29, 30​—Omutume Pawulo ayamba abantu b’omu Asene okukimanya nti kikyamu okusinza ebifaananyi

Omulimu gw’okubuulira gukolebwa gutya?

Lwaki tubuulira mu bifo ebya lukale?

Bwe tuba tubuulira lwaki twetaaga okuba abagumiikiriza?

Amawulire amalungi gakwata gatya ku bantu ab’emitima emirungi?

Lwaki tusaanidde okukozesa buli kakisa ke tufuna okubuulira?

1Ko 9:23; 1Ti 2:4; 1Pe 3:15

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • Yok 4:​6, 7, 13, 14​—Wadde nga Yesu akooye, abuulira omukazi Omusamaliya ku luzzi

    • Baf 1:​12-14​—Omutume Pawulo ne bw’aba ng’asibiddwa olw’okukkiriza kwe, akozesa buli kakisa k’afuna okubuulira n’okuzzaamu abalala amaanyi

Twandisuubidde nti buli muntu anakkiriza obubaka bwaffe?

Yok 10:​25, 26; 15:​18-20; Bik 28:​23-28

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • Yer 7:​23-26​—Ng’ayitira mu Yeremiya, Yakuwa alaga nti enfunda n’enfuda abantu be bagaana okuwuliriza bannabbi be

    • Mat 13:​10-16​—Yesu agamba nti nga bwe kyali mu kiseera kya Isaaya, bangi bajja kugaana obubaka obubabuulirwa

Lwaki tekitwewuunyisa nti abantu bangi tebalina biseera bya kuwuliriza bubaka bwaffe?

Kiki ekiraga nti abamu bajja kuwuliriza obubaka bwaffe babusiime naye oluvannyuma lw’ekiseera balekere awo okubukolerako?

Byakulabirako ki ebituyamba obuteewuunya singa abamu bagezaako okutulemesa okukola omulimu gw’okubuulira?

Kiki kye tusaanidde okukola singa abantu bagezaako okutulemesa okubuulira?

Lwaki tuli bakakafu nti abamu bajja kusiima amawulire amalungi ge tubabuulira?

Kiki Katonda ky’asuubira mu abo ababuulira amawulire amalungi?

Lwaki tusaanidde okubuulira abantu ab’amadiini gonna, aba langi zonna, oba ab’amawanga gonna?

Kisaana okubuulira ku lunaku lwonna mu wiiki, ka lube lwa Ssabbiiti?

Byakulabirako ki ebiraga nti tusaanidde okubuulira abantu bonna ka babe nga balina Bayibuli oba nga balina eddiini yaabwe?