Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ekibi

Ekibi

Ekibi kye ki, era lwaki ffenna tukirina?

Bayibuli ekiraga etya nti tusobola okulwanyisa okwegomba okubi?

Bar 6:​12-14

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli

    • 2Sa 11:​2-5, 14, 15, 26, 27; 12:​1-13​—Kabaka Dawudi akola ebibi eby’amaanyi ennyo, akangavvulwa, era afuba okutereeza amakubo ge

    • Bar 7:​15-24​—Omutume Pawulo alina okulwanyisa ebirowoozo ebibi n’okwegomba okubi, wadde ng’alina okukkiriza okw’amaanyi era ng’aweereza Katonda n’obunyiikivu

Obutamanya n’obulimba bireetera bitya abantu okwonoona?

Lwaki kibi nnyo okweyongera okukola ebintu ebibi mu bugenderevu?

Biki Sitaani by’ayinza okukozesa okuleetera abaweereza ba Katonda okukola ebibi?

Nge 1:​10, 11, 15; Mat 5:28; Yak 1:​14, 15

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • Lub 3:​1-6​—Ng’ayitira mu musota, Sitaani aleetera Kaawa okwerowoozaako yekka n’okulekera awo okwesiga Yakuwa

    • Nge 7:​6-10, 21-23​—Kabaka Sulemaani ayogera ku muvubuka atalina magezi asendebwasendebwa malaaya

Tuyinza tutya okwewala okugwa mu bikemo Sitaani by’atuleetera?

Bef 4:27; 6:​10-18; Yak 4:​7, 8

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • Nge 5:​1-14​—Kabaka Sulemaani atuwa amagezi amalungi agatuyamba okumanya ensonga lwaki tusaanidde okwewala ebikolwa eby’obugwenyufu n’engeri gye tusobola okubyewalamu

    • Mat 4:​1-11​—Yesu atuteerawo ekyokulabirako ekirungi bw’akozesa Ekigambo kya Katonda ne yeewala okukola ebyo Sitaani by’amugamba

Ebimu ku bibi eby’amaanyi Abakristaayo bye basaanidde okwewala bye biruwa?

Laba ne “Ebikolwa Ebibi

Okwatula ebibi

Lwaki tetusaanidde kukweka bibi bye tuba tukoze?

Ani gwe tulina okwatulira ebibi byaffe byonna?

Ani akola ‘ng’omuyambi’ nga yeegayirira ku lwaffe mu maaso ga Yakuwa?

Omwonoonyi ayinza atya okukiraga nti yeenenyezza mu bwesimbu?

Bik 26:20; Yak 4:​8-10

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • Kuv 22:​1-12​—Mu Mateeka ga Musa, omubbi alina okuliyirira oyo gw’aba abbye

    • Luk 19:​8, 9​—Zaakayo, akulira abasolooza omusolo, alaga nti yeenenyezza ng’akyusa amakubo ge era ng’aliyirira abo be yakumpanya

    • Laba ne “Okwenenya

Lwaki tuli bakakafu nti Yakuwa asonyiyira ddala aboonoonyi?

Laba ne “Okusonyiwa

Omuntu bw’akola ekibi eky’amaanyi, nteekateeka ki Yakuwa gy’ataddewo okumuyamba n’okukuuma ekibiina kireme okwonoonebwa?

Ekibi eky’amaanyi omuntu ky’aba akoze kikwata kitya ku b’omu maka ge ne ku kibiina?

Beb 12:​15, 16

Laba ne Ma 29:18

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • Yos 7:​1-13, 20-26​—Akani aleetera Isirayiri emitawaana bw’akola ekibi eky’amaanyi era n’agezaako okukikweka

    • Yon 1:​1-16​—Olw’okuba nnabbi Yona ajeemedde Yakuwa, assa mu kabi obulamu bw’abo b’ali nabo mu kyombo

    • 1Ko 5:​1-7​—Omutume Pawulo ayanika ekibi eky’amaanyi ekikolebwa mu kibiina ky’e Kkolinso ekiyinza okukosa ekibiina kyonna

Lwaki okutya okukangavvulwa tekisaanidde kutulemesa kusaba bakadde kutuyamba?

Lwaki tusaanidde okukkiriza nti Katonda yatusonyiwa mu kifo ky’okusigala nga tulumirizibwa omutima olw’ekibi kye twakola?

Laba ne “Okusonyiwa

Bwe tukimanyaako nti waliwo mukkiriza munnaffe akoze ekibi eky’amaanyi, lwaki tusaanidde okukakasa nti ategeezaako abakadde?

Lev 5:1

  • Ekyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • Ma 13:​6-9; 21:​18-20​—Amateeka ga Musa geetaagisa omuntu okuloopa oyo aba akoze ekibi eky’amaanyi ne bw’aba nga wa mu maka ge oba nga mukwano gwe