Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Obutaba Mufumbo

Obutaba Mufumbo

Lwaki tuyinza okugamba nti omuntu okusigala nga si mufumbo kirabo?

Lwaki kikyamu okupikiriza Omukristaayo okuwasa oba okufumbirwa?

1Ko 7:​28, 32-35; 1Se 4:11

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • Bar 14:​10-12​—Omutume Pawulo alaga ensonga lwaki kikyamu okusalira bakkiriza bannaffe omusango

    • 1Ko 9:​3-5​—Wadde ng’omutume Pawulo alina eddembe okuwasa, okusigala nga si mufumbo kimusobozesa okwemalira ku buweereza bwe

Abatali bafumbo basaanidde okukitwala nti balina okuwasa oba okufumbirwa okusobola okuba abasanyufu?

1Ko 7:8

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • Bal 11:​30-40​—Muwala wa Yefusa asigala nga si mufumbo, naye musanyufu

    • Bik 20:35​—Ebigambo bya Kristo biraga nti wadde nga teyali mufumbo, yali musanyufu olw’okuba yali mugabi

    • 1Se 1:​2-9; 2:12​—Omutume Pawulo atali mufumbo ayogera ku ssanyu eringi ly’afuna mu buweereza bwe

Okufaananako abaweereza ba Katonda abalala bonna, lwaki abo abatali ba bafumbo balina okusigala nga bayonjo mu mpisa?

1Ko 6:18; Bag 5:​19-21; Bef 5:​3, 4

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • Nge 7:​7-23​—Kabaka Sulemaani ayogera ku bizibu eby’amaanyi omuvubuka asendebwasendebwa n’agenda ewa malaaya by’afuna

    • Luy 4:12; 8:​8-10​—Omuwala Omusulamu atenderezebwa olw’okunywerera ku mitindo gya Yakuwa egy’empisa

Ddi lwe kiyinza okwetaagisa omuntu atali mufumbo okulowooza ku ky’okuwasa oba okufumbirwa?