Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Okwesomesa

Okwesomesa

Lwaki Omukristaayo alina okwesomesa Ekigambo kya Katonda obutayosa?

Zb 1:​1-3; Nge 18:15; 1Ti 4:6; 2Ti 2:15

Laba ne Bik 17:11

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • Dan 9:​1-3, obugambo obuli wansi​—Ebyo nnabbi Danyeri by’asoma mu bitabo ebitukuvu bimuyamba okukitegeera nti emyaka 70 Abayisirayiri gye bandimaze mu Babulooni ginaatera okuggwaako

    • Zb 119:​97-101​—Omuwandiisi wa zabbuli agamba nti ayagala nnyo amateeka ga Katonda era ayogera ku mikisa gy’afunye olw’okugakolerako

Lwaki kikulu okweyongera okuyiga ebikwata ku Katonda?

Beb 6:​1-3; 2Pe 3:18

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • Nge 4:18​—Ng’ekitangaala eky’oku makya bwe kigenda nga kyeyongerayongera, ne Yakuwa ayamba abo abaagala okumanya ebimukwatako okugenda nga beeyongera okutegeera amazima

    • Mat 24:​45-47​—Yesu agamba nti yandironze “omuddu omwesigwa era ow’amagezi” eyandiwadde abaweereza be emmere ey’eby’omwoyo mu kiseera ekituufu mu nnaku ez’enkomerero

Lwaki amagezi agali mu Bayibuli ga muwendo okusinga ago agali mu bitabo ebirala abantu bye bawandiika?

Kiki Yakuwa ky’asuubiza okuwa abo abasoma Bayibuli nga balina ekigendererwa eky’okukola by’ayagala?

Okusobola okuganyulwa mu kwesomesa Bayibuli, kiki kye tulina okusaba Yakuwa?

Lwaki tulina okulya emmere yonna ey’eby’omwoyo “omuddu omwesigwa era ow’amagezi” gy’atuwa?

Lwaki tusaanidde okufuba okutegeerera ddala ebyo bye tuba tusoma mu Bayibuli?

Lwaki kikulu okufuna okumanya n’amagezi?

Lwaki tusaanidde okusoma mpolampola era nga tufumiitiriza ku ebyo bye tusoma?

Lwaki tusaanidde okukolera ku ebyo bye tusoma mu Kigambo kya Katonda?

Lwaki tusaanidde okufumiitiriza ku ngeri gye tuyinza okubuulirako abalala ebyo bye tuba tuyize?

Tuganyulwa tutya bwe twekenneenya enfunda n’enfunda amazima agali mu Bayibuli?

2Pe 1:13; 3:​1, 2

  • Ekyokulabirako okuva mu Bayibuli:

Lwaki kikulu okukubaganya ebirowoozo ku ebyo ebiri mu Kigambo kya Katonda ng’amaka?

Bef 6:4

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • Lub 18:​17-19​—Yakuwa agamba Ibulayimu okuyigiriza ab’omu nnyumba ye okugondera Yakuwa n’okukola ebyo by’ayagala

    • Zb 78:​5-7​—Abayisirayiri balagirwa okuyigiriza buli mulembe oguddawo ebikwata ku Yakuwa, abantu basobole okusigala nga beesiga Yakuwa

Tuganyulwa tutya bwe twekenneenya Ebyawandiikibwa nga tuli mu nkuŋŋaana z’ekibiiina?