Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Okusinza

Okusinza

Ani yekka gwe tulina okusinza?

Kuv 34:14; Ma 5:​8-10; Is 42:8

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • Mat 4:​8-10​—Sitaani asuubiza okuwa Yesu obwakabaka bwonna obw’omu nsi singa amusinza; kyokka Yesu agaana ekyo Sitaani ky’amusuubiza olw’okuba mumalirivu okusinza Yakuwa yekka

    • Kub 19:​9, 10​—Malayika ow’amaanyi agaana omutume Yokaana okumusinza

Yakuwa ayagala tumusinze tutya?

Yok 4:24; Yak 1:​26, 27

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • Is 1:​10-17​—Yakuwa tasiima abo abagamba nti bamusinza naye nga tebakola by’ayagala

    • Mat 15:​1-11​—Yesu agamba nti Yakuwa tasiima abo abamusinza nga bagoberera obulombolombo bw’abantu mu kifo ky’okukolera ku mateeka ga Katonda

Bwe kiba kisoboka, Yakuwa tulina kumusinziza wamu ne baani?

Beb 10:​24, 25

Laba ne Zb 133:​1-3

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • Bik 2:​40-42​—Mu kyasa ekyasooka, Abakristaayo bakuŋŋaananga okusaba, okubeerako awamu, n’okusoma ebyawandiikibwa ebyaluŋŋamizibwa omwoyo omutukuvu

    • 1Ko 14:​26-40​—Omutume Pawulo agamba nti enkuŋŋaana z’ekibiina zisaanidde okuba nga ntegeke bulungi, nga zizimba, buli omu asobole okutegeera ebiyigirizibwa

Biki bye tusaanidde okukola Yakuwa okusiima okusinza kwaffe?

Mat 7:​21-24; 1Yo 2:17; 5:3

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • Beb 11:6​—Omutume Pawulo akiraga nti tulina okuba n’okukkiriza Yakuwa okusobola okusiima okusinza kwaffe

    • Yak 2:​14-17, 24-26​—Yakobo, muganda wa Yesu, akiraga nti okukkiriza kulina okubaako ebikolwa; okukkiriza kutuleetera okubaako kye tukolawo