Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OLUYIMBA 154

Okwagala Tekulemererwa

Okwagala Tekulemererwa

(1 Abakkolinso 13:8)

  1. 1. Tunul’o labe;

    Ffenna ’bali wano

    Tulagaŋŋan’o kwagala.

    Tuli beesigwa

    Era twagalana,

    Kubang’e nsi twagyesamba.

    (PRE-CHORUS)

    Kimanye nty’o kwagala

    Tekulemererwa.

    (CHORUS)

    O okwagala;

    Yakuwa kwagala.

    Atwagala.

    O okwagala;

    Ffenna tukwetaaga.

    Tujja kweyongera

    Okwagalana—

    Okwagala.

  2. 2. Oluusi tuba

    N’ebizibu bingi

    Naye tuyamba ’balala.

    Tufun’e ssanyu

    Bwe tukola tutyo;

    Yakuwa ’tubudaabuda.

    (PRE-CHORUS)

    Kimanye nty’o kwagala

    Tekulemererwa.

    (CHORUS)

    O okwagala;

    Yakuwa kwagala.

    Atwagala.

    O okwagala;

    Ffenna tukwetaaga.

    Tujja kweyongera

    Okwagalananga.

    (CHORUS)

    O okwagala;

    Yakuwa kwagala.

    Atwagala.

    O okwagala;

    Fenna tukwetaaga.

    Tujja kweyongera

    Okwagalananga—

    Okwagala,

    Okwagala,

    Okwagala.