Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ebbaluwa Okuva eri Akakiiko Akafuzi

Ebbaluwa Okuva eri Akakiiko Akafuzi

Baganda Baffe ne Bannyinaffe Abaagalwa:

Okwagala kwe tulina eri Katonda n’eri abantu kutuleetera ‘okufuula abantu b’omu mawanga gonna abayigirizwa, nga tubabatiza.’ (Mat. 28:19, 20; Mak. 12:28-31) Bwe tuba n’okwagala, tuba tusobola okuyamba abantu abalina “endowooza ennuŋŋamu ebasobozesa okufuna obulamu obutaggwaawo.”—Bik. 13:48.

Emabegako, tubaddenga tussa essira ku kukwata obukusu ennyanjula ze tukozesa, ne ku kugabira abantu ebitabo. Kati twagala okulongoosa mu ngeri gye twogeramu n’abantu. Twagala okubalaga okwagala nga twogera ku bintu ebibasikiriza. Ekyo kitegeeza nti bulijjo tulina okuba abeetegefu okukyusakyusa mu ebyo bye twogera, era n’okulowooza ku bintu ebyeraliikiriza abantu kinnoomu era n’ebyo ebibanyumira. Ekyo akatabo kano kanaatuyamba katya okukikola?

Akatabo kano kalimu amasomo 12 agalaga engeri ze tusaanidde okukulaakulanya ezinaatusobozesa okulaga abantu okwagala era n’okubafuula abayigirizwa. Buli ssomo lyesigamiziddwa ku kintu ekimu ekyogerwako mu Bayibuli ekiraga emu ku ngeri Yesu oba omu ku babuulizi abaaliwo mu kyasa ekyasooka gye baayoleka nga bakola omulimu gw’okubuulira. Ekigendererwa si kya kukwata bukusu ennyanjula ze tukozesa, wabula kya kulaba engeri gye tuyinza okulagamu abantu okwagala. Wadde nga kitwetaagisa okwoleka engeri zonna ennungi mu byonna bye tukola mu buweereza bwaffe, okusingira ddala tugenda kulabayo ezimu ku ngeri ze twetaaga okwoleka nga tutandika okunyumya n’abantu, nga tuzzeeyo eri abo ababa baagala okumanya ebisingawo, oba nga tuyigiriza abantu Bayibuli.

Nga weekenneenya buli ssomo, lowooza ku bw’oyinza okwoleka engeri eba eyogerwako ng’oyogera n’abantu b’omu kitundu kyammwe. Weeyongere okwagala ennyo Yakuwa n’abantu. Okusingira ddala okwagala kwe kujja okukuyamba okutuukiriza ekigendererwa kyo eky’okufuula abantu abayigirizwa.

Tusiima nnyo okukolera awamu naawe. (Zef. 3:9) Yakuwa k’akuwe emikisa nga weeyongera okwagala abantu n’okubafuula abayigirizwa!

Ffe baganda bammwe,

Akakiiko Akafuzi ak’Abajulirwa ba Yakuwa