Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OKUTANDIKA OKUNYUMYA N’ABANTU

ESSOMO 1

Yogera ku Ebyo Ebinaakwata ku Bantu

Yogera ku Ebyo Ebinaakwata ku Bantu

Omusingi: “Okwagala . . . tekwenoonyeza byakwo.”​—1 Kol. 13:​4, 5.

Ekyo Yesu Kye Yakola

1. Laba VIDIYO, oba Soma Yokaana 4:​6-9, oluvannyuma ofumiitirize ku bibuuzo bino:

  1.    Kiki Yesu kye yeetegereza nga tannatandika kunyumya na mukazi oyo?

  2.   Yesu yagamba nti: “Mpa ku mazzi nnyweko.” Lwaki eyo yali ngeri nnungi ey’okutandika okunyumya n’omukazi oyo?

Kiki Kye Tuyigira ku Yesu?

2. Bwe tutandika okunyumya n’omuntu nga twogera ku kintu ky’awulira nga kimukwatako, aba ajja kutuwuliriza.

Koppa Yesu

3. Ba mwetegefu okukyusakyusaamu. Teweesiba ku ekyo kye wabadde oteeseteese okwogerako. Tandika okunyumya n’abantu ng’oyogera ku ekyo kye balowoozaako ku olwo. Weebuuze:

  1.    ‘Biki ebiri mu mawulire?’

  2.   ‘Bintu ki baliraanwa bange, bakozi bannange, oba bayizi bannange bye boogerako?’

4. Weetegereze. Weebuuze:

  1.    ‘Omuntu oyo akola? Kiki ky’ayinza okuba ng’alowoozaako?’

  2.   ‘Ennyambala y’omuntu yo, endabika ye, oba amaka ge, biraga ki ku ebyo by’akkiririzaamu oba ku buwangwa bwe?’

  3.   ‘Kino kiseera kituufu okwogerako n’omuntu ono?’

5. Wuliriza.

  1.    Weewale okwogera ennyo.

  2.   Kubiriza omuntu gw’oyogera naye okwogera ekimuli ku mutima. Bwe kiba kituukirawo, baako ebibuuzo by’omubuuza.