Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OKUTANDIKA OKUNYUMYA N’ABANTU

ESSOMO 3

Laga Abantu Ekisa

Laga Abantu Ekisa

Omusingi: “Okwagala . . . kwa kisa.”​—1 Kol. 13:4.

Ekyo Yesu Kye Yakola

1. Laba VIDIYO, oba soma Yokaana 9:​1-7, oluvannyuma ofumiitirize ku bibuuzo bino:

  1.    Kiki Yesu kye yasooka okukola​—yasooka kuwonya musajja oyo eyali omuzibe, oba yasooka kumubuulira mawulire malungi?​—Laba Yokaana 9:​35-38.

  2.   Olowooza lwaki omusajja oyo yali mwetegefu okuwuliriza Yesu?

Kiki Kye Tuyigira ku Yesu?

2. Omuntu bw’akiraba nti tumufaako, ayinza okwagala okuwuliriza obubaka bwaffe.

Koppa Yesu

3. Wesse mu bigere by’omuntu. Gezaako okufumiitiriza ku ngeri gy’awuliramu.

  1.    Weebuuze: ‘Biki ebiyinza okuba nga bimweralikiriza? Kiki kye nnyinza okwogerako ekiyinza okumuyamba n’okumukwatako ennyo?’ Okwebuuza ebibuuzo ng’ebyo kijja kukusobozesa okulaga abalala ekisa mu ngeri etuukirawo era mu bwesimbu.

  2.   Laga nti ofaayo ku muntu ng’omuwuliriza bulungi. Bw’akubuulira endowooza gy’alina ku kintu oba ekizibu ky’ayolekagana nakyo, tokyusa mboozi kwogera ku kintu kirala.

4. Yogera mu ngeri ey’ekisa era eraga omuntu nti omussaamu ekitiibwa. Bw’oba ng’osaasira omuntu era nga ddala oyagala okumuyamba, kijja kweyolekera mu ngeri gy’oyogeramu naye. Weegendereze by’oyogera n’engeri gy’obyogeramu. Era weewale okwogera ebintu ebiyinza okunyiiza omuntu.

5. Baako ky’okolawo okumuyamba. Lowooza ku by’oyinza okukola okuyamba omuntu oyo. Bw’olaga omuntu ekisa, ayinza okuba omwetegefu okunyumya naawe.