Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OKUTANDIKA OKUNYUMYA N’ABANTU

ESSOMO 4

Beera Mwetoowaze

Beera Mwetoowaze

Omusingi: “Mu bwetoowaze mukitwale nti abalala babasinga.”​—Baf. 2:3.

Ekyo Pawulo Kye Yakola

1. Laba VIDIYO, oba soma Ebikolwa 26:2, 3, oluvannyuma ofumiitirize ku bibuuzo bino:

  1.    Pawulo yayoleka atya obwetoowaze mu ngeri gye yayogeramu ne Kabaka Agulipa?

  2.   Pawulo yaleetera atya abalala okussa ebirowoozo ku Yakuwa ne ku Byawandiikibwa mu kifo ky’okubissa ku ye?​—Laba Ebikolwa 26:22.

Kiki Kye Tuyigira ku Pawulo?

2. Tusobola okusikiriza abalala okutuwuliriza singa twogera nabo mu ngeri eraga nti tuli beetoowaze era nti tubassaamu ekitiibwa.

Koppa Pawulo

3. Yogera mu ngeri eraga nti ossaamu abalala ekitiibwa. Weewale okuleetera omuntu okulowooza nti omanyi buli kintu era nti ye talina ky’amanyi. Yogera naye mu ngeri eraga nti omussaamu ekitiibwa.

4. Kyoleke bulungi nti ebyo by’obabuulira biva mu Bayibuli. Ekigambo kya Katonda kirimu obubaka obukwata ku mitima gy’abantu. Bwe tukikozesa, tuba tubayamba okuzimba okukkiriza kwabwe ku musingi omulungi.

5. Sigala ng’oli mukkakkamu. Tokalambira ku nsonga ng’ogezaako okukiraga nti ggwe mutuufu. Tetwagala kuwakana na bantu. Yoleka obwetoowaze ng’osigala oli mukkakkamu era ng’omanyi ddi lw’olina okulekera awo okwogera n’omuntu. (Nge. 17:14; Tit. 3:2) Bw’osigala ng’oli mukkakkamu, oboolyawo omuntu ayinza okuwuliriza obubaka bwaffe omulundi omulala.