Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OKUTANDIKA OKUNYUMYA N’ABANTU

ESSOMO 5

Yogera mu Ngeri ey’Amagezi

Yogera mu Ngeri ey’Amagezi

Omusingi: “Ebigambo byammwe bulijjo bibeerenga bya kisa.”​—Bak. 4:6.

Ekyo Pawulo Kye Yakola

1. Laba VIDIYO, oba soma Ebikolwa 17:22, 23, oluvannyuma ofumiitirize ku bibuuzo bino:

  1.    Pawulo yakwatibwako atya bwe yalaba ebifaananyi abantu b’omu Asene bye baali bakozesa mu kusinza?​—Laba Ebikolwa 17:16.

  2.   Mu kifo ky’okusalira abantu b’omu Asene omusango, mu ngeri ey’amagezi, Pawulo yakozesa atya ebyo bye baali bakkiririzaamu okutandika okubabuulira amawulire amalungi?

Kiki Kye Tuyigira ku Pawulo?

2. Bwe twegendereza ebigambo bye twogera, engeri gye tubyogeramu, na ddi lwe tubyogera, abantu bayinza okwagala okutuwuliriza.

Koppa Pawulo

3. Londa ebigambo ebisikiriza. Ng’ekyokulabirako, bw’oba ng’oyogera n’omuntu atakkiririza mu Yesu, kiyinza okukwetaagisa okukyusa mu ngeri gy’oyanjulamu obubaka obuli mu Bayibuli, oba engeri gy’oyogeramu ebikwata ku Yesu.

4. Toyanguwa kutereeza ndowooza ya muntu. Muleke ayogere ekimuli ku mutima. Bw’ayogera ekintu ekikontana n’ebyo ebiri mu Bayibuli, weewale okuwakana naye. (Yak. 1:19) Bw’omuwuliriza obulungi, kijja kukuyamba okumanya by’akkiririzaamu n’ensonga lwaki abikkiririzaamu.​—Nge. 20:5.

5. Kkiriziganya naye era mwebaze we kiba kyetaagisiza. Ayinza okuba nga mu bwesimbu alowooza nti ebyo by’akkiririzaamu bituufu. Sooka ozimbire ku ekyo ky’okkiriziganyaako naye, oluvannyuma mpolampola omuyambe okutegeera ekyo Bayibuli ky’eyigiriza.