Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

WEEYONGERE OKUYAMBA ABANTU

ESSOMO 8

Beera Mugumiikiriza

Beera Mugumiikiriza

Omusingi: “Okwagala kugumiikiriza.”​—1 Kol. 13:4.

Ekyo Yesu Kye Yakola

1. Laba VIDIYO, oba soma Yokaana 7:​3-5 ne 1 Abakkolinso 15:​3, 4, 7, oluvannyuma ofumiitirize ku bibuuzo bino:

  1.    Mu kusooka baganda ba Yesu baatwala batya obubaka bwe yali abuulira?

  2.   Kiki ekiraga nti Yesu teyaggwaamu ssuubi nti muganda we, Yakobo, yali asobola okufuuka omuyigirizwa?

Kiki Kye Tuyigira ku Yesu?

2. Twetaaga okuba abagumiikiriza, kubanga abantu abamu kibatwalira ekiseera kiwanvu okukkiriza amawulire amalungi.

Koppa Yesu

3. Gezaako enkola endala. Omuntu bw’atakkiririzaawo kuyiga Bayibuli, tomukaka. Oyinza okukozesa vidiyo oba ebitundu ebimu ebiri mu bitabo byaffe okumuyamba okutegeera engeri gye tuyigirizaamu abantu Bayibuli, era n’engeri gy’ajja okuganyulwa singa anakkiriza okuyiga.

4. Togeraageranya bantu. Buli muntu wa njawulo. Omu ku b’eŋŋanda zo oba omuntu gw’ozzeeyo okwogerako naye bw’agaana okuyiga Bayibuli oba bw’agaana okukkiriza emu ku njigiriza za Bayibuli, lowooza ku nsonga eyinza okuba nga y’emuviiriddeko okugaana. Waliwo enjigiriza emu ey’eddiini gy’atwala nti nkulu nnyo gy’ali? Apikirizibwa ab’eŋŋanda ze oba baliraanwa be? Sooka omuweeyo ekiseera okufumiitiriza ku ebyo by’omugambye era n’okulaba omuganyulo oguli mu ekyo Bayibuli ky’egamba.

5. Sabira omuntu ayagala okumanya ebisingawo. Saba Yakuwa akuyambe osigale ng’olina endowooza ennuŋŋamu ku muntu oyo, era oyogere naye mu ngeri ey’amagezi. Saba Yakuwa akuyambe okumanya obanga ddala omuntu tasiima by’ayiga, osobole okulekera awo okugendayo okumuyigiriza.​—1 Kol. 9:26.