Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OKUFUULA ABANTU ABAYIGIRIZWA

ESSOMO 10

Beera Mumalirivu

Beera Mumalirivu

Omusingi: “Olw’okuba twali tubaagala nnyo, twali bamalirivu okubabuulira amawulire amalungi aga Katonda n’okuwaayo obulamu bwaffe okusobola okubayamba.”​—1 Bas. 2:8.

Ekyo Yesu Kye Yakola

1. Laba VIDIYO, oba soma Yokaana 3:​1, 2, oluvannyuma ofumiitirize ku bibuuzo bino:

  1.    Lwaki olowooza Nikodemu yasalawo okugenda eri Yesu ekiro?​—Laba Yokaana 12:​42, 43.

  2.   Yesu okukkiriza okwogera ne Nikodemu ekiro, kyalaga kitya nti yali mumalirivu okumuyamba okufuuka omuyigirizwa?

Kiki Kye Tuyigira ku Yesu?

2. Tukiraga nti twagala abantu nga tuba bamalirivu okubayamba okufuuka abayigirizwa.

Koppa Yesu

3. Yigiririza omuyizi wo owa Bayibuli mu kifo ne mu kiseera ekisinga okumwanguyira. Ayinza okuba n’olunaku mu wiiki lw’ayagala okuyigirako oba n’essaawa mu lunaku ezimwanguyira okuyigirako. Ayagala kuyigira gy’akolera, waka we, oba mu kifo ekya lukale? Bwe kiba kisoboka, kyusa mu nteekateeka yo osobole okuyigiriza omuyizi mu kifo ne mu kiseera ky’ayagala okuyigiramu.

4. Toyosa kumuyigiriza. Bw’oba nga togenda kubaawo, tosazaamu nteekateeka ya kumuyigiriza. Mu kifo ky’ekyo, lowooza ku bino:

  1.    Osobola okumuyigiriza ku lunaku olulala mu wiiki?

  2.   Osobola okumuyigiriza ng’okozesa ssimu oba enkola ya videoconferencing?

  3.   Osobola okusaba omubuulizi omulala akuyambe okumuyigiriza?

5. Saba Yakuwa akuyambe okuba n’endowooza ennungi. Saba Yakuwa akuyambe okuba omumalirivu okuyamba omuyizi wo, ka kibe nti oluusi ayosa okuyiga aba tayanguwa kukolera ku kubuulirira okuli mu Byawandiikibwa. (Baf. 2:13) Omuyizi wo ayinza okuba ng’alina engeri ennungi nnyingi. Saba Yakuwa akuyambe okussa ebirowoozo ku ngeri ezo.