Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OKUFUULA ABANTU ABAYIGIRIZWA

ESSOMO 11

Yigiriza mu Ngeri Ennyangu

Yigiriza mu Ngeri Ennyangu

Omusingi: ‘Mwogere mu ngeri etegeerekeka obulungi.’​—1 Kol. 14:9.

Ekyo Yesu Kye Yakola

1. Laba VIDIYO, oba soma Matayo 6:25-27, oluvannyuma ofumiitirize ku bibuuzo bino:

  1.    Kyakulabirako ki Yesu kye yakozesa okutuyamba okukimanya nti Yakuwa atufaako?

  2.   Wadde nga Yesu yali amanyi ebintu bingi ebikwata ku binyonyi, kintu ki ekyangu okutegeera kye yayogerako? Lwaki eyo yali ngeri nnungi ey’okuyigirizaamu?

Kiki Kye Tuyigira ku Yesu?

2. Bwe tuyigiriza abantu mu ngeri ennyangu, ebyo bye tubayigiriza baba bajja kubijjukira bulungi era biba bijja kukwata ku mitima gyabwe.

Koppa Yesu

3. Weewale okwogera ennyo. Mu kifo ky’okwogera byonna by’omanyi ku nsonga gye muba muliko, essira lisse ku ebyo ebiri mu kitabo kye mukozesa okuyiga. Oluvannyuma lw’okubuuza omuyizi ekibuuzo, muwe ekiseera okubaako ky’addamu. Bw’aba nga tamanyi kya kuddamu oba nga ky’ayogedde kikontana n’enjigiriza za Bayibuli, kozesa ebibuuzo ebirala okumuyamba okufumiitiriza ku nsonga eba eyogerwako. Omuyizi wo bw’ategeera ensonga enkulu, mweyongereyo.

4. Yamba omuyizi okukwataganya ekyo ky’ayize n’ebyo bye yamala edda okuyiga. Ng’ekyokulabirako, nga temunnatandika kukubaganya naye birowoozo ku ssomo erikwata ku kuzuukira, muyinza okwejjukanya bye yayiga ebikwata ku mbeera y’abafu.

5. Weegendereze ng’okozesa ebyokulabirako. Nga tonnakozesa kyakulabirako, weebuuze:

  1.    ‘Ekyokulabirako kino kyangu?’

  2.   ‘Omuyizi wange anaakitegeera?’

  3.   ‘Kinaayamba omuyizi okujjukira ensonga enkulu oba ebirowoozo anaabimalira ku kyakulabirako?’