Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OKUFUULA ABANTU ABAYIGIRIZWA

ESSOMO 12

Beera Mwesimbu

Beera Mwesimbu

Omusingi: “Ng’amafuta g’ezzeyituuni n’obubaani bwe bisanyusa omutima, n’ow’omukwano akuwabula mu bwesimbu bw’atyo bw’aba.”​—Nge. 27:9.

Ekyo Yesu Kye Yakola

1. Laba VIDIYO, oba soma Makko 10:17-22, oluvannyuma ofumiitirize ku bibuuzo bino:

  1.    Ngeri ki ennungi Yesu z’ayinza okuba nga yalaba mu musajja oyo?

  2.   Lwaki Yesu kyali kimwetaagisa okwoleka okwagala n’okuba omwesimbu okusobola okumuwabula?

Kiki Kye Tuyigira ku Yesu?

2. Wadde nga tulina okulaga abayizi baffe okwagala, naye era tulina okubalaga ekyo kye balina okukola okusobola okukulaakulana mu by’omwoyo.

Koppa Yesu

3. Yamba omuyizi wo okweteerawo ebiruubirirwa era n’okubituukako.

  1.    Kozesa ekitundu “Eky’Okukolako” mu buli limu ku masomo agali mu kitabo Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!

  2.   Yamba omuyizi wo okumanya by’asaanidde okukola okusobola okutuuka ku biruubirirwa ebitwala ekiseera ekitono okutuukako, n’ebyo ebitwala ekiseera ekiwanvu okutuukako.

  3.   Siimanga omuyizi wo olw’okukulaakulana kw’aba atuuseeko.

4. Manya ebiremesa omuyizi wo okukulaakulana era omuyambe okubivvuunuka.

  1.    Weebuuze:

    • ‘Omuyizi wange bw’aba nga takola nkyukakyuka ezeetaagisa okusobola okubatizibwa, kiki ekimulemesa?’

    • ‘Kiki kye nnyinza okukola okumuyamba?’

  2.   Saba Katonda akuwe obuvumu osobola okwogerako n’omuyizi wo ku ekyo ky’asaanidde okukola okusobola okukulaakulana, era okyogereko mu ngeri ey’okwagala.

5. Lekera awo okuyigiriza abayizi abatakulaakulana.

  1.    Manya obanga omuyizi wo akulaakulana nga weebuuza ebibuuzo bino:

    • ‘Omuyizi wange akolera ku ebyo by’ayiga?’

    • ‘Abeerawo mu nkuŋŋaana era abuulirako abalala by’ayiga?’

    • ‘Kati ng’amaze ekiseera ng’ayiga, ayagala okufuuka Omujulirwa wa Yakuwa?’

  2.   Omuyizi wa Bayibuli bw’aba nga tayagala kukulaakulana, mubuuze ekiyinza okuba nga kye kimulemesa:

    • Mugambe afumiitirize ku ekyo ekiyinza okuba nga kye kimulemesa.

    • Munnyonnyole mu ngeri ey’amagezi ensonga lwaki ogenda kulekera awo okuyiga naye.

    • Muyambe okumanya ekyo ky’asaanidde okukola bw’anaaba ayagala okuddamu okuyiga.