Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EBYONGEREZEDDWAKO A

Amazima Ge Twagala Okuyigiriza Abantu

Amazima Ge Twagala Okuyigiriza Abantu

Yesu yagamba nti abantu ab’emitima emirungi bwe bawulira amazima bagategeera. (Yok. 10:​4, 27) N’olwekyo, buli lwe twogera n’abantu tusaanidde okubaako ekintu kye tubabuulira okuva mu Bayibuli. Osobola okutandika okubuulira omuntu ekintu ekimu okuva mu Bayibuli ng’ogamba nti: “Obadde okimanyi nti . . . ?” oba “Wali owuliddeko nti . . . ?” Oluvannyuma osobola okukozesa ekyawandiikibwa oba ebyawandiikibwa okumunnyonnyola. Bw’obaako ekintu ky’obuulira omuntu okuva mu Bayibuli, oba osize ensigo ey’amazima mu mutima gwe, era Katonda asobola okugikuza!​—1 Kol. 3:​6, 7.

 EBISEERA EBY’OMU MAASO

  1. 1. Ebintu ebiriwo mu nsi n’engeri abantu gye beeyisaamu biraga nti wanaatera okubaawo enkyukakyuka ey’amaanyi.​—Mat. 24:​3, 7, 8; Luk. 21:​10, 11; 2 Tim. 3:​1-5.

  2. 2. Ensi tejja kusaanawo.​—Zab. 104:5; Mub. 1:4.

  3. 3. Ensi ejja kufuuka ekifo ekirabika obulungi ennyo.​—Is. 35:​1, 2; Kub. 11:18.

  4. 4. Buli muntu ajja kuba mulamu bulungi.​—Is. 33:24; 35:​5, 6.

  5. 5. Osobola okuba omulamu emirembe gyonna ku nsi.​—Zab. 37:29; Mat. 5:5.

 AMAKA

  1. 6. Omusajja “agwanidde okwagalanga mukyala we nga bwe yeeyagala kennyini.”​—Bef. 5:33; Bak. 3:19.

  2. 7. Omukazi asaanidde okussaamu ennyo omwami we ekitiibwa.​—Bef. 5:33; Bak. 3:18.

  3. 8. Omwami n’omukyala buli omu asaanidde okuba omwesigwa eri munne.​—Mal. 2:16; Mat. 19:​4-6, 9; Beb. 13:4.

  4. 9. Abaana abassaamu bazadde baabwe ekitiibwa era ababagondera bajja kufuna emikisa mingi.​—Nge. 1:​8, 9; Bef. 6:​1-3.

NASA, ESA and the Hubble Heritage Team (STScI/AURA)-ESA/Hubble Collaboration. Licensed under CC BY 4.0. Source.

 KATONDA

  1. 10. Katonda alina erinnya.​—Zab. 83:18; Yer. 10:10.

  2. 11. Katonda ayogera naffe.​—2 Tim. 3:​16, 17; 2 Peet. 1:​20, 21.

  3. 12. Katonda mwenkanya.​—Ma. 10:17; Bik. 10:​34, 35.

  4. 13. Katonda ayagala okutuyamba.​—Zab. 46:1; 145:​18, 19.

 OKUSABA

  1. 14. Katonda ayagala tumusabe.​—Zab. 62:8; 65:2; 1 Peet. 5:7.

  2. 15. Bayibuli etuyigiriza engeri gye tusaanidde okusabamu.​—Mat. 6:​7-13; Luk. 11:​1-4.

  3. 16. Tusaanidde okusaba emirundi mingi.​—Mat. 7:​7, 8; 1 Bas. 5:17.

 YESU

  1. 17. Yesu yali ayigiriza bulungi nnyo era amagezi ge yawa gakola ekiseera kyonna.​—Mat. 6:​14, 15, 34; 7:12.

  2. 18. Yesu yayogera ku bintu ebiriwo leero.​—Mat. 24:​3, 7, 8, 14; Luk. 21:​10, 11.

  3. 19. Yesu Mwana wa Katonda.​—Mat. 16:16; Yok. 3:16; 1 Yok. 4:15.

  4. 20. Yesu si ye Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna.​—Yok. 14:28; 1 Kol. 11:3.

Based on NASA/Visible Earth imagery

 OBWAKABAKA BWA KATONDA

  1. 21. Obwakabaka bwa Katonda gavumenti ya ddala eri mu ggulu.​—Dan. 2:44; 7:​13, 14; Mat. 6:​9, 10; Kub. 11:15.

  2. 22. Obwakabaka bwa Katonda bujja kudda mu kifo kya gavumenti z’abantu.​—Zab. 2:​7-9; Dan. 2:44.

  3. 23. Obwakabaka bwa Katonda bwe bwokka obujja okumalirawo ddala ebizibu by’abantu.​—Zab. 37:​10, 11; 46:9; Is. 65:​21-23.

 OKUBONAABONA

  1. 24. Katonda si y’atuleetera okubonaabona.​—Ma. 32:4; Yak. 1:13.

  2. 25. Sitaani y’afuga ensi.​—Luk. 4:​5, 6; 1 Yok. 5:19.

  3. 26. Katonda alaba okubonaabona kw’oyitamu era ayagala okukuyamba.​—Zab. 34:​17-19; Is. 41:​10, 13.

  4. 27. Katonda anaatera okumalawo okubonaabona.​—Is. 65:17; Kub. 21:​3, 4.

 OKUFA

  1. 28. Abafu tebaaliko kye bamanyi; tebali mu kubonaabona.​—Mub. 9:5; Yok. 11:​11-14.

  2. 29. Abafu tebasobola kutuyamba oba okututuusaako akabi.​—Zab. 146:4; Mub. 9:​6, 10.

  3. 30. Abafu bajja kuzuukira.​—Yob. 14:​13-15; Yok. 5:​28, 29; Bik. 24:15.

  4. 31. “Okufa tekulibaawo nate.”​—Kub. 21:​3, 4; Is. 25:8.

 AMADIINI

  1. 32. Si buli ddiini nti esanyusa Katonda.​—Yer. 7:11; Mat. 7:​13, 14, 21-23.

  2. 33. Katonda akyawa obunnanfuusi.​—Is. 29:13; Mi. 3:11; Mak. 7:​6-8.

  3. 34. Okwagala okwa nnamaddala kwawulawo eddiini ey’amazima.​—Mi. 4:3; Yok. 13:​34, 35.